bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 31
2 Chronicles 31
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
1
Awo ebyo byonna bwe byaggwa, Abaisiraeri bonna abaali bali awo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi ez'amayinja, ne bifaananyi bya Asera, ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n'ebyoto ebyali mu Yuda, mu Benyamini, mu Efulayimu ne mu Manase. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne baddayo ewaabwe mu bibuga byabwe, mu butaka bwabwe.
2
Awo Keezeekiya n'azzaawo empalo za bakabona n'Abaleevi nga bwe zaali, mu kuweereza kwabwe, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okwebazanga n'okutendererezanga mu nnyumba ya Mukama.
3
Kabaka n'atoola ku bintu ebibye ku bubwe, n'awaayo omutemwa ogw'ebiweebwayo ebyokebwa eby'enkya n'eby'akawungeezi, n'ebiweebwayo ebya Ssabbiiti n'eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama.
4
Era n'alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo gwa bakabona n'Abaleevi, era nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu mateeka ga Mukama.
5
Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna, amangu ago abaana ba Isiraeri ne baleeta mu bungi ebibereberye eby'eŋŋaano n'omwenge, amafuta ag'Omuzeyituuni, omubisi gw'enjuki n'ebibala byonna eby'omu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky'ekkumi ku buli kintu.
6
Abaana ba Isiraeri n'ab'omu Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'ente n'endiga, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ne byawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.
7
Mu mwezi ogwokusatu mwe baatandikira okutuuma entuumo ne bazimaliriza mu mwezi ogw'omusanvu.
8
Awo Keezeekiya n'abakungu bwe bajja ne balaba entuumo, ne beebaza Mukama n'abantu be Isiraeri.
9
Awo Keezeekiya n'abuuza bakabona n'Abaleevi ebikwata ku ntuumo.
10
Azaliya kabona asinga obukulu ow'omu nnyumba ya Zadoki n'amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebitone mu nnyumba ya Mukama, tulya emmere ne tukkuta ne tulemerwanawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n'ebyo ebifisseewo bye nkana wano obungi.”
11
Awo Keezeekiya n'alagira bateeketeeke ebisenge mu nnyumba ya Mukama, ne babitegeka.
12
Ne balyoka bayingiza ebitone n'ebitundu eby'ekkumi, n'ebintu ebyawongebwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebintu ebyo, ne Simeeyi muganda we nga y'amuddirira.
13
Yekyeri, Azaziya, Nakasi, Asakeri, Yerimosi, Yozabadi, Eryezi, Isumskiya, makasi ne Benaya be baabayambangako, baalondebwa Keezeekiya kabaka ne Azaliya omukulu w'ennyumba ya Katonda.
14
Ne Koole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba, ye yali avunaanyizibwa ebyo bye baawaayo eri Katonda ku bwabwe, nga ye yagabanyamu ebirabo bya Mukama n'ebintu ebitukuvu ennyo.
15
Edene, Miniyamini, Yesuwa, Semaaya, Amaliya, ne Sekaniya, nga be basajja abeesigwa abaamuyambangako mu bibuga bya bakabona, okugabiranga baganda baabwe ebintu mu bibinja byabwe, abakulu n'abato.
16
Okwo tekwali abo abaali bawandiikiddwa mu kitabo ekiraga endyo z'obuzaale bwabwe nga bwe ziri, abasajja n'abaana ab'obulenzi bonna, okuva ku myaka esatu n'okusingawo, abo bonna abayingiranga mu nnyumba ya Mukama, okukola emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu mpalo zaabwe.
17
Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe n'Abaleevi abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okukirawo, ne babagabira ebyabwe ng'empalo zaabwe bwe zaali.
18
Omwo mwe mwali bakazi baabwe, n'abaana baabwe abato n'abakulu, ab'obulenzi n'ab'obuwala, abaawandiikibwa ng'okuzaalibwa kwabwe, kubanga beetukuza okukola omulimu gwabwe ekiseera kyonna.
19
Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaali mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n'ab'Abaleevi bonna abaali bawandiikiddwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali.
20
Bwatyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi, era ebituufu n'obwesigwa.
21
Buli mulimu gwonna gwe yatandika mu kuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda, ng'agoberera amateeka ne biragiro, n'okunoonya Katonda we n'agukola n'omutima gwe gwonna, n'alaba omukisa.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36