bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 9
2 Chronicles 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 10 →
1
Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja e Yerusaalemi amugeze, ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu, yajja n'abaddu bangi nnyo, n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka ewa Sulemaani, n'amubuuza ebyo byonna bye yalina ku mutima gwe.
2
Awo Sulemaani n'amuddamu byonna bye yamubuuza: tewali kintu na kimu ekyakaluubirirwa Sulemaani okumunnyonnyola.
3
Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba,
4
n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, n'ennyambala yaabwe, n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe yalinnyangako okugenda mu nnyumba ya Mukama; kale ne yeewuunya nnyo, n'awuniikirira.
5
N'agamba kabaka nti, “Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange ku bikolwa byo n'amagezi go, kyali kituufu.
6
Nange sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'amaaso gange. Byenawulira tebyenkana wadde ekimu eky'okubiri eky'amagezi go, osinga ettutumo lye nnawulira.
7
Abasajja bo nga balina omukisa, abaddu bo bano nga beesiimye, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira eby'amagezi by'oyogera.
8
Mukama Katonda wo atenderezebwe, eyakusiima naakuteeka ku ntebe okuba kabaka ofuge mu linnya lye, kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri, abantu be, era ayagala okubakuuma babeerewo ennaku zonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okuume amateeka n'amazima.”
9
Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri (120), n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: era tewaabaawo bya kaloosa eby'enkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Sebba bye yatonera kabaka Sulemaani.
10
Era n'abaddu ba Kulamu n'abaddu ba Sulemaani abaaleeta zaabu okuva e Ofiri, ne baleeta embaawo ez'emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi.
11
Kabaka n'akozesa embaawo ez'emitoogo okuzimba amadaala g'ennyumba ya Mukama, n'ennyumba ya kabaka, era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Waali tewalabikanga bintu biringa ebyo mu Yuda.
12
Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, na buli kye yasaba kyonna, nga tobaliddeeko ebyo ye bye yamuwa olw'ebirabo naye bye yali amutonedde. Awo kabaka omukazi n'abaddu be ne baddayo mu nsi y'ewaabwe.
13
Zaabu Sulemaani gwe yafunanga mu mwaka ogumu yawezanga obuzito talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
14
nga tobaliddeeko oyo abasuubuzi n'empooza ku bitundibwa gwe baaleetanga. Bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abafuzi b'ebitundu bya Isiraeri, nabo ne baleeteranga Sulemaani zaabu n'effeeza.
15
Kabaka Sulemaani n'aweesa engabo ennene bibiri (200) mu zaabu, nga buli emu ya zaabu aweza sekeri lukaaga (600).
16
Era n'aweesa engabo entono bisatu (300) mu zaabu, nga buli ngabo ya zaabu wa sekeri bisatu (300). Kabaka zonna n'aziteeka kisenge ekiyitibwa, Ekibira kya Lebanooni.
17
Kabaka era n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ey'amasanga, n'agibikkako zaabu omulungi ennyo.
18
Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe, ekirinnyibwako ebigere kyali kya zaabu, era nga kisibiddwa ku yo. Entebe era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi, era ku buli ludda lw'awateekebwa omukono, ku mabbali waaliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde.
19
N'ebifaananyi by'empologoma eziyimiridde ebirala kkumi na bbiri, byali biteekeddwa eruuyi n'eruuyi ku buli nkomerero ya madaala ago omukaaga. Waali tewabangawo ntebe yonna ya kabaka efaanana ng'eno.
20
Ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoose. Mu biseera bya Sulemaani, ffeeza teyatwalibwanga nga ekintu eky'omuwendo.
21
Kabaka yalina empingu y'amaato eyaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; empingu yakomangawo mulundi gumu buli myaka esatu ng'ereese zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne zimuzinge.
22
Bwatyo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi.
23
Bakabaka bonna ku nsi bajjanga okulaba Sulemaani, okuwulira amagezi ge Katonda ge yali amuwadde.
24
Buli muntu eyajjanga gyali buli mwaka ng'amuleetera ekirabo: ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, ebyambalo n'eby'okulwanyisa, n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu.
25
Era Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya (4,000) eby'embalaasi n'amagaali gaazo, abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), be yateeka mu bibuga eby'amagaali, abamu kubo nga babeera naye mu Yerusaalemi.
26
Era yafuga bakabaka bonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, ne ku nsalo eya Misiri.
27
Mu biseera bye Kabaka y'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule olw'obungi bwagyo n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu bya Yuda.
28
Ne baleeteranga Sulemaani embalaasi nga baziggya mu Misiri ne mu nsi zonna.
29
Ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu byalangibwa Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi era kwali kukwata ne ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati.
30
Sulemaani yafugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi emyaka ana. (40)
31
Sulemaani naafa n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Lekobowaamu mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36