bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 34
2 Chronicles 34
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
1
Yosiya yali wa myaka munaana we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka asatu mu gumu (31) mu Yerusaalemi.
2
N'akolanga ebirungi mu maaso ga Mukama, n'atambuliranga mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n'atakyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okugavaamu.
3
Kubanga mu mwaka ogw'omunaana ogw'okufuga kwe, ng'akyali muto, n'atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) mwe yatandikira okuggya mu Yuda ne mu Yerusaalemi ebifo ebigulumivu, ne bifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'ebifaananyi ebisaanuuse.
4
Ne bamenyamenyera ebyoto bya Baali mu maaso ge, n'ebifaananyi by'enjuba ebyali waggulu ku byo n'abitemaatema, ne bifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'ebifaananyi ebisaanuuse n'abimenyaamenya n'abifuula enfuufu n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga.
5
Era n'ayokera amagumba ga bakabona ku byoto byabwe, n'alongoosa Yuda ne Yerusaalemi.
6
Era bw'atyo bwe yakola ne mu bibuga bya Manase, n'ebya Efulayimu, n'ebya Simyoni okutuukira ddala mu bya Nafutaali, ne mumatongo gaabyo okubyetooloola.
7
N'amenyaamenya ebyoto, n'asekulasekula ebifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'abifuula enfuufu, n'atemaatema ebyoto byonna kwe bayooterezanga obubaane, ebyali mu ensi yonna eya Isiraeri, n'akomawo e Yerusaalemi.
8
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'okufuga kwe, ng'amaze okulongoosa ensi ne Yeekaalu, n'atuma Safani, mutabani wa Azaliya, ne Maaseya eyafuga ekibuga, ne Yowa, mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza ennyumba ya Mukama Katonda we.
9
Ne bagenda eri Kirukiya, kabona asinga obukulu, ne bawaayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abaggazi gye baali basoloozezza mu bantu ba Manase ne Efulayimu, ne mu bitundu ebirala byonna ebya Isiraeri, ne mu Yuda yonna, ne mu Benyamini, ne ku b'omu mu Yerusaalemi.
10
Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwe ennyumba ya Mukama. Abo be basasulanga abakozi abaddaabirizanga n'okulongoosa ennyumba ya Mukama.
11
Ne bawa ababazzi n'abazimbi effeeza okugula amayinja amabajje, n'emiti egy'okuddaabiriza ennyumba, bassekabaka ba Yuda ze baalagajjalira okuddaabiriza.
12
Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa. Abaabalabiriranga baali bano: Yakasi ne Obadiya, Abaleevi ab'omu lulyo lwa Merali; Zekkaliya ne Mesullamu, ab'omu lulyo lwa Kokasi. Abaleevi bonna baali bakugu mu kukuba ebivuga.
13
Era be baalabiriranga abeetissi b'ebintu, ne bakozesa bonna abaakolanga emirimu egya buli ngeri. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi n'abalala nga be bakulira abaggazi.
14
Awo bwe baali baggyayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Mukama, Kirukiya kabona n'alaba ekitabo eky'Amateeka, Mukama ge yawa nga ayita mu Musa.
15
Awo Kirukiya n'agamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo ekyamateeka, mu nnyumba ya Mukama.” Kirukiya n'awa Safani ekitabo.
16
Awo Safani n'atwala ekitabo ekyo eri kabaka, era n'ategeeza ne kabaka nti, “ Byonna abaddu bo bye baalagirwa baabikola.
17
Era baggyeemu effeeza ezibadde mu nnyumba ya Mukama, ne bazikwasa abalabirira omulimu n'abakozi.”
18
Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Safani n'akisomera kabaka.
19
Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'omu Kitabo ky'Amateeka, n'ayuza ebyambalo bye.
20
Awo kabaka n'alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni, mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng'agamba nti,
21
“mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abo abaasigalawo mu Isiraeri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obufukiddwa ku ffe bungi, kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama, okukola nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo kino.”
22
Awo Kirukiya n'abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi, muzzukulu wa Kasula, omuwanika w'ebyambalo, eyabeeranga mu Yerusaalemi, mu kitundu ekipya. Ne boogera naye ku nsonga eyo.
23
N'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti: Mugambe omusajja obatumye gye ndi
24
nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomedde kabaka wa Yuda:
25
kubanga banvuddeko ne bookereza obubaane bakatonda abalala, era bansunguwaziza n'emirimu gyonna egy'engalo zaabwe. Obusungu bwange kyebuvudde bufukibwa ku kifo kino, era tebujja kuzikira.’
26
Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde,
27
ebifa ku kifo kino, n'abo abakibeeramu, omutima gwo ne guba mugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo, n'okaaba amaziga mu maaso gange, nange nkuwulidde.
28
Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo n'oziikibwa mu ntaana yo mirembe, so toliraba bubi bwonna bwe ndituusa ku kifo kino ne ku abo abakirimu.’ ” Ne baddayo ne babuulira kabaka ebigambo ebyo.
29
Awo kabaka n'atuma, n'akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yerusaalemi.
30
Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi, ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna, abakulu n'abato: n'asoma nga bawulira ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano, ekyazuulibwa mu nnyumba ya Mukama.
31
Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, okumuwuliranga, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, okutuukirizanga ebigambo by'endagaano ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
32
Awo n'akubiriza bonna abaaliwo mu Yerusaalemi na ba Benyamini okukakasa nti bajja kugikuuma. Abo abaali mu Yerusaalemi ne bakola ng'endagaano ya Katonda wa bajjajjaabwe, bwe yali.
33
Yosiya n'aggya eby'emizizo byonna, mu bitundu byonna ebya abaana ba Isiraeri. N'akubiriza bonna abaali mu Isiraeri, okuweereza Mukama, Katonda waabwe. Mu mulembe gwe gwonna, tebaalekayo kuweereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36