bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 10
Numbers 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 11 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Weekolere eŋŋombe bbiri mu ffeeza omukubeekube, z'oneeyambanga okuyita abantu bakuŋŋaane era n'okulagira olusiisira okusitula.
3
Zombi bwe zifuuyibwanga, ekibiina kinaakuŋŋaaniranga w'oli ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
4
Bw'efuuyibwanga emu yokka, olwo abakulembeze, kwe kugamba abakulu b'ebika bya Yisirayeli, be banakuŋŋaaniranga w'oli.
5
“Bw'ofuuwanga n'okuwenyaako, abaasiisira ku ludda lw'ebuvanjuba nga basitula.
6
Bw'ofuuwanga n'okuwenyaako emirundi ebiri, ab'emaserengeta nga basitula; enfuuwa y'eŋŋombe y'eriba akabonero akabawenyaako basitule.
7
Okukuŋŋaanya obukuŋŋaanya abantu, eŋŋombe ozifuuwanga, naye nga si mu ddoboozi lya kuwenyaako.
8
Batabani ba Aroni, bakabona, be banaafuuwanga eŋŋombe. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna.
9
“Eyo mu nsi yammwe bwe mubanga mugenda ku lutalo okulumba abalabe ababalumbye, mufuuwanga eŋŋombe; olwo Omukama Katonda wammwe agenda kubajjukira, abawonye mu mikono gy'abalabe bammwe.
10
Ne ku nnaku zammwe ez'okusanyuka, ku mbaga eziragiddwa, ne ku nnaku z'Okuboneka kw'Omwezi, mufuuwanga eŋŋombe nga muweereza ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu, bwe kityo kiribeera ekijjukizo gye muli mu maaso ga Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”
11
Mu mwaka ogwokubiri, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi, ekire ne kisituka okuva ku Kisulo eky'Endagaano.
12
N'Abayisirayeli ne basitula nga bali mu bibinja byabwe, ne bava mu ddungu ly'e Sinayi, ne bagenda nga bwe batambula. Ekire ne kiyimirira mu ddungu ly'e Parani.
13
Olwo gwe mulundi ogwasooka okusitula, nga bakola ng'Omukama bwe yali abalagidde ng'ayita mu Musa.
14
Ebibinja by'olusiisira lw'abazzukulu ba Yuda ku bendera yaabwe be baasooka okusitula; baali baduumirwa Nakusoni mutabani wa Amminadabu;
15
Netaneli mutabani wa Zuwari nga y'ali ku kibinja ky'ekika ky'abazzukulu ba Yissakari;
16
ate Eliyabu mutabani wa Keloni nga y'ali ku kibinja ky'ekika ky'abazzukulu ba Zebuluni.
17
Ekisulo ne kitimbululwa; bazzukulu ba Gerusoni ne Merari ne basimbula nga bakyetisse.
18
Ebibinja by'olusiisira lwa Rubeni ku bendera yaabwe be baddako okusitula; baali baduumirwa Elizuri mutabani wa Sedewuri;
19
Selumyeli mutabani wa Zurisaddayi nga y'ali ku kibinja ky'ekika ky'abazzukulu ba Simewoni;
20
ate Eliyasafu mutabani wa Deweli nga y'ali ku kibinja ky'abazzukulu ba Gaadi.
21
N'ab'olunyiriri lwa Kewati ne basitula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Weema yali ya kusimba nga tebannatuuka.
22
Ebibinja by'olusiisira lw'abazzukulu ba Efurayimu ku bendera yaabwe ne baddako; baali baduumirwa Elisama mutabani wa Ammiwudi;
23
Gamalyeli mutabani wa Pedaasuri nga y'ali ku kibinja ky'ekika ky'abazzukulu ba Manasse;
24
ate Abidani mutabani wa Gidewoni nga y'ali ku kibinja ky'ekika ky'abazzukulu ba Benyamiini.
25
Abaasembayo n'ebendera yaabwe be b'ebibinja by'olusiisira lw'abazzukulu ba Daani, ng'eggye eriva ennyuma; baali baduumirwa Akiyezeri mutabani wa Ammisaddayi;
26
Pagyeli mutabani wa Okurani nga y'ali ku kibinja ky'abazzukulu ba Daani,
27
ate Akira mutabani wa Enani nga y'ali ku kibinja ky'ekika ky'abazzukulu ba Nafutali.
28
Bwe batyo Abayisirayeli bwe baddiriŋŋananga mu bibinja byabwe nga batambula.
29
Musa yagamba Kobabu, mutabani wa Reweli Omumidiyaani, mukoddomi we nti: “Tugenda mu kifo Omukama kye yagamba nti: ‘Nzija kukibawa.’ Jjangu naffe, tujja kukuyisa bulungi, kubanga Omukama yasuubiza Yisirayeli ebirungi.”
30
Ye n'amwanukula nti: “Sijja kugenda naawe; nzija kudda mu nsi yaffe ne mu bantu bange.”
31
Ko Musa nti: “Nkwegayiridde totuvaako; ggwe omanyi awasaanye okusiisira mu ddungu, ggwe onoobeera eriiso lyaffe.
32
Bw'onojja naffe tujja kugabana ku birungi Omukama by'anaatuwa.”
33
Ne bava ku lusozi lw'Omukama, ne batambulako olugendo lwa nnaku ssatu. Sanduuku y'Omukama ey'Endagaano yagendanga ebakulembedde mu nnaku ezo essatu okubazuulira ekifo aw'okuwummula.
34
N'ekire ky'Omukama nga kibabeera awo waggulu emisana bwe baasitulanga.
35
Sanduuku y'Endagaano bwe yasitulwanga, nga Musa agamba nti: “Situka, ayi Mukama, abalabe bo babune emiwabo, abakukyawa bakwetegule mangu.”
36
Bwe yabanga essibwa wansi, ng'agamba nti: Ayi Mukama, komawo eri akeesedde k'eggye lya Yisirayeli.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36