bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 5
Numbers 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Lagira Abayisirayeli bagobe mu lusiisira buli mugenge yenna, n'alwadde obulwadde obw'okukulukuta amazzi, n'atali mulongoofu olw'okukwata ku mulambo.
3
Abe musajja oba mukazi, mubagobe mu lusiisira baleme kulwonoona, nze mwene mwe nsula mu makkati galwo.”
4
Abayisirayeli ne bakola bwe batyo, ne babagobera ebweru w'olusiisira ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
5
Omukama yagamba Musa nti:
6
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja oba omukazi bw'agwanga mu kimu ku bibi abantu bye batera okugwamu, n'ataba mwesigwa eri Omukama, omuntu oyo anaabanga azzizza omusango.
7
Ayatulanga ensobi ye, n'azza kyonna ekimubanjibwa ng'agasseeko n'ekyokutaano kyakyo, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.
8
Bwe wataabengawo wa luganda lwe wa kumpi gw'abiwa okutanga olw'ensobi ye, omutango gw'aliwa gunaafuukanga gwa Mukama, aguwanga kabona. Aleeterangako endiga ennume ey'omutango eriweerezebwa olw'okuddaabiriza ku lulwe.
9
Anti ebintu byonna ebitone Abayisirayeli bye baleeta ewa kabona biba bya kabona;
10
omuntu ky'awonga kiba kikye, naye bw'akiwa kabona kiba kya kabona.’ ”
11
Omukama yagamba Musa nti:
12
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Singa omukazi omufumbo awabanga n'amenya obwesigwa eri bba,
13
omusajja omulala ne yeebaka naye, kyokka bba n'atakimanyaako, naye nga yeegwagwawaza mu nkiso, kubanga tewali bajulirwa, oba kubanga takwatiddwa lubona,
14
naye bba olw'obuggya n'ajjirwa okubuusabuusa mu mukazi we, ate ddala nga yeegwagwawaza, ne bw'aba ateerera muteerere sso ng'omukazi tanneegwagwawaza,
15
amuleetanga eri kabona. Aleetanga n'obuwunga obwa sayiri obuweza ekyekkumi kimu ekya efa ng'ekitone ku lwa mukazi we. Tayiwangako muzigo oba okussaako obubaani kubanga kino kitambiro olw'obuggya, kijjukizo ku lw'ensobi eyakolebwa.
16
“ ‘Kabona amuleetanga n'amussa mu maaso g'Omukama;
17
addiranga amazzi amatukuvu mu nsumbi, n'assaamu ku nfuufu evudde wansi mu Kisulo.
18
Kabona ng'amaze okuteeka omukazi mu maaso g'Omukama, anaamusumululanga enviiri, n'assa mu mikono gye ekitone eky'obuwunga eky'ekijjukizo era ng'ekitambiro olw'obuggya; ye kabona asigalanga akutte amazzi agakaawa ag'ekikolimo.
19
Olwo kabona amulayizanga ng'agamba nti: “Oba tewabanga musajja mulala yeebaka naawe, oba ggwe okuva ku balo, oba tobangako atali mulongoofu mu bbanga lino ng'ofumbiddwa balo, amazzi gano agakaawa ag'ekikolimo gakwejjeereze.
20
Naye oba wava ku balo bw'otyo ne weegwagwawaza ng'omusajja omulala yeebaka naawe…”
21
Wano kabona amugamba ebigambo eby'ekikolimo nti: “Omukama akuwe okukolimirwa n'okuvumirirwa mu bantu bo; ekisambi kyo kikenene n'olubuto lukwereege;
22
amazzi gano ag'ekikolimo gakukkemu olubuto lukwereege n'ekisambi kikenene.” Omukazi ayanukulanga nti: “Amiina, amiina.”
23
“ ‘Ekikolimo ekyo kabona akiwandiikanga mu kitabo, ate n'akisiimuulira mu mazzi agakaawa.
24
Amuwanga n'anywa amazzi agakaawa mw'atadde ekikolimo; amazzi ag'ekikolimo bwe galimukkamu galimukaayirira.
25
Kabona aggyanga mu mukono gwe ekitone eky'obuwunga olw'obuggya n'akiwuuba mu maaso g'Omukama n'akiteeka ku mwaliiro.
26
Kabona aggyangako olubatu ku kitone eky'obuwunga n'abwokera ku mwaliiro ng'ekitundu kyakyo eky'ekijjukizo, olwo amazzi agakaawa n'agawa omukazi aganywe.
27
Bw'aliba nga yeegwagwawaza, nga teyali mwesigwa eri bba, bw'alinywa amazzi ag'ekikolimo ne gamukkamu gamukaayirire, olubuto lumwereege n'ekisambi kikenene. Alivumirirwa mu bantu be.
28
Bw'aliba nga teyeegwagwawaza, nga taliiko kko, aliba yejjeeredde, alisobola n'okuzaala abaana.
29
“ ‘Eryo lye tteeka ku buggya, omukazi ng'avudde ku bba ne yeegwagwawaza,
30
oba olw'obuggya omusajja n'abuusabuusa mu mukazi we. Kabona wa kumuleetanga mu maaso g'Omukama n'amukolako byonna ebiragiddwa mu tteeka lino.
31
Ye omusajja taabenga na musango gwonna olw'ensobi eyakolebwa, naye omukazi aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.’ ”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36