bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 30
2 Chronicles 30
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 31 →
1
Awo Keezeekiya n'atumira ab'omu Isiraeri bonna n'ab'omu Yuda, era n'awandiikira ne Efulayimu ne Manase ebbaluwa, bajje mu nnyumba ya Mukama e Yerusaalemi, okukwata Embaga ey'Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isiraeri.
2
Kabaka yali ateesezza ne bakungu be, n'ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi, okukwata Embaga Okuyitako mu mwezi ogwokubiri.
3
Kubanga baali tebaasobola kukwata mbaga mu kiseera ekyo, kubanga bakabona baali batono abeetukuzizza, era nga n'abantu tebannakuŋŋaanira e Yerusaalemi.
4
Awo kabaka n'ekibiina kyonna, ne basiima enteekateeka eyo.
5
Awo ne balangirira mu Isiraeri yonna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isiraeri e Yerusaalemi: kubanga bangi baali tebaagikwatangako nga bwe kiragirwa.
6
Awo ababaka ne batwala amabbaluwa mu Isiraeri yonna ne mu Yuda, okuva ewa kabaka n'abakungu be bagenda nga balina ebbaluwa ezaava eri kabaka n'abakulu be, ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti, “Mmwe abaana ba Isiraeri, ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye okutwalibwa bakabaka b'e Bwasuli, mukyuke mudde eri Mukama, Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, naye alyoke adde gye muli.
7
So temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abaanyiiza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, n'abawaayo okuzikirizibwa nga bwe mulaba.
8
Kale mmwe temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali; naye mweweeyo eri Mukama, mujje mu nnyumba ye gye yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, ekiruyi kye kibaveeko.
9
Kubanga bwe munaakyuka ne mudda eri Mukama, olwo baganda bammwe n'abaana bammwe banaalaba ekisa n'okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, ne bakomawo mu nsi eno: kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, asaasira, so taakyuse amaaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.”
10
Awo ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu n'eya Manase, ne batuuka ne Zebbulooni. Naye abantu babasekerera era ne babaduulira.
11
Wabula abamu okuva mu kika kya Aseri, Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bajja e Yerusaalemi.
12
Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu, ne baba n'omutima gumu, okukola ekyo n'abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama.
13
Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokubiri okukwata embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa.
14
Ne basituka ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi, n'ebyoto byonna eby'okwoterezaako obubaane ne babiggyawo, ne babisuula mu kagga Kidulooni.
15
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwokubiri, ne balyoka batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Okuyitako. Ekyo ne kikwasa bakabona n'Abaleevi ensonyi, ne beetukuza ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama.
16
Ne bayimirira mu kifo kyabwe nga bwe baalagirwa mu Mateeka ga Musa, omusajja wa Katonda. Abaleevi ne baweereza bakabona omusaayi bo ne bagumansira.
17
Kubanga mu kibiina mwalimu bangi abaali tebeetukuzizza, Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu omwana gw'endiga ogw'Embaga ey'Okuyitako, okubatukuza eri Mukama.
18
Newakubadde ng'abantu abasinga mu baali bavudde mu kika kya Efulayimu, Manase, Isakaali ne Zebbulooni, baali tebeetukuzizza, naye ne bamala galya Okuyitako, naye si nga bwe kyalagirwa. Naye kabaka Keezeekiya n'abasabira ng'agamba nti, “Mukama ow'ekisa asonyiwe buli muntu,
19
amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newakubadde nga tatukuziddwa nga amateeka ga watukuvu ag'okutukuza bwe gali.”
20
Awo Mukama n'awulira okusaba kwa Keezeekiya, n'atabakolako kabi.
21
Abaana ba Isiraeri abaali bali e Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey'Emigaati egitazimbulukusiddwa okumala ennaku musanvu n'essanyu lingi. Abaleevi ne bakabona ne batendereza Mukama buli lunaku, n'amaanyi, nga bakuba n'ebivuga.
22
Keezeekiya n'ayogera ebigambo ebizzamu amaanyi Abaleevi abaalaga bwe bamanyi obulungi okuweereza Mukama. Abantu ne bamala ennaku omusanvu nga balya emmere ey'embaga, nga bawaayo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe, era nga beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
23
Awo ekibiina kyonna ne bakkiriziganya okwongerayo ennaku endala musanvu endala nga bali ku mbaga. Bwe batyo ne bamala ennaku endala musanvu nga basanyuka.
24
Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'awa ekibiina ente ennume lukumi (1,000) n'endiga kasanvu (7,000) okuba ez'ekiweebwayo, n'abakungu ne bawa ekibiina ente lukumi (1,000) n'endiga omutwalo gumu (10,000 ). Ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
25
Ekibiina kyonna ekya Yuda wamu ne bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna abaava mu Isiraeri, n'abagenyi abaali mu nsi ya Isiraeri ne mu Yuda, ne basanyuka.
26
Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi, kubanga okuva mu biseera bya Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri, tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi.
27
Awo bakabona n'Abaleevi ne basituka ne basabira abantu omukisa. Katonda n'awulira eddoboozi lyabwe, okusaba kwabwe ne kutuuka mu kifo ekitukuvu gy'abeera, mu ggulu.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36