bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 5
2 Chronicles 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
1
Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna ogw'okuzimba ennyumba ya Mukama. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga: effeeza ne zaabu, n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda.
2
Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri, n'abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abaana ba Isiraeri, bagende e Yerusaalemi, ba ggyeyo essanduuko ey'endagaano ya Mukama okuva mu kibuga kya Dawudi Sayuuni.
3
Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira ewa kabaka, ku mbaga ey'Ensiisira mu mwezi ogw'omusanvu.
4
Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, Abaleevi ne basitula essanduuko.
5
Ne bagireeta, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu bakabona n'Abaleevi ne babisitula.
6
Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna enkya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne babeera mu maaso g'essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez'endiga n'ente, nnyingi nnyo ezitaabalibwa muwendo.
7
Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, munda mu nnyumba, mu kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
8
Ebiwaawaatiro bya bakerubi ebyayanjala ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo.
9
Emisituliro gyayo gyali miwanvu ng'omuntu ayimiridde munda mu Yeekaalu mu maaso g'ekifo Ekitukuvu Ennyo asobola okulaba emisa gyazo, naye ng'ali ebweru tagiraba. Ekyali eyo ne leero.
10
Mu Ssanduuko temwali kintu kirala wabula ebipande ebibiri, Musa bye yateeka omwo bwe yali ku lusozi Kolebu, Mukama gye yalagaanira endagaano n'abaana ba Isiraeri, nga bavudde mu Misiri.
11
Bakabona bonna, awatali kufa ku mpalo zaabwe, baali beetukuzizza, ne bava mu kifo Ekitukuvu.
12
Abaleevi bonna abayimbi: Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, nga bali ne bakabona kikumi mu abiri (120) nga bafuuwa amakkondeere.
13
Awo olwatuuka ab'ebivuga n'abayimbi ne bakwanya wamu amaloboozi, nga batendereza, nga beebaza Mukama. Ne basaakaanyiza wamu amaloboozi gaabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga bagamba nti, “Mukama mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo ennyumba ya Mukama n'ejjula ekire,
14
bakabona ne batasobola kusigalamu okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula ennyumba ya Katonda.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36