bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 8
2 Chronicles 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
1
Awo olwatuuka emyaka abiri (20) bwe gyaggwako, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye,
2
Sulemaani n'azimba buggya ebibuga, Kulamu bye yamuwa, n'atuuza omwo abaana ba Isiraeri.
3
Awo Sulemaani n'alumba ekitundu ky'e Kamasizoba n'akiwamba.
4
N'azimba ekibuga Tadumoli mu ddungu. N'azimba mu Kamasi ebibuga byonna, n'abifuula eby'okuterekangamu ebintu bye.
5
Era n'azimba ebibuga Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, n'abiteekako bbugwe n'enzigi n'ebisiba;
6
n'azimba ne Baalasi n'ebibuga byonna eby'okuterekangamu ebintu bye yalina, n'ebibuga byonna bye yakuumirangamu amagaali ge n'ebibuga ebyabeerangamu abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni n'awalala wonna mu matwale ge.
7
Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi, n'Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri;
8
abataazikirizibwa abaana ba Isiraeri nga bawamba ensi ya Kanani, ku bazzukulu baabwe Sulemaani mwe yajjanga abaddu ne leero.
9
Naye ku baana ba Isiraeri, Sulemaani teyafuulako baddu ba kukola mirimu gye, wabula baali basajja balwanyi mu ntalo, bakulu ba maggye, abakulira abavuzi b'amagaali ge, n'abasajja abeebagala embalaasi ze
10
Kabaka Sulemaani yalina abaami abakulu bibiri mu ataano (250) abaafuganga abantu.
11
Awo Sulemaani n'aggya mukazi we, muwala wa Falaawo, mu kibuga kya Dawudi, n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira, kubanga yagamba nti, “Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumba ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ekifo kyonna ekyatuukibwamu essanduuko ya Mukama kitukuvu.”
12
Awo Sulemaani n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso Yeekaalu.
13
Yabiwangayo nga bwe kyetaagibwanga buli lunaku, ng'awaayo ng'Amateeka ga Musa bwe galagira okubiwaayo ku Ssabbiiti, ne mu kuboneka kwa buli mwezi, ne ku mbaga esatu ezaalagirwa buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, ku mbaga ey'Amakungula, ne ku mbaga ey'ensiisira.
14
Sulemaani nnakola nga Dawudi kitaawe bwe yalagira, n'ateekawo empalo za bakabona ez'okuweereza kwabwe, n'ez'Abaleevi ze bakolerangako omulimu gwabwe ogw'okuyimba, n'okuweereza nga bayamba bakabona, nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku. N'ateekawo n'abakuumi b'Emiryango mu mpalo ku buli mulyango. Bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
15
Bakabona n'Abaleevi tebaava ku kiragiro kya kabaka Dawudi ekikwata ku kintu kyonna oba ku bintu ebyaterekebwa.
16
Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna, okuviira ddala ku lunaku lwe baasima omusingi gw'Ennyumba ya Mukama, okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyumba ya Mukama n'emalirizibwa.
17
Awo Sulemaani n'agenda e Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku lubalama ly'ennyanja, mu nsi ya Edomu.
18
Kulamu n'amuweereza amaato n'abalunnyanja. Ne bagenda wamu n'abaweereza ba Sulemaani e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta bina mu ataano (450), ne bamuleeta eri kabaka Sulemaani.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36