bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 24
2 Chronicles 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
1
Yowaasi yali wa myaka musanvu we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka ana (40) mu Yerusaalemi. Nnyina Zebbiya ow'e Beeruseba.
2
Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona.
3
Yekoyaada n'amuwasiza abakazi babiri, ne bamuzaalira abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4
Bwe waayitawo ebbanga, Yowaasi n'asalawo okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
5
N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ku ba Isiraeri bonna, buli mwaka, effeeza ey'okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne balwawo okukikola.
6
Awo kabaka n'ayita Yekoyaada kabona omukulu waabwe, n'amubuuza nti, “Lwaki tewasalira Abaleevi okuleetanga omusolo okuva mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Musa omuddu wa Mukama gwe yalagira ekibiina kya Isiraeri okuwanga, olw'okulabiriranga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama?”
7
Kubanga batabani ba Asaliya, omukazi oyo omubi, baali bamenye ennyumba ya Katonda; era n'ebintu byonna ebyawongebwa eby'omu nnyumba ya Mukama ne babiwa Babaali.
8
Awo kabaka n'alagira Abaleevi ne bakola essanduuko, ne bagiteeka ebweru awali oluggi olw'ennyumba ya Mukama.
9
Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, abantu okuleeta eri Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira aba Isiraeri nga bali mu ddungu.
10
Awo abakungu bonna n'abantu bonna ne basanyuka, ne baleetanga omusolo, ne baguteekanga mu ssanduuko okutuusa lwe baamala.
11
Awo olwatuuka Abaleevi buli lwebaleetanga essanduuko ewa kabaka okukebera ekirimu, ne basanga ng'erimu effeeza nnyingi, awo omuwandiisi wa kabaka n'omuweereza wa kabona omukulu bajjanga ne baziggyamu, bwe bamalanga nga bagizzayo mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, ne bakungaanya effeeza nnyingi nnnyo.
12
Awo kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gw'okuddaabirizanga ennyumba ya Mukama, bo be balagaananga n'abaasi ba amayinja, n'ababazzi n'abaweesi b'ebyuma n'ab'ebikomo, okuddaabiriza ennyumba.
13
Abakozi abo ne bakola omulimu n'amaanyi, ne baddaabiriza ennyumba ya Katonda nga bwe kyagwanira, ne baginyweza.
14
Awo bwe baamaliririza omulimu effeeza eyasigalawo ne bagireetera kabaka ne Yekoyaada. Ate bo ne bazigulamu ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama: ebijiiko n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza, Ne bawangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama buli lunaku ennaku zonna eza Yekoyaada.
15
Awo Yekoyaada n'akaddiwa, naafa ng'awangadde emyaka kikumi mu asatu (130).
16
Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi mu kifo we baziika ba bakabaka, kubanga yali akoze ebirungi mu Isiraeri, eri Katonda n'ennyumba ye.
17
Awo oluvannyuma Yekoyaada ng'afudde, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'abawuliriza.
18
Ne balekayo okusinzizanga mu ennyumba ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne basinzanga Asera, n'ebifaananyi. Olwo kusobya kwabwe okwo Katonda n'asunguwalira abantu ba Yuda na b'omu Yerusaalemi.
19
Mukama n'abaweerezanga bannabbi okubakomyawo gy'ali, ne babalabulanga, naye bo nga tebasaayo mwoyo, ne ba tawulira.
20
Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada kabona, n'ayimirira abantu we bayinza okumulabira n'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Katonda nti, lwaki mumenya ebiragiro bya Mukama, n'emwereetera emitawaana? Temuyinza kulaba mukisa. kubanga mwaleka Mukama, naye kyavudde abaleka mmwe.”
21
Naye ne bamwekobaanira, era ku kiragiro kya kabaka ne bamukubira amayinja mu luggya lw'ennyumba ya Mukama.
22
Bw'atyo kabaka Yowaasi n'atajjukira kisa ekyamukolerwa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya, naye n'atta mutabani we. Awo Zekkaliya bwe yali ali kumpi okufa n'agamba nti, “Mukama akitunuulire, akubonereze.”
23
Awo ku nkomerero y'omwaka, eggye ery'Abasuuli ne lirumba Yowaasi, okumutabaala: ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne batta abakungu bonna ab'abantu okubamalirawo ddala. Ebintu byonna bye banyaga ne babiweereza ewa kabaka w'e Ddamasiko.
24
Eggye ery'Abasuuli lyali ttono Mukama n'abawa okuwangula eggye eddene erya Yuda kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Bw'atyo Yowaasi bwe yabonerezebwa.
25
Awo Abasuuli bwe baavaayo, baleka Yowaasi alumizibwa nnyo olw'ebiwundu bye yafuna, abaddu be ne bamwekobaanira olw'omusaayi gwa batabani ba Yekoyaada kabona, ne bamuttira mu kitanda kye. Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye ne batamuziika mu masiro ga bassekabaka.
26
Era bano be baakola olukwe okumutta: Zabadi, mutabani wa Simeyaasi, omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi, mutabani wa Simulisi, omukazi Omumowaabu.
27
Ebyafaayo ebikwata ku batabani ba Yowaasi, ne bizibu bannabbi bye balanga ku ye, n'eby'okuddabiriza ennyumba ya Katonda, byonna byawandiikibwa mu binnyonnyola Ekitabo kya Bassekabaka. Amaziya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36