bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 23
Numbers 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 24 →
1
Balaamu n'agamba Balaki nti: “Nzimbira wano emyaliiro musanvu, tegeka ente ennume musanvu n'endiga ennume ento musanvu.”
2
Balaki n'akola nga Balaamu bwe yagamba, bombi ne batambira ente ennume n'endiga ennume ku buli mwaliiro.
3
Awo Balaamu n'agamba Balaki nti: “Sigala wano ku bitone byo, nze ŋŋendeko ebbali, oboolyawo Omukama anansisinkana; ky'anaaba aŋŋambye, nzija kukikubuulira.” N'alaga ku kasozi akeereere.
4
Katonda n'amusisinkana; Balaamu n'amugamba nti: “Ntegese emyaliiro musanvu, ku buli gumu ntambiriddeko ente ennume n'endiga ennume.”
5
Omukama n'assa ekigambo mu kamwa ke, n'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki omugambe bino.”
6
N'addayo n'amusanga ng'ayimiridde awo ku bitone bye wamu n'abakungu ab'omu Mowabu bonna.
7
Balaamu n'ayogera ekitontome kye nti: “Balaki yandeeta okuva e Arami kabaka w'Abamowabu yanzigya mu nsozi z'ebuvanjuba. ‘Jjangu,’ bwe yagamba, ‘okolimire Yakobo; jjangu ovumirire Yisirayeli.’
8
Nkolimira ntya Katonda gw'atakolimidde? Nvumirira ntya Katonda gw'atavumiridde?
9
Mmulengera nga nnyima ku njazi ez'oku ntikko; mmulaba nga nnyima ku nsozi. Ndaba abantu abaawule, abateebalira mu baamawanga.
10
Ani asobola okubala Yakobo omungi ng'enfuufu? Ani asobola okubala Yisirayeli omungi ng'ekire? Mpa nfe ng'abatuukirivu bwe bafa, n'eyange entuuko efaanane n'eyaabwe.”
11
Balaki n'agamba Balaamu nti: “Kiki ky'onkoze? Nakuyita kuvumirira balabe bange, ate wuuno ggwe obasabira busabizi mukisa!”
12
Ye n'amwanukula nti: “Olwo nneme kwogera Omukama ky'antadde mu kamwa kange?”
13
Balaki n'agamba Balaamu nti: “Jjangu tugende mu kifo ekirala, gy'onoosinziira okubalaba, naye ojja kubalabako kitundu, si bonna; eyo gy'onooyima omunvumirire.”
14
Kwe kumutwala mu ttale lya Zofimu, ku ntikko y'olusozi Pisuga, n'azimba eyo emyaliiro musanvu, n'agitambiririrako buli gumu ente ennume n'endiga ennume.
15
Balaamu n'agamba Balaki nti: “Sigala wano ku bitambiro byo ebyokye, nze nga bwe mmusisinkana wali.”
16
Omukama n'asisinkana Balaamu, n'amussa ekigambo kye mu kamwa, n'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki omugambe bino.”
17
N'addayo, n'amusanga ng'ayimiridde awo ku bitambiro bye ebyokye wamu n'abakungu ab'omu Mowabu. Balaki n'amugamba nti: “Omukama yayogedde ki?”
18
Ye n'ayogera ekitontome kye nti: “Balaki, situka owulire, mutabani wa Zippori, ntegera okutu.
19
Katonda si muntu nti alimba, si mwana wa muntu nti akyusa ebirowoozo. Ayogera, mbu ate n'atakola? Agamba, mbu ate n'atatuukiriza?
20
Ekiragiro nfunye kya kusabira mukisa; awadde omukisa, sisobola kukikyusa.
21
Mu Yakobo temulengerwamu bubi; mu Yisirayeli temulabikamu nnaku. Omukama Katonda we ali naye, mu ye bakuba emizira gya kabaka.
22
Katonda yabaggya mu Misiri, amulwanirira n'amayembe ng'ag'embogo.
23
Teri asobola kuloga Yakobo; teri asobola kugendera Yisirayeli ku ndagu. Abantu batuuse okwogera ku Yakobo ne Yisirayeli nti: ‘Mulabe Katonda ky'akoze!’
24
Baabo abantu basituse ng'empologoma enkazi, bayimuse ng'empologoma ensajja; tegalamira wabula ng'emaze okulya omuyiggo, n'okunywa omusaayi gwa by'eba esse.”
25
Balaki n'agamba Balaamu nti: “Tobavumirira nno, n'omukisa tobawa!”
26
Ko Balaamu nti: “Saakugambye nti nkola kyokka Omukama ky'aŋŋambye?”
27
Balaki n'agamba Balaamu nti: “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza n'oyima eyo okubanvumirira.”
28
Balaki n'atwala Balaamu ku ntikko y'olusozi Pewori, etunudde wansi mu ddungu.
29
Balaamu n'agamba nti: “Nzimbira emyaliiro musanvu; era ntegekera ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu.”
30
Balaki n'akola nga Balaamu bwe yali agambye; n'atambira ente ennume n'endiga ennume ku buli mwaliiro.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36