bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 15
2 Chronicles 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
1
Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi:
2
n'agenda okusisinkana Asa n'amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda yonna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; bwe munaamuvangako, naye anaabavangako mmwe.
3
Ebbanga ddene Abaisiraeri lye bamala nga tebalina Katonda ow'amazima, era nga tebalina kabona ayigiriza, era nga talina mateeka:
4
naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba.
5
Ne mu biro ebyo nga tewali muntu yatambulanga mirembe, n'agenda n'adda nga bw'ayagala, kubanga abantu bonna mu bitundu byabwe babanga mu kweraliikirira.
6
Tewaali bumu: amawanga n'amawanga gaalwanagananga, n'ekibuga ekimu nga kirumba kinnaakyo, yabaleetako ennaku n'okweralikirira okwa buli ngeri.
7
Naye mubenga n'amaanyi, so n'emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu gwammwe guliko empeera.”
8
Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yayogera, n'aguma omwoyo, n'aggyawo ebifaananyi byonna ebyasinzibwanga mu nsi yonna eya Yuda n'eya Benyamini, ne mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu. Era n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu luggya lw'ennyumba ya Mukama.
9
Awo Asa n'akuŋŋaanya ab'ekika kya Yuda bonna n'ab'ekya Benyamini, n'abo abaabeeranga mu bo, nga baava mu bitundu: ekya Efulayimu, Manase ne Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.
10
Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokusatu mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obufuzi bwa Asa.
11
Ku lunaku olwo ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama: ente lusanvu (700) n'endiga kasanvu (7,000), nga baziggya ku munyago.
12
Ne bakola endagaano okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna;
13
era buli muntu atakkirizenga kunoonya Mukama, Katonda wa Isiraeri, attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi.
14
Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery'omwanguka, nga baleekaana, era nga bafuuwa amakkondeere n'eŋŋombe.
15
Abantu bonna ab'omu Yuda ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna. Baanoonya Mukama n'okwagala kwabwe kwonna, ne bamulaba: Mukama n'abawa emirembe enjuyi zonna.
16
Kabaka Asa n'agoba Maaka nnyina ku bwa nnamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole eky'Asera. Asa n'akitematema, n'akimenyamenya, n'akyokera ku kagga Kidulooni.
17
Newakubadde Asa teyasaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu mu Isiraeri, naye omutima ggwe gwatuukirira ennaku ze zonna.
18
N'ateeka mu nnyumba ya Katonda, ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu, kitaawe bye yawonga n'ebyo ye yennyini bye yawonga.
19
Ne watabanga ntalo ndala okutuusa mu mwaka ogw'asatu mu etaano (35) ogw'obufuzi bwa Asa.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36