bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 27
Numbers 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 28 →
1
Awo bawala ba Zelofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gileyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manasse, ow'omu kika kya Manasse, eyali mutabani wa Yozefu, ne basembera. Abawala nga be ba Makula, Nowa, Kogula, Miluka ne Tiruza.
2
Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eleyazari kabona n'abaami n'ekibiina kyonna awo ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, ne bagamba nti:
3
“Kitaffe yafiira mu ddungu; ye teyali mu bagoberezi ba Kora abeegatta okulwanyisa Omukama, wabula yafa lwa kibi kye; teyaleka baana ba bulenzi.
4
Lwaki erinnya lye lyandyerabiddwa mu kika kye kubanga teyalina mwana wa bulenzi? Mutuwe naffe obutaka mu b'eŋŋanda za kitaffe.”
5
Ensonga Musa n'agijuliza ew'Omukama.
6
Omukama n'amugamba nti:
7
“Bawala ba Zelofekadi basaba kituufu. Bawe obutaka mu b'eŋŋanda za kitaabwe, basikire obusika bwe, obusika bwa kitaabwe obuzze gye bali.
8
Abayisirayeli bagambe bino: ‘Omuntu bw'afanga nga talese mwana wa bulenzi, obusika bwe obuddizanga muwala we;
9
bw'aba nga n'omuwala tamulina, obusika bwe obuwanga baganda be.
10
Bw'atabeeranga na baganda be, obusika bwe obuwanga baganda ba kitaawe.
11
Bw'aba kitaawe teyalina ba luganda lwe, obusika bwe obuwanga oyo amuli okumpi mu b'eŋŋanda ze; ye abusikire. Eno y'eneeba enkola ey'etteeka ku Bayisirayeli ng'Omukama bwe yalagira Musa.’ ”
12
Omukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi luno Abarimu olengere ensi gye ŋŋenda okuwa Abayisirayeli.
13
Bw'onoomala okugiraba, naawe oneegatta ku bajjajjaabo nga Aroni muganda wo bwe yabeegattako,
14
kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange luli mu ddungu ly'e Zini ekibiina lwe kyanjeemera, ne mutooleka mu maaso gaabwe bwe ndi omutuukirivu wali ku mazzi.” Ge gaago amazzi g'e Meriba mu ddungu ly'e Zini.
15
Musa n'ayanukula nti:
16
“Omukama Katonda assa obulamu mu buli muntu ayoleke omuntu anaakulembera ekibiina kino,
17
abalambike mu bye bakola, abakulembere mu ntalo zaabwe, abantu b'Omukama baleme kubeera ng'endiga okutali musumba.”
18
Omukama n'amugamba nti: “Ddira Yoswa mutabani wa Nuunu, omusajja omuli Mwoyo omusseeko emikono.
19
Muyimirize mu maaso ga Eleyazari kabona n'ekibiina kyonna, omutongoze nga bonna balaba,
20
omugabanyize ku buyinza bwo, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli balyoke bamuwulire.
21
Anaayimiriranga mu maaso ga Eleyazari kabona, ono, ng'agoberera omukolo gwa Wurimu, ajja kwebuuzanga ew'Omukama ku lulwe ki ky'alina okukola. Bw'anaalagiranga ekibiina kyonna ekya Yisirayeli, nga kifuluma, bw'anaalagiranga, nga kiyingira.”
22
Musa n'akola ng'Omukama bwe yali alagidde. Yaddira Yoswa, n'amuyimiriza mu maaso ga Eleyazari kabona, n'ekibiina kyonna,
23
n'amussaako emikono, n'amutongoza, ng'Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36