bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 3
Numbers 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 4 →
1
Gano ge mazadde ga Musa ne Aroni ku lunaku Omukama lwe yayogera ne Musa ku lusozi Sinayi:
2
Gano ge mannya ga batabani ba Aroni: Omuggulanda ye Nadabu, ne kuddako Abiwu, Eleyazari ne Yitamari.
3
Ago ge mannya ga batabani ba Aroni, bakabona abaasiigibwa omuzigo, emikono gyabwe ne gijjuzibwa baweereze nga bakabona.
4
Bo Nadabu ne Abiwu baafa lwe baali baweereza ekitambiro mu maaso g'Omukama eky'omuliro ekitakkirizibwa eri mu ddungu ly'e Sinayi. Tebaaleka baana, bwe batyo Eleyazari ne Yitamari be bokka abaaweereza nga bakabona mu biseera bya Aroni kitaabwe.
5
Omukama yagamba Musa nti:
6
“Kunga ekika kya Leevi obaleete ewa Aroni kabona bamuweereze.
7
Ba kukolanga emirimu ye n'ekibiina gye babatuma okukola mu Weema ey'Ensisinkano nga baweereza Ekisulo.
8
Ba kukuuma eby'omu Weema ey'Ensisinkano nga bakola emirimu gy'Abayisirayeli nga baweereza Ekisulo.
9
Abaleevi bakwase Aroni ne batabani be; be Bayisirayeli abamutoneddwa.
10
Londa Aroni ne batabani be baweereze nga bakabona; omuntu owa bulijjo asemberangawo wa kuttibwanga.”
11
Omukama yagamba Musa nti:
12
“Laba, Abaleevi mbaggye mu Bayisirayeli ne mbazza mu kifo kya buli muggulanda w'olubuto mu Yisirayeli. Awo nno Abaleevi mbetwalidde, bange.
13
Anti buli ekiggulanda kyange; okuva luli lwe natta abaggulanda bonna mu nsi y'e Misiri, buli kyonna ekisooka okuzaalibwa, ka abeere muntu oba kisolo, nabyeyawulira, byange. Nze Mukama.”
14
Omukama yagamba Musa mu ddungu ly'e Sinayi nti:
15
“Bala abazzukulu ba Leevi mu nnyumba za bajjajjaabwe ne mu masiga gaabwe, buli musajja okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo.”
16
Musa n'ababala ng'Omukama bwe yali alagidde mu kigambo kye.
17
Gano ge mannya ga batabani ba Leevi: Gerusoni ne Kewati ne Merari.
18
Gano ge mannya ga batabani ba Gerusoni mu masiga gaabwe: Libuni ne Simeyi;
19
ate batabani ba Kewati mu masiga gaabwe: Amuramu, Yizuwari, Keburoni Wuzziyeli;
20
batabani ba Merari mu masiga gaabwe: Makuli ne Musi. Ago ge masiga g'Abaleevi mu nnyumba za bajjajjaabwe.
21
Mu Gerusoni mwavaamu ennyiriri olw'Abalibuni n'olw'Abasimeyi; ezo ze nnyiriri z'Abagerusoni.
22
Omuwendo gw'abasajja bonna abaabalibwa, okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, gwali kasanvu mu bitaano.
23
Ab'ennyiriri za Gerusoni baasiisiranga mmanju wa Kisulo ku ludda lw'ebuvanjuba.
24
Omukulu w'ennyumba z'Abagerusoni eza bajjajjabwe yali Eliyasafu mutabani wa Layeli.
25
Omulimu gw'ab'ennyiriri z'Abagerusoni mu Weema ey'Ensisinkano gwali gwa kulabiriranga Kisulo, Weema, ekigibikkako, entimbe eziggala omulyango gwa Weema ey'Ensisinkano,
26
entimbe eza bbugwe w'oluggya, entimbe z'oku mulyango gw'oluggya olwetooloola Ekisulo n'omwaliiro, n'emiguwa gyayo ku lw'emirimu gyayo gyonna.
27
Mu Kewati mwavaamu ennyiriri olw'Abaamuramu, olw'Abayizuwari, olw'Abakeburoni n'olw'Abawuzziyeli; ezo ze nnyiriri z'Abakewati.
28
Omuwendo gw'abasajja abaabalibwa, okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, gwali kanaana mu lukaaga. Omulimu gw'ab'ennyiriri z'Abakewati gwali gwa kulabiriranga Kifo Kitukuvu.
29
Ab'ennyiriri za Kewati baasiisiranga ku ludda lw'Ekisulo olutunudde emaserengeta.
30
Eyali omukulu w'ab'ennyiriri mu nnyumba za bajjajjaabwe mu ssiga ly'Abakewati nga ye Elizafani mutabani wa Wuzziyeli.
31
Baalabiriranga Sanduuku, emmeeza, ekikondo ky'ettawaaza, emyaliiro gyonna, n'eby'omu Kifo Ekitukuvu bye bakozesa mu kuweereza, olutimbe, na buli kigendera ku mirimu gyabyo.
32
Omukulu w'Abaleevi ow'oku ntikko yali Eleyazari mutabani wa Aroni kabona, nga ye mukulu wa bonna abassiddwa ku kulabirira Ekifo Ekitukuvu.
33
Mu Merari mwavaamu ennyiriri olw'Abamakuli n'olw'Abamusi.
34
Omuwendo gw'abasajja bonna abaabalibwa, okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, gwali kakaaga mu ebikumi bibiri.
35
Eyali omukulu w'ennyumba za bajjajjaabwe mu ssiga lya Merari nga ye Zuryeli mutabani wa Abikayili. Ab'ennyiriri za Merari baasiisiranga ku ludda lw'Ekisulo olutunudde emambuka.
36
Omulimu gw'abazzukulu ba Merari gwali gwa kulabirira mbaawo za Kisulo, emikiikiro, empagi n'entobo mwe zisimbibwa n'ebibikolako, era na buli kigendera ku mirimu gyabyo,
37
n'empagi z'oluggya olwetooloola Ekisulo, entobo zaazo, enkondo zaazo, ko n'emiguwa gyazo.
38
Musa, Aroni ne batabani baali ba kusiisiranga ku ludda lw'ebuvanjuba olw'Ekisulo, mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano ebuvanjuba. Be baalina ogw'okulabirira Ekifo Ekitukuvu ku lw'Abayisirayeli. Omuntu owa bulijjo asemberangawo nga wa kuttibwa.
39
Abaleevi bonna abaabalibwa Musa be yabala ng'Omukama bwe yalagira, abasajja okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, baawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
40
Omukama n'agamba Musa nti: “Bala abaggulanda bonna abasajja ab'Abayisirayeli, okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, okole olukalala lw'amannya gaabwe.
41
Mu kifo kya buli muggulanda w'Abayisirayeli ndeeteraamu Abaleevi, nze Mukama. Era ndeetera n'ebisolo byabwe mu kifo ky'ebiggulanda mu bisolo by'Abayisirayeli.”
42
Musa n'abala abaggulanda bonna ab'Abayisirayeli, ng'Omukama bwe yali amulagidde.
43
Abasajja bonna abaabalibwa okusinziira ku muwendo gw'amannya gaabwe, ng'ovudde ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo, baawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsanvu mu basatu.
44
Omukama yagamba Musa nti:
45
“Twala Abaleevi mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'Abayisirayeli, n'ebisolo byabwe mu kifo ky'ebiggulanda mu magana gaabwe; Abaleevi banaabeeranga bange. Nze Mukama.
46
Okununula abaggulanda b'Abayisirayeli ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasuusuubye ku Baleevi,
47
ku buli omu solooza sekeli ttaano ng'obalira mu sekeli ey'omu Kitukuvu ezitowa gera abiri buli emu.
48
Ssente oziwanga Aroni ne batabani be okununula Abayisirayeli ab'ensuusuuba.”
49
Musa n'akuŋŋaanya ssente ez'okununula bali abaali basuusuubye ku banunuddwa Abaleevi.
50
Ssente ze yaggyamu ku baggulanda b'Abayisirayeli zaawera sekeli lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ttaano ng'obalidde ku sekeli y'omu Kitukuvu.
51
Musa ssente ez'okununula yaziwa Aroni ne batabani be, ng'ekigambo ky'Omukama bwe kyali kiragidde.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36