bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 19
Numbers 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 20 →
1
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
2
“Eno ye ntereeza y'etteeka ly'Omukama gy'alagidde: Lagira Abayisirayeli baleete gy'oli ennyana eya kawemba etaliiko kamogo, etayambazibwanga ku kikoligo,
3
ogiwe kabona Eleyazari; ya kutwalibwa ebweru w'olusiisira ettirwe mu maaso ge.
4
Eleyazari kabona anannyika olunwe mu musaayi gwayo n'agumansira emirundi musanvu mu maaso g'omulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
5
Ejja kwokerebwa awo mu maaso ge, byonna: eddiba, ennyama yaayo, omusaayi n'obusa; abyokyanga.
6
Kabona anaaddira akati k'entolookyo, yissopo n'ewuzi entwakaavu n'abikasuka ku nte eyokebwa mu muliro.
7
Oluvannyuma anaayoza ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'alyoka ayingira mu lusiisira; kyokka ajja kusigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8
N'oli anaagyokya, anaayoza ebyambalo bye n'anaaba n'omubiri n'amazzi, era naye ajja kusigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9
Omusajja, nga mulongoofu, anaakuŋŋaanya evvu ly'ente n'aliyiwa ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu. Ekibiina ky'Abayisirayeli kikuumanga evvu eryo; lijja kweyambisibwanga mu mazzi ag'okutukuza; lya mukolo gwa kutukuzaako kibi.
10
Anaatwala evvu ly'ente bw'anaamala okwoza ebyambalo bye, naye ajja kusigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Lino tteeka lya lubeerera ku Bayisirayeli n'abagwira abali mu bo.
11
“Buli akwatanga ku mulambo gw'omuntu, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.
12
Ku lunaku olwokusatu n'olwomusanvu aneetukuzanga n'amazzi ago, olwo anaabanga mulongoofu. Bw'aba nga teyeetukuzza na mazzi ago ku lwokusatu ne ku lwomusanvu, anaasigalanga tali mulongoofu.
13
Buli yenna akwatanga ku muntu omufu, n'ateetukuza, anaabanga ajaajaamizza Ekisulo ky'Omukama. Oyo akutulwanga ku bantu ba Yisirayeli, kubanga tamansiddwako mazzi gatukuza; taliba mulongoofu, era obutali bulongoofu bwe bulimusigalako.
14
“Lino lye tteeka ku muntu afiiridde mu weema: bonna abayingiranga mu weema eyo, na bonna ababeerangamu, banaabanga si balongoofu okumala ennaku musanvu.
15
Ekintu ekitalina kisaanikira, oba ekitasibiddwako ku mumwa, kinaabanga si kirongoofu.
16
Omuntu ng'ali ebweru bw'anaakwatanga ku mulambo gw'omuntu attiddwa n'ekitala, oba afudde obufi, oba bw'akwatanga ku ggumba ly'omuntu, oba ku malaalo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.
17
“Okutukuza omuntu atali mulongoofu, otoolanga ku vvu ly'ekitambiro ekyokebwa olw'ekibi, n'olisssa mu nsumbi, n'ossaamu amazzi ag'oku luzzi.
18
Mu mazzi ago omuntu, nga mulongoofu, annyikangamu yissopo n'amansira ku weema yonna na byonna ebirimu n'abantu ababangawo, ne ku oyo abanga akutte ku magumba g'omuntu, oba ku malaalo, oba ku muntu eyattibwa oba eyafa obufi.
19
Omuntu omulongoofu amansiranga atali mulongoofu ku lwokusatu ne ku lwomusanvu; ku lwomusanvu n'amutukuza. Atukuzibwa anaabanga n'ayoza n'ebyambalo bye, akawungeezi anaabanga mulongoofu.
20
Omuntu atali mulongoofu bw'ataatukuzibwenga, wa kukutulwanga ku kibiina, kubanga aliba ajaajaamizza Ekisulo ky'Omukama, amazzi agatukuza tegamumansiddwako, awo nno si mulongoofu.
21
Lino tteeka lya lubeerera gye bali. N'oyo yennyini amansidde amazzi agatukuza, ayozanga ebyambalo bye; na buli yenna akwatanga ku mazzi agatukuza, anaabanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22
Atali mulongoofu kyonna ky'akwatako nakyo tekiibenga kirongoofu; n'akikwatako naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36