bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 17
Numbers 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 18 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Lagira Eleyazari mutabani wa Aroni kabona aggye ebyoterezo ebiri mu muyonga, amanda agasaasaanyize walako, kubanga ebyoterezo bitukuvu,
3
bye byoterezo eby'abasajja abaayonoona ne batunda obulamu bwabwe. Bikubeekube obikolemu embaati zibikkenga ku mwaliiro, kubanga baabiweerezza Mukama era bitukuvu. Bijja kusigala ng'akabonero Abayisirayeli kwe banaalabiranga.”
4
Eleyazari kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo, omuliro be gwasiriiza bye baali baweerezza, ne babikubaakubamu embaati ez'okubikka ku mwaliiro,
5
ng'Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa. Abayisirayeli zinaabajjukizanga nti omuntu owa bulijjo atali muzzukulu wa Aroni takkirizibwa kuweereza Mukama bubaani, sikulwa nga naye abeera nga Kora n'abagoberezi be.
6
Enkeera ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kyemulugunyiza Musa ne Aroni nga bagamba nti: “Mmwe mwasse abantu b'Omukama.”
7
Ekibiina bwe kyali kikuŋŋaana okujeemera Musa ne Aroni, ne bakyukira eri Weema ey'Ensisinkano; ekire ne kigibikka, ekitiibwa ky'Omukama ne kirabika.
8
Musa ne Aroni ne bajja mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano.
9
Omukama n'agamba Musa nti:
10
“Muviire ekibiina kino, kubanga ŋŋenda kubazikiriza kaakati.” Ne bagwa wansi ku maaso gaabwe.
11
Musa n'agamba Aroni nti: “Ggya omuliro ku mwaliiro ogusse mu kyoterezo, oteekeko n'obubaani, ogende mangu eri abantu, oddaabirize ku lwabwe; kubanga obusungu bw'Omukama busituse, ekibonerezo kitandise.”
12
Aroni naye bwe yakola; n'ayanguwako, n'agenda mu kibiina wakati, ekibonerezo kyali kitandise, n'aweereza obubaani, n'addaabiriza ku lw'abantu;
13
n'ayimirira wakati w'abafudde n'abalamu, ekibonerezo ne kikoma.
14
Abattibwa ekibonerezo baali omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga totaddeeko abo abaali bazikiridde olwa Kora.
15
Aroni n'addayo eri Musa ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano kubanga ekibonerezo kyali kikomye.
16
Omukama yagamba Musa nti:
17
“Yogera eri Abayisirayeli obaggyeko emiggo kkumi n'ebiri, omuggo gumu okuva ku buli mukulu wa nnyumba za bajjajjaabwe. Ku buli muggo owandiikeko erinnya lya nnyini gwo.
18
Ku muggo gwa Leevi kw'oba owandiika erinnya lya Aroni, kubanga buli mukulu wa kika kya bajjajjaabwe wa kubeera n'omuggo gumu.
19
Giteeke mu Weema ey'Ensisinkano mu maaso g'Endagaano we nkusisinkana.
20
Mu abo gwe nnaaba nnonze, omuggo gwe gujja kutojjera; mu ngeri eyo nzija kweggyako okukwemulugunyiza kuno okutatadde okuva mu Bayisirayeli.”
21
Musa n'ayogera eri Abayisirayeli, abakulu baabwe mu buli nnyumba ya bajjajjaabwe n'amuwa omuggo; gye miggo kkumi n'ebiri, nga n'ogwa Aroni mwe guli,
22
Musa n'agissa mu Weema y'Endagaano mu maaso g'Omukama.
23
Enkeera bwe yakomawo mu Weema y'Endagaano, yasanga omuggo gwa Aroni, ogw'omu kika kya Leevi, nga gwasibuse, ne gutojjera, ne gumulisa n'okumulisa, ne gussaako ebibala eby'endoozi.
24
Musa n'aggyayo emiggo gyonna mu maaso g'Omukama n'agireeta eri Abayisirayeli bonna; ne bagiraba, buli omu n'aggyawo omuggo gwe.
25
Omukama n'agamba Musa nti: “Omuggo gwa Aroni guzzeeyo mu maaso g'Endagaano gukuumirwe eyo, nga ke kabonero eri abajeemu. Kino kijja kukomya okunneemulugunyiza kwabwe, baleme kufa.”
26
Musa n'akola ng'Omukama bwe yali alagidde.
27
Abayisirayeli ne bagamba Musa nti: “Tujja kufa! Tuggwaawo, tuggwaawo!
28
Buli yenna asembera eri Ekisulo ky'Omukama wa kufa. Tuli ba kufa ffenna?”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36