bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 29
2 Chronicles 29
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 30 →
1
Keezeekiya yatandika okufuga nga wa myaka abiri mu etaano (25), n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Abiya, muwala wa Zekkaliya.
2
N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi byonna nga jjajjaawe Dawudi bye yakolanga.
3
Mu mwaka gwe ogusooka mu bufuzi bwe, mu mwezi ogwolubereberye, n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama, n'aziddaabiriza.
4
N'ayingiza bakabona n'Abaleevi n'abakuŋŋaanyiza mu luggya ku ludda olw'ebuvanjuba,
5
n'abagamba nti, “Mumpulirize, mmwe Abaleevi, kaakano mwetukuze, mutukuze n'ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggyemu kyonna ekitali kirongoofu mu kifo ekitukuvu.
6
Kubanga bajjajjaffe baasobya ne bakola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda waffe ebibi, ne bamuvaako, ne bakuba amabega ekifo Mukama mw'abeera.
7
Ne baggalawo enzigi za Yeekaalu, ne bazikiza ettaala, ne batayotereza bubaane, wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu kifo ekitukuvu eri Katonda wa Isiraeri.
8
Obusungu bwa Mukama kye bwava bubeera ku Yuda ne Yerusaalemi, era abafudde ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n'amaaso gammwe.
9
Bajjajjaffe kye baava bagwa n'ekitala, bakazi baffe, batabani baffe ne bawala baffe, kye baava babeera mu busibe.
10
Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, okukyusa obusungu bwe obukambwe butuveeko.
11
Batabani bange, temugayaala, kubanga Mukama abalonze mmwe okuyimiriranga mu maaso ge, okumuweerezanga, mubeerenga abaweereza be, mwotezenga obubaane.”
12
Awo Abaleevi ne batandika okukola, baali: Makasi, mutabani wa Amasayi, Yoweeri, mutabani wa Azaliya, ab'oku lulyo lwa ba Kokasi. Ab'oku lulyo lwa Merali baali: Kiisi, mutabani wa Abudi, Azaliya, mutabani wa Yekalereri. Ab'oku lulyo lwa ba Gerusoni baali: Yowa, mutabani wa Zimma, ne Edeni, mutabani wa Yowa.
13
Abo mu lulyo lwa Erizafani: Simuli ne Yeweri. Ab'olulyo lwa Asafu: Zekkaliya ne Mattaniya.
14
Ab'olulyo lwa Kemani: Yekweri ne Simeeyi, n'abo lulyo lwa Yedusuni baali: Semaaya ne Wuziyeeri.
15
Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza, ne bayingira mu nnyumba ya Mukama, okugitukuza ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali, nga bagoberera ebigambo bya Mukama.
16
Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama, ne batukuzamu. Ne bafulumya ebitali birongoofu byonna ebyasangibwa mu Yeekaalu ya Mukama, ne babireeta mu luggya olw'ennyumba ya Mukama. Abaleevi ne babitwala ebweru ne babisuula mu kagga Kidulooni.
17
Baatandika okugitukuza ku lunaku olusooka olw'omwezi ogwolubereberye. Ku lunaku olw'omunaana olw'omwezi ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga balongoosa ennyumba ya Mukama. Ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogwo ne bamalira ddala.
18
Awo ne balyoka bagenda ewa Keezeekiya kabaka ne bamugamba nti, “Tumaze okulongoosa ennyumba ya Mukama yonna n'ekyoto ekiweerwako ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebintu byakyo byonna n'emmeeza ey'emigaati egy'okulaga n'ebintu byayo byonna.
19
Era ne bintu byonna kabaka Akazi bye yasuula, bwe yayonoona nga ye afuga, tubitegese ne tubitukuza, era biri mu maaso g'ekyoto kya Mukama.”
20
Awo Keezeekiya kabaka n'agolokoka mu makya, n'akuŋŋaanya abakulu b'ekibuga, n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama.
21
Ne baleeta ente musanvu, n'endiga ennume musanvu, n'abaana b'endiga musanvu n'embuzi ennume musanvu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ku lw'obwakabaka ne ku lwa watukuvu ne ku lwa Yuda. N'alagira bakabona bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama.
22
Awo ne batta ente ennume, bakabona ne batoola omusaayi gwazo ne bagumansira ku kyoto, ne batta embuzi ennume, ne bamansira omusaayi ku kyoto, ne batta n'abaana b'endiga, ne bamansira omusaayi ku kyoto.
23
Ne baleeta embuzi ennume mu maaso ga kabaka n'ekibiina, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ne baziteekako emikono.
24
Bakabona ne bazitta ne bawaayo omusaayi gwazo ku kyoto, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okutangirira Isiraeri yenna: kubanga kabaka yalagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi olwa Isiraeri yenna.
25
N'ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ng'ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka, ne Nasani nnabbi bwe kyali. Kubanga ekiragiro kyava eri Mukama nga kiyita mu bannabbi be.
26
Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga balina amakkondeere.
27
Keezeekiya n'alagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Awo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyatandika okuweebwayo, ne batandika n'okuyimbira Mukama, wamu n'okufuuwa amakkondeere n'okukuba ebivuga bya Dawudi ssekabaka wa Isiraeri.
28
Awo ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n'abafuuwa amakkondeere ne bafuuwa. Byonna ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo.
29
Awo bwe baamalira ddala okuwaayo, kabaka n'abaaliwo bonna ne bavuunama ne basinza.
30
Keezeekiya kabaka n'abakulembeze ne balagira Abaleevi okuyimba ennyimba ezitendereza Mukama, ezaayiiyizibwa Dawudi ne Asafu omulabi. Ne bayimba n'essanyu okutendereza ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
31
Awo Keezeekiya n'agamba nti, “Kaakano nga bwe mwewonze eri Mukama, musembere muleete ssaddaaka n'ebiweebwayo olw'okwebaza mu nnyumba ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaza. Era bonna abaalina omutima ogwagala ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
32
Omuwendo gw'ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina bye kyaleeta gwali: ente ennume nsanvu (70), endiga ennume kikumi (100), n'abaana b'endiga bibiri (200), ebyo byonna nga bya kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
33
Ebirala bye baleeta ebyawongebwa byali: ente lukaaga (600), n'endiga enkumi ssatu (3,000).
34
Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza, omulimu ne guggwa. Abaleevi bassaayo nnyo omwoyo okwetukuza okusinga bakabona.
35
Ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo, wamu n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebya buli kiweebwayo ekyokebwa. Awo okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama ne kuzzibwawo bwe kutyo.
36
Awo Keezeekiya n'abantu bonna n'ebasanyuka, kubanga Katonda yabayamba ne bakola ebyo byonna mu bbanga ettono ddala.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36