bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 28
2 Chronicles 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
1
Akazi yali wa myaka abiri (20) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. N'atakola birungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bye yakola.
2
Naye n'atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isiraeri, era n'akola n'ebifaananyi ebisaanuuse ebya Baali.
3
Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'awaayo batabani okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'agoberera emizizo gy'ab'amawanga nga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
4
N'awangayo ssaddaaka wamu n'okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu, ne ku nsozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
5
Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mikono gwa kabaka w'e Busuuli, ne bamuwangula, ne batwala abantu bangi nnyo nga abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Ate era n'amuwaayo mu mikono gwa kabaka wa Isiraeri, eyamuttamu abantu be bangi nnyo.
6
Peka, mutabani wa Lemaliya, yatta mu Yuda mu lunaku lumu, abasajja abazira, emitwalo kkumi n'ebiri (120,000), kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
7
Zikuli omusajja ow'amaanyi owa Efulayimu n'atta Maaseya, mutabani wa kabaka, ne Azulikamu alabirira olubiri lwa kabaka, ne Erukaana eyali addirira kabaka.
8
Abaana ba Isiraeri ne batwala ku baganda baabwe ab'omu Yuda, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, emitwalo abiri (200,000) nga basibe. Era ne babaggyako ebintu bingi, ne batwala omunyago e Samaliya.
9
Naye nnabbi wa Mukama, yali mu Samaliya, erinnya lye Odedi, naye n'afuluma okusisinkana eggye nga likomawo e Samaliya, n'abagamba nti, “Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abawaayo mu mikono gwammwe, era mubassizza obusungu obutuuse mu ggulu.
10
Era kaakano mwagala okufuga abantu b'omu Yuda ne mu Yerusaalemi, okuba abaddu n'abazaana bammwe, naye nammwe temuliiko bibi bye mwakola ne munyiiza Mukama Katonda wammwe?
11
Kale nno mu mpulirize, muzzeeyo abasibe be muwambye ku baganda bammwe, kubanga nammwe Mukama abasunguwalidde.”
12
Awo abamu ku bakulembeze mu Efulayimu: Azaliya mutabani wa Yokanani, Berakiya mutabani wa Mesiremosi, Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, nabo ne bawakanya abo abaava mu ntalo,
13
Ne babagamba nti, “Temuleeta wano abasibe: twakola dda ebibi ne tunyiiza Mukama mu Isiraeri, okwonoona kwaffe kunene, temwongera musango gwaffe kuba munene.”
14
Awo abasserikale ne baleka abasibe n'omunyago mu maaso g'abakulembeze n'ekibiina kyonna.
15
Abasajja abayogeddwako amannya gaabwe, ne basituka ne abo abasibe abaali obwereere ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta. Abatalina maanyi ne babatwalira ku ndogoyi, ne babatuusa e Yeriko, ekibuga eky'enkindu, mu baganda baabwe, bo ne balyoka baddayo e Samaliya.
16
Mu biro ebyo kabaka Akazi n'atumira kabaka w'e Bwasuli okumuyamba.
17
Kubanga Abaedomu baali bazzeemu okulumba Yuda ne batwala abasibe.
18
Era n'Abafirisuuti nabo baali balumbye ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'omu bukiikaddyo obwa Yuda, ne bawamba Besusemesi, Ayalooni, Gederosi ne Soko n'ebyalo byakyo, Timuna ne Gimuzo n'ebyalo byabyo, ne babeeranga omwo.
19
Mukama yafeebya nnyo Yuda olwa Akazi kabaka wa Isiraeri, kubanga yali akoze eby'effujjo, n'ataba mwesigwa n'anyiiza nnyo Mukama.
20
Awo Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja gy'ali, n'amucocca mu kifo ky'okumuyamba.
21
Akazi yaggya ebimu ku bintu mu nnyumba ya Mukama, ne mu nnyumba ya kabaka, ne mu za bakungu, n'abiwa kabaka w'e Bwasuli, era n'ekyo ne kitamuyamba.
22
Kabaka oyo Akazi, ne mu kiseera mwe yalabira ennaku ne yeeyongera bweyongezi okusobya Mukama.
23
N'awaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaali bamuwangudde, Kubanga yagamba nti, “bakatonda ba bakabaka b'e Busuuli babayamba, nange kambawe ssaddaaka bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n'okwa Isiraeri yonna.
24
Akazi n'akuŋŋaanya ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'abyasaayasa byonna, n'aggalawo enzigi z'ennyumba ya Mukama ne yeekolera ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi.
25
Ne mu buli kibuga kya Yuda n'akolamu ebifo ebigulumivu okwotereza obubaane bakatonda abalala, n'asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
26
Ebikolwa bye ebirala byonna n'amakubo ge gonna, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
27
Akazi naafa ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isiraeri. Keezeekiya mutabani we n'amusikira.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36