bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 21
Numbers 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 22 →
1
Kabaka Omukanaani ow'e Aradi, eyali abeera mu Negevu, bwe yawulira nti Yisirayeli yali ajja ng'agoba ekkubo erya Atarimu, n'amutabaala, n'amunyagamu n'abasibe.
2
Yisirayeli ne yeetema ew'Omukama nti: “Bw'onompa abantu bano mu mikono gyange, ebibuga byabwe nzija kubizikiriza obutalekaamu kantu.”
3
Omukama n'awulira okwegayirira kwa Yisirayeli, n'amuwa Omukanaani. Yisirayeli n'abatta, ebibuga byabwe n'abisaanyizaawo ddala. Ekifo ekyo kwe kukituuma Koruma.
4
Ne bava ku lusozi Ori, ne bakwata ekkubo eridda ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Mu kkubo nga bakooye okugumiikiriza,
5
ne beemulugunyiza Katonda ne Musa, ne bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri tufiire mu ddungu? Tewali mugaati, temuli mazzi; n'akamere kano omutali kantu katutamye.”
6
Omukama kwe kusindika mu bantu emisota egy'obusagwa, ne gibojja abantu, bangi mu Yisirayeli ne bafa.
7
Ne bajja eri Musa ne bagamba nti: “Twakoze ekibi, bwe twemulugunyirizza Omukama naawe; saba ew'Omukama, Omukama atuggyeko emisota.” Musa n'asabira abantu.
8
Omukama n'agamba Musa nti: “Kola omusota ogw'omuliro oguwanike ku mpagi, buli abojjeddwa bw'anaagutunulako ng'awona.”
9
Awo Musa n'akola omusota ogw'ekikomo, n'aguwanika ku mpagi. Oli bwe yabojjebwanga omusota, n'amala atunula ku musota ogw'ekikomo, ng'alama.
10
Abayisirayeli ne bava awo ne basiisira e Oboti;
11
ne bava e Oboti ne basiisira e Yiye-Abarimu, mu ddungu eritunuulidde Mowabu ku ludda olw'ebuvanjuba.
12
Ate ne bava eyo ne basiisira mu kiwonvu kya Zeredi;
13
ne bava awo ne basiisira emitala wa Arunoni, mu ddungu eryeyongerayo okutuukira ddala mu nsi y'Abaamori; anti Arunoni ye nsalo y'e Mowabu, gwawula Mowabu ku Baamori.
14
Mu Kitabo ky'Entabaalo z'Omukama kye bava bagamba nti: “…Wawebu mu Sufa, n'enkonko za Arunoni;
15
ebikko by'enkonko ebikkirira okutuuka Ari we kitudde, ne bigenda okutuuka ku nsalo ne Mowabu.”
16
Ne bava awo ne bagenda e Beeri. Lwe luzzi Omukama we yagambira Musa nti: “Kuŋŋaanya abantu, nzija kubawa amazzi.”
17
Olwo Yisirayeli lwe yayimba oluyimba nti: “Ayi Luzzi situka! Muluyimbe,
18
oluzzi abalangira lwe baasima, abakungu b'abantu lwe baawuukuula, abakungu ne ddamula waabwe, n'emiggo gyabwe.” Ne bava mu ddungu ly'e Mattana.
19
Okuva e Mattana baagenda Nakalyeli; ne bava e Nakalyeli ne bagenda e Bamoti;
20
ne bava e Bamoti ne bagenda mu kiwonvu mu nsi y'e Mowabu, ku ntikko ya Pisuga etunudde wansi mu ddungu.
21
Yisirayeli n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abaamori ng'agamba nti:
22
“Nkwegayiridde, nzikiriza nsalire mu nsi yo; tetujja kukyamako mu nnimiro oba mu mizabbibu, wadde okunywa amazzi mu nzizi, wabula tujja kugoba kkubo lya kabaka lyokka, okutuusa lwe tunaakutula ensalo zo.”
23
Naye Sikoni n'atakkiriza Yisirayeli kuyita mu nsi ye. Yakunga eggye lye lyonna, n'agenda okulumba Yisirayeli mu ddungu. Bwe yatuuka e Yawazi n'ayambalagana ne Yisirayeli.
24
Yisirayeli n'amusanjaga n'ekitala, ensi ye n'agitwala okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki. Baakoma ku Bammoni, kubanga ensalo zaabwe kwaliko ekigo eky'amaanyi.
25
Yisirayeli n'atwala ebibuga by'Abaamori byonna, n'abyezza nga mw'otwalidde ne Kesuboni n'ebyalo ebimwetoolodde.
26
Kati nno Kesuboni kye kyali ekibuga kya Sikoni kabaka w'Abaamori, eyalwanyisa eyali kabaka w'Abamowabu n'atwala ensi ye yonna gye yali afuga okutuukira ddala ku Arunoni.
27
Abayiiya b'ebikwate kyebaava bagamba nti: “Mujje mu Kesuboni, kizimbibwe; kizzibwewo ekibuga kya Sikoni.
28
Omuliro gwafubutuka mu Kesuboni, oluyiira lwava mu kibuga kya Sikoni, ne lulya Ari eky'Abamowabu, be bakungu b'oku ntikko za Arunoni.
29
Zikusanze, Mowabu! Muzikiridde abantu b'e Cemosi! Batabani be abafudde banoonyi ba bubudamo, ne bawala be abawaddeyo mu busibe ewa Sikoni kabaka w'Abaamori.
30
Ffe twabasiguukulula, Kesuboni n'azikirira okutuuka e Diboni. Twakoleeza omuliro okutuukira ddala e Nofa, okutuuka ku nsalo za Medeba.”
31
Bw'atyo Yisirayeli n'abeera mu nsi y'Abaamori.
32
Musa ng'amaze okutuma ab'okuketta Yazeri, Abayisirayeli ne bawamba ebyalo ebyetooloddewo, ne bagobamu Abaamori abaalimu.
33
Ne bakyuka, ne bambukira mu kkubo ery'e Basani, Ogi kabaka w'e Basani n'avaayo n'eggye lye lyonna, abasisinkane mu lutalo e Edureyi.
34
Omukama n'agamba Musa nti: “Tomutya, kubanga mmuwaddeyo mu mikono gyo n'eggye lye lyonna n'ensi ye. Mukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abaamori eyabeeranga mu Kesuboni.”
35
Ne bamukuba ne batta ne batabani be bonna n'eggye lye lyonna, tebaalekawo n'omu yawonawo; ensi ne bagitwala.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36