bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Numbers 14
Numbers 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 15 →
1
Ekiro ekyo ekibiina kyonna ne kireekaana, abantu ne batema emiranga.
2
Abayisirayeli bonna ne beemulugunyiza Musa ne Aroni nga bagamba nti: “Singa nno twafiira mu Misiri oba mu ddungu lino!
3
Lwaki Omukama yatuleeta mu nsi eno tufe ekitala, bakazi baffe n'abaana batwalibwe ng'omunyago? Okuddayo mu Misiri tekisingako?”
4
Ne bagambagana nti: “Twerondemu omukulembeze, tweddireyo mu Misiri.”
5
Musa ne Aroni bwe baawulira ekyo, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.
6
Naye ye Yoswa, mutabani wa Nuunu ne Kalebu mutabani wa Yefunne, ababiri mu abo abaali bakesse ensi, ne bayuza ebyambalo byabwe,
7
ne bagamba Abayisirayeli bonna abaali bakuŋŋaanye nti: “Ensi gye twetooloola ne tugyekkaanya, nnungi nnyo.
8
Omukama bw'anaaba atusaasidde, ajja kutuyingiza mu nsi eyo, ajja kugituwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
9
Naye muleke kujeemera Mukama, era eky'okutya abantu b'omu nsi eyo mukiveeko kubanga tuyinza okubamira obugobo. Tebakyalina buyambi na bumu; Omukama ali naffe; muleke kubatya.”
10
Naye ekibiina ne kyogera ku ky'okubakuba amayinja. Awo ekitiibwa ky'Omukama ne kirabika ku Weema ey'Ensisinkano mu maaso g'Abayisirayeli bonna.
11
Omukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano banaatuusa wa okunnyooma? Banaatuusa wa obutanzikiriza nga mmaze n'okukola obubonero obwo bwonna bwe nakola mu maaso gaabwe?
12
Ka mbasindikire kawumpuli, mbamalewo; ggwe gwe nzija okukolamu eggwanga eddene ery'amaanyi n'okusinga lino.”
13
Musa n'agamba Omukama nti: “Abamisiri, be waggya abantu bano mu makkati gaabwe n'amaanyi go, bajja kuwulira.
14
Bajja kunyumizaako abantu b'omu nsi eno. Baawulira nti ggwe, Mukama, oli n'abantu bano, bakulaba maaso ku maaso, nti ekire kyo kibali awo bulijjo waggulu, nti obakulemberamu emisana ng'empagi ey'ekire, ate ekiro ng'empagi y'omuliro.
15
Kale nno singa abantu bano onoobatta olumu, ab'amawanga abaawulira ebikwogerwako bajja kugamba nti:
16
‘Omukama yalemwa okuyingiza abantu bano mu nsi gye yabalayirira, kyeyava abasanjagira mu ddungu.’
17
Kano ke kaseera amaanyi g'Omukama geeyoleke, nga bwe walayira n'ogamba nti:
18
‘Omukama tasunguwala mangu, ajjudde ekisa, asonyiwa ekyonoono n'obujeemu, naye taleka kibi nga tekibonerezeddwa; abonereza abaana olw'ekibi ky'abazadde baabwe mu bazzukulu okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna.’
19
Nkwegayiridde, sonyiwa ekibi ky'abantu bano ng'osinziira ku bukulu bw'ekisa kyo, nga bw'ozze obasaasira okuva lwe baava mu Misiri n'okutuusa kati.”
20
Omukama n'ayanukula nti: “Kale mbasonyiye olw'okusaba kwo.
21
Kyokka, nze nga ndi mulamu, n'ekitiibwa ky'Omukama nga kijjuza ensi yonna,
22
abantu bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'obubonero bwe nakola mu Misiri ne mu ddungu, ne batawulira ddoboozi lyange, naye ne bangeza, emirundi kati kkumi,
23
teri n'omu agenda kulaba nsi gye nalayirira bajjajjaabwe; ku abo abannyoomye, mpaawo n'omu aligitunulako.
24
Naye kubanga omuweereza wange Kalebu, endowooza ye ndala, ampeereza n'omutima gwe gwonna, nzija kumutuusa mu nsi eyo gye yalambula, n'ezzadde lye ligenda kugisikira.
25
Kubanga Abaamaleki n'Abakanaani bali mu biwonvu, enkya mukyuse, mwolekere eddungu, mubalaamirize nga muyita ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa.”
26
Omukama n'agamba Musa ne Aroni nti:
27
“Ekibiina kino ekibi kinaatuusa wa okunneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'Abayisirayeli nga banneemulugunyiza.
28
Kale nno bagambe nti: ‘Nze nga ndi mulamu, Omukama y'agamba, bye nnyini bye mpulidde nga mwogera, nange bye nzija kubakola:
29
Emirambo gyammwe gijja kugenda gigwa mu ddungu lino. Mwenna abaabalibwa okuva ku w'emyaka amakumi abiri n'okwambuka abanneemulugunyiza,
30
mpaawo n'omu aliyingira mu nsi gye narayira okugibafuulira awaka wammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne ne Yoswa mutabani wa Nuunu.
31
Abaana bammwe be mwagambye nti baliwambibwa ng'omunyago, bo nno be ndiyingiza ne basanyukira mu nsi mmwe gye mwemansudde.
32
Naye mmwe emirambo gyammwe gijja kugenda gigwa mu ddungu lino.
33
Batabani bammwe bajja kubeera balunzi mu ddungu ebbanga lya myaka amakumi ana, nga babonaabona olw'obwamalaaya bwammwe, okutuusa ku mulambo gwammwe ogulisembayo okugwa mu ddungu.
34
Emyaka amakumi ana gye mujja okumala nga mubonerezebwa olw'ebibi byammwe, nga buli lunaku ku nnaku ana ezaamalwa mu kuketta ensi lusasulibwa mwaka, bwe mutyo lwe mulimanya okumpakanya kiki kye kutegeeza.
35
Nze Omukama, nze njogedde, bwe ntyo bwe nzija kukola ekibiina kino ekyonoonyi ekinneekobedde. Bajja kuggweerera mu ddungu lino; wano we balifiira.’ ”
36
Bwe batyo abasajja Musa be yali atumye okuketta ensi, abadda ate ne baleetera ekibiina kyonna okumwemulugunyiza, nga boogera bubi ku nsi,
37
abantu bano abaayogera obubi ku nsi, baakubibwa wansi ne battibwa ekibonerezo mu maaso g'Omukama.
38
Yoswa mutabani wa Nuunu ne Kalebu mutabani wa Yefunne, mu bonna abaali bagenze okuketta ensi, be bokka abaawonawo.
39
Musa n'abuulira ebigambo bino Abayisirayeli bonna, abantu ne bakaaba nnyo.
40
Enkeera ku makya ne basituka, ne bagenda mu nsozi nga bwe bagamba nti: “Twonoonye. Twetegese okwambuka tulage eri ekifo Omukama kye yayogerako.”
41
Musa n'abagamba nti: “Lwaki muva ku kigambo ky'Omukama? Tebijja kubalamira.
42
Temwambuka, anti Omukama tali nammwe; abalabe bammwe bajja kubakubirayo.
43
Kubanga Abaamaleki n'Abakanaani abali eyo bajja kubasisinkana; kubanga mugaanyi okugondera Omukama, Omukama tajja kubeera nammwe, mujja kufa ekitala.”
44
Naye bo mu kwebambalika kwabwe, ne bambuka mu nsozi; yo Ssanduuku y'Endagaano yasigala mu lusiisira, ne Musa teyaseguka.
45
Abaamaleki n'Abakanaani abaasulanga mu nsozi ne baserengeta ne balumba, ne bagenda nga babakuba okutuusiza ddala e Koruma.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36