bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 2
2 Chronicles 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
1
Awo Sulemaani n'ateekateeka okuzimbira Mukama ennyumba, ate naye okwezimbira olubiri.
2
Sulemaani n'alonda abasajja emitwalo musanvu (70,000) ab'okwetikkanga eby'okuzimbisa, n'abasajja emitwalo munaana (80,000) ab'okwasanga amayinja ku nsozi, n'abasajja enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) okulabiriranga omulimu.
3
Sulemaani n'aweereza Kulamu kabaka w'e Ttuulo obubaka buno nti, “Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange n'omuweereza emivule okwezimbira ennyumba okubeera omwo, bw'otyo bw'oba okola nange.
4
Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange ennyumba, era n'okugiwonga eri ye, olw'okwoterezayo obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'okuweerayo emigaati egya buli kiseera, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Ssabbiiti ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi ne ku mbaga endala ezaateekebwawo Mukama Katonda waffe, nga bwe yalagira Isiraeri okukolanga emirembe gyonna.
5
N'ennyumba gye nteekateeka okuzimba nnene: kubanga Katonda waffe mukulu okusinga bakatonda bonna.
6
Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga n'eggulu lyennyini erya waggulu taligyamu? Nze nno nze ani okumuzimbira ennyumba ey'okwoterezamu obubaane mu maaso ge?
7
Kale nno, mpeereza omusajja omumanyirivu asobola okuweesa ebya zaabu, ne bya ffeeza n'eby'ekikomo n'eby'ekyuma, ate era asobola okuluka engoye ez'effulungu, n'entwakaavu, ne za kaniki, ate amanyi okusala amayinja ag'enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
8
Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abasajja bange banaakolera wamu n'ababo,
9
okunteekerateekera emiti emingi: kubanga ennyumba gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba nnene ddala.
10
Nja kuwa basajja bo abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule emitwalo ebiri (20,000) n'ebigero ebya sayiri emitwalo ebiri (20,000), n'ebita eby'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri (20,000) n'ebita eby'amafuta ag'Omuzeyituuni emitwalo ebiri (20,000).”
11
Awo Kulamu kabaka w'e Ttuulo n'awandiikira Sulemaani ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.
12
Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, alina amagezi n'okumanya, ateeseteese okuzimbira Mukama ennyumba, n'okwezimbira olubiri.
13
Kale Kaakano nno nkuweereza omusajja omumanyirivu ayitibwa Kulamu.
14
Nnyina y'omu ku bazzukulu ba Ddaani, ne kitaawe yali mutuuze w'e Ttuulo. Mumanyirivu mu kukola omulimu ogwa zaabu, ogwa ffeeza, ogw'ebikomo, ogw'ebyuma, ogw'amayinja, ogw'emiti, ogw'engoye ez'effulungu, eza kaniki, eza bafuta ennungi ne z'engoye entwakaavu. Era mumanyirivu mu kwola enjola ez'engeri zonna, era asobola okuyiiya engeri yonna ku kintu kyonna ekimuweereddwa okukola. Mukuweereza akolere wamu n'abasajja bo ab'amagezi era n'abo aba mukama wange, Dawudi kitaawo.
15
Kale nno, tuweereze eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye wasuubiza.
16
Naffe tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunagiseeyeereza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe eyo gyoligiggya okugitwala e Yerusaalemi.”
17
Awo Sulemaani n'abala bannamawanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri, nga ne Dawudi kitaawe bwe yababala: omuwendo gwabwe bonna baali emitwalo kkumi n'etaano mu enkumi ssatu mu lukaaga (153,600).
18
N'alonda kubo abantu emitwalo musanvu (70,000) okuba abeetissi be by'okuzimbisa, n'abalala emitwalo munaana (80,000) okwasanga amayinja ku nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) n'abateekawo okulabiriranga abaakolanga emirimu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36