bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 26
Numbers 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
1
Ekibonerezo ekyo bwe kyaggwa, Omukama n'agamba Musa ne Eleyazari mutabani wa Aroni kabona nti:
2
“Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli mu nnyumba za bajjajjaabwe, okuva ku w'emyaka amakumi abiri n'okweyongerayo, bonna mu Yisirayeli abasobola okutabaala.”
3
Mu miseetwe gy'e Mowabu ku Yorudani emitala wa Yeriko, Musa ne Eleyazari kabona ne boogera gye bali, nga bagamba
4
bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okweyongerayo, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa. Bano be Bayisirayeli abaava mu nsi y'e Misiri:
5
Bazzukulu ba Rubeni omuggulanda wa Yisirayeli mu masiga gaabwe: mu Kanoki, ab'essiga ly'Abakanoki; mu Pallu, ab'essiga ly'Abapallu;
6
mu Kezuroni, ab'essiga ly'Abakezuroni; ne mu Karumi, ab'essiga ly'Abakarumi.
7
Ago ge masiga mu Rubeni. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu.
8
Mutabani wa Pallu yali Eliyabu.
9
Batabani ba Eliyabu baali: Nemweli, Datani ne Abiramu. Bano, Datani ne Abiramu, be bakulembeze b'abantu abaayombesa Musa ne Aroni; baali mu bagoberezi ba Kora lwe baayombesa Omukama.
10
Ettaka lyayasama ne libamira wamu ne Kora, n'abagoberezi bangi ne bafa omuliro lwe gwayokya abasajja ebikumi ebibiri mu ataano; ne bafuuka kyakulabirako.
11
Kyokka ezzadde lya Kora teryazikirira lyonna.
12
Bazzukulu ba Simewoni mu masiga gaabwe: mu Namweli, ab'essiga ly'Abanamweli; mu Yamini, ab'essiga ly'Abayamini; mu Yakini, ab'essiga ly'Abayakini;
13
mu Zeraki, ab'essiga ly'Abazeraki; ne mu Sawuli, ab'essiga ly'Abasawuli.
14
Ago ge masiga mu Basimewoni. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri.
15
Bazzukulu ba Gaadi mu masiga gaabwe: mu Zefoni ab'essiga ly'Abazefoni; mu Kaggi, ab'essiga ly'Abakaggi; mu Suni, ab'essiga ly'Abasuni;
16
mu Ozuni, ab'essiga ly'Aboozuni; mu Eri, ab'essiga ly'Abeeri;
17
mu Arodi, ab'essiga ly'Abaarodi; ne mu Areli, ab'essiga ly'Abaareli.
18
Ago ge masiga mu bazzukulu ba Gaadi. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo ena mu bitaano.
19
Eri n'Onani baali batabani ba Yuda; bombi abaafiira mu nsi y'e Kanaani.
20
Bazzukulu ba Yuda mu masiga gaabwe: mu Sela, ab'essiga ly'Abasela; mu Perezi, ab'essiga ly'Abaperezi; mu Zeraki, ab'essiga ly'Abazeraki.
21
Bo batabani ba Perezi n'ennyiriri zaabwe baali: mu Kezuroni, ab'olunyiriri lw'Abakezuroni; ne mu Kamuli, ab'olunyiriri lw'Abakamuli.
22
Ago ge masiga mu Yuda. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo musanvu mu kakaaga mu bitaano.
23
Bazzukulu ba Yissakari mu masiga gaabwe: mu Tola, ab'essiga ly'Abatola; mu Puva, ab'essiga ly'Abapuva;
24
mu Yasubu, ab'essiga ly'Abayasubu; ne mu Simuroni, ab'essiga ly'Abasimuroni.
25
Ago ge masiga mu Yissakari. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu.
26
Bazzukulu ba Zebuluni mu masiga gaabwe: mu Seredi, ab'essiga ly'Abaseredi; mu Eloni, ab'essiga ly'Abeeloni; ne mu Yakuleeli, ab'essiga ly'Abayakuleeli.
27
Ago ge masiga g'Abazebuluni. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo mukaaga mu bitaano.
28
Bazzukulu ba Yozefu mu bika byabwe, ekya Manasse n'ekya Efurayimu.
29
Bazzukulu ba Manasse: mu Makiri, ab'essiga ly'Abamakiri; Makiri ye yazaala Gileyaadi. Mu Gileyaadi, ab'olunyiriri lw'Abagileyaadi.
30
Aba Gileyaadi: mu Yezeri, ab'olunyiriri lw'Abayezeri; mu Keleki, ab'olunyiriri lw'Abakeleki;
31
mu Asuryeli, ab'olunyiriri lw'Abasuryeli; mu Sekemu, ab'olunyiriri lw'Abasekemu;
32
mu Semida, ab'olunyiriri lw'Abasemida; ne mu Keferi, ab'olunyiriri lw'Abakeferi.
33
Zelofekadi mutabani wa Keferi teyalina baana ba bulenzi, yalina bawala bokka, gano ge mannya gaabwe: Makula, Nowa, Kogula, Miluka ne Tiruza.
34
Ago ge masiga mu Manasse. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.
35
Bazzukulu ba Efurayimu mu masiga gaabwe: mu Sutelaki, ab'essiga ly'Abasutelaki; mu Bekeri, ab'essiga ly'Ababekeri; ne mu Takani, ab'essiga ly'Abatakani.
36
Aba Sutelaki: mu Erani, ab'olunyiriri lw'Abeerani.
37
Ezo ze ndyo mu bazzukulu ba Efurayimu, Abaabalibwa bonna baawera emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo be bazzukulu ba Yozefu mu bika byabwe.
38
Bazzukulu ba Benyamiini mu masiga gaabwe: mu Bela, ab'essiga ly'Ababela; mu Asubeli, ab'essiga ly'Abaasubeli; mu Akiramu, ab'essiga ly'Abakiramu;
39
mu Sesufamu, ab'essiga ly'Abasesufamu; ne mu Kufamu, ab'essiga ly'Abakufamu.
40
Batabani ba Bela baali Arudi ne Naamani; mu Arudi, olunyiriri lw'Abarudi; mu Naamani, olunyiriri lw'Abanaamani.
41
Ezo ze ndyo mu bazzukulu ba Benyamiini. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga.
42
Bazzukulu ba Daani mu ssiga lyabwe: mu Sukamu, ab'essiga ly'Abasukamu. Eryo lye ssiga mu Daani;
43
bonna baali ba ssiga ly'Abasukamu. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina.
44
Bazzukulu ba Aseeri mu masiga gaabwe: mu Yimuna, ab'essiga ly'Abayimuna; mu Yisuvi, ab'essiga ly'Abayisuvi; ne mu Beriya, ab'essiga ly'Ababeriya.
45
Aba Beriya baali: mu Keberi, ab'olunyiriri lw'Abakeberi; ne mu Malukyeli ab'olunyiriri lw'Abamalukyeli.
46
Aseeri yalina muwala we ayitibwa Sera.
47
Ezo ze ndyo mu bazzukulu ba Aseeri. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina.
48
Bazzukulu ba Nafutali mu masiga gaabwe: mu Yakuzeeli, ab'essiga ly'Abayakuzeeli; mu Guni, ab'essiga ly'Abaguni;
49
mu Yezeri, ab'essiga ly'Abayezeri; ne mu Sillemi, ab'essiga ly'Abasillemi.
50
Ago ge masiga ga Nafutali. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina.
51
Omuwendo gwonna ogw'Abayisirayeli abaabalibwa gwali obusiriivu mukaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu.
52
Omukama n'agamba Musa nti:
53
“Ensi egabanyizibwemu mu bano ng'obusika bwabwe, okusinziira ku muwendo gw'amannya.
54
Abangi bawe obusika bunene, abatono bawe obusika butono; obunene bw'obusika buli bamu bwe banaafuna bunasinziira ku muwendo gw'ababaliddwa.
55
Ensi ya kugabibwa ku kalulu kokka. Bajja kusikira nga bagoberera amannya g'ebika bya bajjajjaabwe.
56
Ate n'obusika nabwo bwa kugabanyiza ku kalulu wakati w'amasiga amanene n'amatono.”
57
Bano be Baleevi abaabalibwa mu masiga gaabwe: mu Gerusoni, ab'essiga ly'Abagerusoni; mu Kewati, ab'essiga ly'Abakewati; ne mu Merari, ab'essiga ly'Abamerari.
58
Zino ze nnyiriri z'Abaleevi: olunyiriri lwa Libuni, olunyiriri lwa Keburoni, olunyiriri lw'Abamakuli, olunyiriri lw'Abamuusi, n'olunyiriri lw'Abakora. Kewati yazaala Amuramu;
59
mukazi wa Amuramu nga ye Yokebedi, muwala wa Leevi eyamuzaalirwa mu Misiri. Yokebedi yazaalira Amuramu abaana ab'obulenzi Aroni ne Musa, ne Miriyamu mwannyinaabwe.
60
Aroni yazaala Nadabu ne Abiwu, Eleyazari ne Yitamari.
61
Nadabu ne Abiwu baafa lwe baaweereza mu maaso g'Omukama ekitambiro eky'omuliro ekitakkiriziddwa.
62
Bonna abaabalibwa baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, abasajja okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo. Tebaabalibwa na Bayisirayeli balala, kubanga baali tebafunye busika mu Bayisirayeli.
63
Abo be baabalibwa Musa ne Eleyazari kabona lwe baabala Abayisirayeli mu miseetwe gy'e Mowabu ku Yorudani emitala wa Yeriko.
64
Mu abo temwali n'omu yali mu abo abaabalibwa Musa ne Aroni mu ddungu ly'e Sinayi,
65
kubanga Omukama yali amaze okubagamba nti bonna baali ba kufiira mu ddungu; era tewaasigala n'omu ku abo, wabula Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuunu.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36