bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 24
Numbers 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
1
Balaamu bwe yalaba ng'Omukama asiimye okuwa Yisirayeli omukisa, teyagenda ku ndagu nga bw'abadde akola, wabula yakyuka bukyusi n'atunuulira eddungu.
2
Bwe yasitula amaaso, n'alaba Yisirayeli asiisidde, buli kika awaakyo, omwoyo gwa Katonda ne gumukkako,
3
n'ayogera ekitontome kye nti: “Okulanga kwa Balaamu mutabani wa Bewori, okulanga kw'omusajja ow'eriiso ejjogi,
4
okulanga kw'oyo awulira ebigambo bya Katonda, atunuulidde Omuyinza wa buli kantu by'amwolese, avunnama, n'amaaso ge agazibuse.
5
“Weema zo nga nnungi, Yakobo, ebisulo byo, Yisirayeli!
6
Zeetadde ng'ebiwonvu, ng'ennimiro ku lubalama lw'omugga, ng'ebigagi Omukama bye yasimba, ng'entolookyo eziri okumpi n'amazzi.
7
Amazzi galikulukuta nga gava mu nsuwa ze, n'empeke ye eriba mu mazzi mangi. Kabaka we alisukkuluma ku Agagi n'obwakabaka bwe buligulumizibwa.
8
Katonda yamuggyayo mu Misiri, amutaasa n'amayembe ng'ag'embogo. Alikavvula amawanga agamuliko obulabe, amagumba gaabwe n'agabwebwena, n'abalasa n'obusaale bwe.
9
Abwamye, yeebase ng'empologoma ensajja, ng'empologoma enkazi, anaamwaŋŋanga okumuzuukusa ani? Akuwa omukisa naye gumuweebwe; akuvumirira, naye avumirirwe.”
10
Obusungu bwa Balaki ne bweserera Balaamu, engalo n'azikubamu, n'agamba nti: “Nakuyita kuvumirira balabe bange, laba wuuno guno gwa kusatu ng'obawa mukisa!
11
Kati vva wano mangu odde ewammwe! Nali nteesezza okukufuula ow'ekitiibwa, naye Omukama akusubizza ebitiibwa ebyali bikutegekeddwa.”
12
Balaamu n'ayanukula Balaki nti: “Ababaka bo be watuma gye ndi saabagamba nti:
13
‘Balaki ne bw'anampa olubiri lwe olujjudde ffeeza ne zaabu, sisobola kukola kintu kyonna, kirungi oba kibi, ne nsukka ku ky'Omukama ky'aba alagidde, nteekwa kwogera byokka Omukama by'aba aŋŋambye?’
14
Kati nzuuno nzirayo eri abantu bange, naye ka nkubuulire abantu bano kye bajja okukola abantu bo gye bujja.
15
Awo n'ayogera ekitontome kye nti: “Okulanga kwa Balaamu mutabani wa Bewori, okulanga kw'oyo ow'eriiso ejjogi,
16
okulanga kw'oyo awulira ebigambo bya Katonda, amanyi eby'oyo Ali Waggulu Ddala atunuulidde Omuyinza wa buli kantu by'amwolese, avunnama, n'amaaso ge agazibuse:
17
Mmulaba, naye si kaakati; mmuwulira, naye tali kumpi. Emmunyeenye eyambuka okuva mu Yakobo, ddamula asituka mu Yisirayeli; alibetenta obwenyi bwa Mowabu n'obuwanga bwa bazzukulu ba Seti bonna.
18
Edomu aliwangulwa, ne Seyiri, omulabe we, ajja kuwangulibwa; ye Yisirayeli alyeyongera maanyi.
19
Aliva mu Yakobo n'azikiriza abaawonawo mu kibuga.”
20
Balaamu bwe yalaba Amaleki, n'ayogera ekitontome kye nti: “Amaleki ye yasooka mu mawanga, kyokka naye oluvannyuma wa kuzikirira.”
21
Bwe yalaba Abakeni, n'ayogera ekitontome kye nti: “Ekifo kyo w'osula wagumu, n'ekisu kyo wakiwanga mu lwazi.
22
Naye, Kayini, ekisulo kyo kirizikirizibwa; mu bbanga ttono Assuri alikutwala mu busibe.”
23
Era n'ayogera ekitontome kye nti: “O! Ani aliba omulamu Katonda lw'alikola kino?
24
Amaato galijja nga gava ku mbalama za Kittimu; galikina ku Assuri ne Eberi; naye nago galizikirira.”
25
Balaamu n'asituka n'addayo ewaabwe; ne Balaki n'akwata agage.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36