bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 6
2 Chronicles 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
1
Awo Sulemaani n'asaba ng'agamba nti, “Mukama wasalawo okutuulanga mu kizikiza ekikutte.
2
Naye nze nkuzimbidde ennyumba ey'okubeeramu, ekifo ky'onoobeerangamu emirembe gyonna.”
3
Awo kabaka n'akyuka n'atunuulira ekibiina kyonna ekya Isiraeri, ekyali kiyimiridde awo n'abasabira omukisa.
4
N'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isiraeri, atuukiriza ekyo kye yasuubiza Dawudi kitange, bwe yamugamba nti,
5
‘kasookedde nzigya bantu bange mu nsi y'e Misiri, sirondanga kibuga na kimu kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri, okuzimbira omwo ennyumba, nange mbeerenga omwo, so sirondanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri.
6
naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu erinnya lyange; era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isiraeri.’
7
Kale kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
8
Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti, ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira ennyumba.
9
Naye si gwe ojja okunzimbira ennyumba, wabula mutabani wo ggwe wennyini gw'ozaala y'alizimbira ennyumba.’
10
Era Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nze nsikidde kitange Dawudi, era ntudde ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
11
Era ntadde omwo essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yakola n'abaana ba Isiraeri.”
12
Awo Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kiri awo, n'agolola emikono gye.
13
kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, ng'akitadde wakati mu luggya. N'alinnya waggulu ku kituuti ekyo, n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu.
14
n'ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; atuukiriza endagaano ye era akwatirwa ekisa abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna.
15
Otuukiriza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kye wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza olwaleero.
16
Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza ekyo kye wasuubiza omuddu, Dawudi kitange, bwe wamugamba nti, ‘tewaabulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri, abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, ne batambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwo gatambuliddemu mu maaso gange.’
17
Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, kye wagamba omuddu wo Dawudi.
18
Naye mazima ddala, Katonda oyinza okutuula n'abantu mu nsi? Laba, eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye oyinza otya ggwe okugiggyamu?
19
Naye ayi Mukama Katonda wange, wulira okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, kw'asaba mu maaso go:
20
amaaso go gatunuulirenga ennyumba eno emisana n'ekiro, ekifo kye wayogerako ng'oliteeka omwo Erinnya lyo. Kale owulirenga okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'otunuulira ekifo kino.
21
Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino: wuliranga ggwe ng'osinzira ggulu, mu kifo kyo ky'obeeramu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga.
22
Omuntu bw'anaasobyanga ku munne, ne kimugwanira okulayira okukakasa oba nga talina musango, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno:
23
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, n'olamula abaddu bo, n'obonereza asobeza, ne wejjeereza atalina musango.
24
Abantu bo Isiraeri bwe banaawangulwanga abalabe baabwe, kubanga bakwonoonye naye ne bakyuka nate ne beenenya, ne basaba ne beegayirira mu maaso go mu nnyumba eno:
25
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga okwonoona kw'abantu bo Isiraeri, obakomyangawo nate mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.
26
Eggulu bwe linaggalwangawo, enkuba n'etetonnya, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, ng'omaze okubabonereza:
27
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo, abantu bo Isiraeri, n'obayigiriza ekkubo eggolokofu lye bateekwa okutambulirangamu, olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo, gye wawa abantu bo okuba obusika bwabwe emirembe gyonna.
28
Bwe wanaagwanga enjala mu nsi, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala, bukuku, enzige oba kawuka ku birime; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu bibuga byabwe; bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okw'engeri yonna;
29
bwe wanaabangawo okusaba oba okwegayirira kwonna okunaakolwanga omuntu yenna, oba okw'abantu bo bonna Isiraeri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze ng'atunuulidde ennyumba eno:
30
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu n'osonyiwa, era n'osasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe, ggwe wekka omanyi emitima gy'abaana b'abantu;
31
balyoke bakutyenga era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
32
Era mu ngeri y'emu munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala, ng'awulidde obukulu bwo, n'obuyinza bwo, n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'asaba nga atunuulidde ennyumba eno;
33
owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo n'okolera munnaggwanga oyo byonna byakusabye, olwo amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, era bakutye ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye ya kukusinzizangamu.
34
Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe yonna gy'onobasindikanga, ne bakusaba nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
35
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe n'obalwanirira.
36
Bwe banaakwonoonanga, kubanga tewali muntu atayonoona, n'obasunguwalira, n'oleka abalabe baabwe okubawangula n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'ewala oba ey'okumpi;
37
naye bwe beennyamiriranga mu mitima gyabwe mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakyuka ne beenenya, ne bakwegayiririra mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona ne tukuvako ne tukola ebitasaana;’
38
bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna nga bali mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakusaba nga batunuulidde ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, n'ekibuga kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo;
39
kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu n'obaddiramu, n'osonyiwa bantu bo abakwonoonye.
40
Kale, ayi Katonda wange, nkwegayiridde amaaso go gatunuulenga n'amatu go gawulirenga okusaba okunaasabirwanga mu kifo kino.
41
Kale nno, ayi Mukama Katonda, situka ojje oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ayi Mukama Katonda, bawe omukisa, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi.
42
Ayi Mukama Katonda, tolekanga oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okwagala kwo eri Dawudi omuddu wo.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36