bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 1
2 Chronicles 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
1
Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali naye, n'amugulumiza nnyo.
2
Sulemaani n'ayogera na ba Isiraeri bonna: abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abalamuzi na buli mukulembeze mu Isiraeri yenna, na bakulu be nnyumba za bajjajjaabwe.
3
Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna ekyo ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakolera mu ddungu.
4
Naye essanduuko ya Katonda yali mu Yerusaalemi ng'eteekedwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya e Kiriyasuyalimu kubanga yali agisimbidde eweema e Yerusaalemi.
5
Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleeri, mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama, n'ekibiina kyonna n'ekigendanga gye kiri.
6
Sulemaani n'agenda eri ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga weema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7
Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, mu kirooto n'amugamba nti, “Saba kye mba nkuwa.”
8
Sulemaani n'agamba Katonda nti, “Olazze Dawudi kitange ekisa kingi, bwonfudde kabaka mu kifo kye.
9
Kale, ayi Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abali ng'enfuufu ey'oku nsi obungi.
10
N'olwekyo mpa nno amagezi n'okumanya, nsobole okukulemberanga abantu bano bonna: kubanga ani ayinza okufuga abantu bo bano abenkanidde awo obungi?”
11
Katonda n'agamba Sulemaani nti, “Ekyo kyosabye kirungi, so towesaabidde bugagga oba ebintu, wadde ekitiibwa, newakubadde okuzikiriza abo abakukyawa, so towesabidde kuwangaala, naye weesabidde amagezi n'okumanya, osobolenga okufuga abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe,
12
amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa ebitabanga n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba n'oluvannyuma lwo mulala aliba nabyo.”
13
Awo Sulemaani n'ava e Gibyoni, awali Weema ey'okusisinkanirangamu, n'akomawo mu Yerusaalemi, n'afugira eyo Isiraeri.
14
Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi, n'aba n'amagaali lukumi mu bina (1,400) n'abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), n'abateeka mu bibuga eby'amagaali ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga.
15
Mu biseera bye ffeeza ne zaabu byayala mu Yerusaalemi ne biba bingi ng'amayinja obungi. N'emivule ne giba mingi ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi.
16
Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri ne Kulikiya. Abasuubuzi bakabaka baazigulanga Kulikiya ng'ebbeeyi yaazo bwe yabanga.
17
Amagaali baagaggyanga mu Misiri nga buli kigaali kigula sekeri lukaaga (600) eza ffeeza, ate embalaasi ng'egula sekeri kikumi mu ataano (150) eza ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga ne baziguza bakabaka b'Abakiiti n'Abasuuli.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36