bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 7
2 Chronicles 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
1
Awo Sulemaani bwe yamala okusaba omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.
2
Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kijjudde mu nnyumba ya Mukama.
3
Awo abaana ba Isiraeri bonna bwe balaba omuliro nga gukka, n'ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde mu Yeekaalu, ne bavuunama ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti, “mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4
Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaaayo ssaddaaka eri Mukama.
5
Kabaka Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ente ezawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000), n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri (120,000). Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaayo ennyumba eri Katonda.
6
Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n'Abaleevi nabo ne bayimirira nga babatunuulidde, nga bakutte ebivuga Dawudi kabaka bye yakola okutenderezanga Mukama, ne bayimba oluyimba lwa Dawudi olw'okutendereza Mukama nga bagamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Bakabona ne bafuuwa amakkondeere nga Abaisiraeri bonna bayimiridde.
7
Sulemaani n'atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe: kubanga ekyoto eky'ekikomo Sulemaani kye yali akoze kyali tekigyako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu.
8
Mu kiseera ekyo, Sulemaani n'Abaisraeri bonna ne bakwata embaga ey'ennaku musanvu, ekibiina kyali ekinene nnyo, abantu baava awayingirirwa e Kamasi okutuukira ddala ku kagga ak'e Misiri.
9
Awo ku lunaku olw'omunaana ne baba n'okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga baali bamaze okukwata ennaku musanvu ez'okuwaayo ekyoto, n'okukwata ennaku endala musanvu ez'embaga.
10
Ku lunaku olw'abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu, Sulemaani n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe, nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.
11
Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, era ng'amaliriza okuteekamu byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okuteeka mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye,
12
Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo era nzikiriza ekifo kino okuba ennyumba yange ey'okumpeerangamu ssaddaaka.
13
Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange;
14
abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale nnaawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe.
15
Kale amaaso gange ganaazibukanga n'amatu gange ganaawuliranga okusaba okunaasabibwanga mu kifo kino.
16
Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga ku yo ebbanga lyonna.
17
Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'ebiragiro byange;
18
kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti, ‘Tewaabulenga musajja okuva muzzadde lyo afuga Isiraeri.’
19
Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mu basinza:
20
awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'Erinnya lyange ndigisaanyaawo, era ndigifuula olufumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna.
21
N'ennyumba eno ey'ekitiibwa ennyo, buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti,‘ Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno?’
22
Kale banaddangamu nti, ‘Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza: kyeyava abatuusako obubi buno bwonna.’ ”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36