bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 11
2 Chronicles 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
1
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya okuva mu kika kya Yuda n'ekya Benyamini, abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana (180,000), bagende balwanyise Isiraeri, babakomyewo mu bwa kabaka bwe.
2
Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti,
3
“Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, kabaka wa Yuda, n'Abaisiraeri bonna ab'omu kika kya Yuda n'ekya Benyamini nti,
4
‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti temulumba baganda bammwe: muddeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi.’ ” Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okulumba Yerobowaamu.
5
Awo Lekobowaamu n'abeera mu Yerusaalemi, n'azimba ebibuga mu Yuda eby'okwerinda mu Yuda:
6
N'azimba Besirekemu, Etamu, Tekowa,
7
Besuzuli, Soko, Adulamu,
8
Gaasi, Malesa, Zifu,
9
Adorayimu, Lakisi, Azeka,
10
Zola, Ayalooni ne Kebbulooni, ebiri mu Yuda ne mu Benyamini, ebibuga ebiriko ebigo.
11
N'anyweza ebigo, n'abiteekamu ababikulira n'emmere ey'okuterekebwa n'amafuta ag'Omuzeyituuni n'envinnyo.
12
N'ateeka mu bibuga ebyo byonna engabo n'amafumu, n'abinywereza ddala. Bwatyo n'afuga Yuda ne Benyamini.
13
Awo Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bava yonna gye baali babeera, ne bajja eri Lekobowaamu.
14
Abaleevi baaleka amalundiro gaabwe ag'okubibuga byabwe, ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba, ne babagaana okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama:
15
Yerobowaamu ne yeetekerawo bakabona ababe ab'ebifo ebigulumivu, n'ab'embuzi ennume nab'ebifaanani by'ennyana bye yakola.
16
Awo abantu bonna ab'omu bika byonna ebya Isiraeri abaalina omutima ogwagala okusinza Mukama Katonda wa Isiraeri ne bagoberera Abaleevi, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
17
Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, okumala emyaka esatu nga baatambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
18
Awo Lekobowaamu n'awasa Makalasi muwala wa Yerimoosi, mutabani wa Dawudi, ne nnyina nga ye Abikayiri muwala wa Eriyaabu, mutabani wa Yese,
19
n'amuzaalira abaana ab'obulenzi: Yewusi, Semaliya ne Zakamu.
20
Oluvannyuma n'awasa Maaka, muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya, Attayi, Ziza ne Seromisi.
21
Lekobowaamu n'ayagala Maaka, muwala wa Abusaalomu, okukira abakyala be abalala bonna n'abazaana be bonna. Bonna awamu yawasa abakazi kkumi na munaana (18), n'abazaana nkaaga (60). N'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu munaana (28) n'ab'obuwala nkaaga (60).
22
Lekobowaamu n'alonda Abiya, mutabani wa Maaka, okukulira baganda be bonna, ng'agenderera okumufuula kabaka.
23
Yakozesa amagezi, n'ateeka batabani be bonna mu bitundu byonna ebya Yuda ne n'ebya Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko ebigo. Y'abawa ebintu bingi nnyo, n'abawasiza abakazi bangi.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36