bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 35
2 Chronicles 35
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
1
Awo Yosiya n'akwata Embaga ey'Okuyitako kulwa Mukama mu Yerusaalemi. Ne batta omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwolubereberye.
2
N'ateeka bakabona mu bifo eby'obuvunaanyizibwa bwabwe mu nnyumba ya Mukama, n'abakubiriza okukola obulungi.
3
N'agamba Abaleevi abaayigirizanga Isiraeri yenna, era abatukuvu eri Mukama, nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu Yeekaalu, Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri gye yazimba. Si yakwetikanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n'abantu be Isiraeri.
4
Era mweteeketeeke ng'ennyumba za bakitammwe bwe ziri mu mpalo zammwe, nga mugoberera entegeka eyawandiikibwa Dawudi kabaka wa Isiraeri, ne Sulemaani mutabani we.
5
Era muyimirire mu Kifo Ekitukuvu, nga mugoberera ebibinja by'ennyumba za bajjajja ba baganda bammwe abatali Baleevi, buli kibinja kibeeko ab'ennyumba ya bajjajja b'Abaleevi.
6
Era mutte omwana gw'endiga ogw'Embaga ey'Okuyitako, mwetukuze, era muteekereteekere baganda bammwe okukola nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.”
7
Awo Yosiya n'atoola okuva mu bisibo bye abaana b'endiga n'ab'embuzi, emitwalo esatu (30,000), n'ente ennume enkumi ssatu (3,000), n'aziwa abantu bonna abaaliwo abatali Baleevi okuba ebiweebwayo olw'Embaga ey'Okuyitako.
8
N'abakungu be nabo ku lwabwe, ne bawa abantu ne bakabona n'Abaleevi ebintu eby'okukozesa. Kirukiya, Zekkaliya ne Yekyeri, abakulira ennyumba ya Katonda, ne bawa bakabona abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi bbiri mu lukaaga (2,600), n'ente ennume bisatu (300) okuba eze biweebwayo olw'Okuyitako.
9
Konaniya, Semaaya, Nesaneeri, baganda be, ne Kasabiya, Yeyeeri ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi ttaano (5,000), okuba ebiweebwayo olw'Okuyitako.
10
Bwe kutyo okweteekateeka okw'okuweereza bwe kwaggwa, bakabona ne bayimirira mu kifo kyabwe, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali.
11
Ne batta omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, Abaleevi ne bagubaaga, bakabona ne bamansira omusaayi, nga gubaweebwa Abaleevi.
12
Ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa, babigabire abantu abatali Baleevi, mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama balyoke babawe ng'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, okuwaayo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ne ku ente.
13
Ne bookya omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, nga bwe kiragirwa. N'ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumba mu ntamu ne mu sseffuliya ne mu nsaka, ne babitwala mangu abantu bonna abatali Baleevi.
14
Oluvannyuma Abaleevi ne beeteekerateekera bokka ne baateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Alooni, kubanga bakabona tebaalina bbanga olw'omulimu ogw'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu okuzibya obudde: Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bokka era ne baateekereteekera ne bakabona ab'olulyo lwa Alooni.
15
N'abayimbi ab'olulyo lwa Asafu baali mu kifo kyabwe, nga Dawudi, ne Asafu ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka bwe balagira. N'abaggazi baali ku buli luggi, tebaava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
16
Bwe kutyo okuweereza kwonna okwa Mukama ne kuteekebwateekebwa ku lunaku olw'okukwata Okuyitako, n'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama, ng'ekiragiro kya kabaka Yosiya bwe kyali.
17
Abaana ba Isiraeri abaaliwo mu kiseera ekyo ne bakwata Okuyitako, n'embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, okumala ennaku musanvu.
18
Yali tewabangawo mbaga ya ng'eyo mu Isiraeri, okuva ku biro bya Samwiri nnabbi, ng'eyaliwo mu kiseera kya Yosiya. Bakabona, n'Abaleevi n'ab'omu Yuda bonna, n'ab'omu Isiraeri, n'ab'omu Yerusaalemi baaliyo.
19
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa Yosiya, mwe baakwatira Okuyitako okwo.
20
Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Yosiya ng'amaze okuteekateeka Yeekaalu, Neeko kabaka w'e Misiri n'alumba Kalukemisi ku Mugga Fulaati: Yosiya n'agenda okumulwanyisa.
21
Naye Neeko n'amutumira ababaka ng'agamba nti, “Onvunaana ki, ggwe kabaka wa Yuda? Ku mulundi guno sizze kulumba ggwe, wabula ennyumba gye nnwana nayo, Katonda andagidde okwanguwa. Vva ku Katonda ali nange, aleme okukuzikiriza.”
22
Naye Yosiya n'atamuwuliriza bigambo bya Neeko, Katonda bye yamwogeza, naye ne yeefuulafuula n'agenda okulwanira mu kiwonvu Megiddo.
23
Abalasi b'obusaale ne balasa kabaka Yosiya; kabaka n'agamba abaddu be nti, “Munziggyeewo, kubanga nfumitiddwa nnyo.”
24
Awo abaddu be ne bamuggya mu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye eryokubiri lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi; n'afa n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Ab'omu Yuda bonna n'ab'omu Yerusaalemi ne bakaabira Yosiya.
25
Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya, n'abayimbi bonna abasajja n'abakazi ne bagifuula mpisa mu Isiraeri, okuyimba ku Yosiya nga bamukungubagira n'okutuusa ne leero. Era ennyimba zaabwe zaawandiikibwa mu z'okukungubaga.
26
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya n'ebirungi bye yakola ng'agoberera ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama,
27
n'ebikolwa bye ebyasooka n'eby'asembayo byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36