bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 2
Numbers 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
1
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
2
“Abayisirayeli banaasiisiranga nga beetoolodde Weema ey'Ensisinkano, kyokka nga bagyesuddeko akabanga, buli omu ku bendera ye n'akabonero k'ennyumba ya bajjajjaabwe.
3
“Abalisiisira ebuvanjuba: esookera ddala eri ebuvanjuba ebibinja bya Yuda gye bijja okusiisira ku bendera yaabwe. Omukulu w'abazzukulu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadabu.
4
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
5
Ekika kya Yissakari kye kirisiisira okumuddirira; omukulu w'abazzukulu ba Yissakari ye Netaneli mutabani wa Zuwari.
6
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina.
7
Ekika kya Zebuluni ne kiddako; omukulu w'abazzukulu ba Zebuluni ye Eliyabu mutabani wa Keloni.
8
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo etaano mu kasanvu mu bina.
9
Abaabalibwa ab'olusiisira lwa Yuda mu bibinja byabwe bawera abantu akasiriivu kamu mu emitwalo munaana mu kakaaga mu bina. Mu kutambula be banaakulemberangamu.
10
“Mu maserengeta y'eriba olusiisira lw'ebibinja bya Rubeni ku bendera yaabwe. Omukulu w'abazzukulu ba Rubeni ye Elizuri mutabani wa Sedewuri.
11
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano.
12
Ekika kya Simewoni kye kirisiisira okumuddirira; omukulu w'ab'ekika kya Simewoni ye Selumyeli mutabani wa Zurisaddayi.
13
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo etaano mu kenda mu bisatu.
14
Ekika kya Gaadi ne kiddako; omukulu w'abazzukulu ba Gaadi ye Eliyasafu mutabani wa Deweli.
15
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
16
Abaabalibwa ab'olusiisira lwa Rubeni mu bibinja byabwe bawera abantu akasiriivu kamu mu emitwalo etaano mu lukumi mu bina mu ataano. Mu kutambula be banaddangako mu kifo kya kubiri.
17
“Awo Weema ey'Ensisinkano y'eneddangako mu kutambula era wamu n'olusiisira lw'Abaleevi eri mu makkati g'olusiisira. Nga bwe baddiriŋŋanye mu kusiisira era bwe banaddiriŋŋananga mu kutambula buli muntu mu kifo kye ku bendera ye.
18
“Ebugwanjuba y'eriba olusiisira lw'ebibinja bya Efurayimu ku bendera ye; omukulu w'abazzukulu ba Efurayimu ye Elisama mutabani wa Ammiwudi.
19
Bonna awamu abali mu kibinja kye bawera emitwalo ena mu bitaano.
20
Ekika kya Manasse kye kirisiisira okumuddirira; omukulu w'abazzukulu ba Manasse ye Gamalyeli mutabani wa Pedaasuri.
21
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri.
22
Ekika kya Benyamiini ne kiddako; omukulu w'abazzukulu ba Benyamiini ye Abidani mutabani wa Gidewoni.
23
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina.
24
Abaabalibwa ab'olusiisira lwa Efurayimu mu bibinja byabwe bawera abantu akasiriivu kamu mu kanaana mu kikumi. Mu kutambula baliba mu kifo kya kusatu.
25
“Emambuka y'eriba olusiisira lw'ebibinja bya Daani ku bendera ye. Omukulu w'abazzukulu ba Daani ye Akiyezeri mutabani wa Ammisaddayi.
26
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
27
Ekika kya Aseeri kye kirisiisira okumuddirira; omukulu w'abazzukulu ba Aseeri ye Pagyeli mutabani wa Okurani.
28
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo ena mu lukumi mu bitaano.
29
Ekika kya Nafutali ne kiddako; omukulu w'abazzukulu ba Nafutali ye Akira mutabani wa Enani.
30
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina.
31
Abaabalibwa ab'olusiisira lwa Daani mu bibinja byabwe bawera abantu akasiriivu kamu mu emitwalo etaano mu kasanvu mu lukaaga. Mu kutambula bano be baasembangayo okusitula; bonna ku bendera zaabwe.”
32
Abo be Bayisirayeli abaabalibwa mu nnyumba za bajjajjaabwe. Abaabalibwa abaali mu lusiisira, mu bibinja byabwe, baawera obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
33
Abaleevi bo tebaabalibwa na Bayisirayeli balala, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
34
Abayisirayeli ne bakola byonna ng'Omukama bwe yali alagidde Musa; ne basiisira buli omu ku bendera ye, era ne batambuliranga buli omu mu ssiga lye ne mu nnyumba ya bajjajjaabwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36