bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 21
2 Chronicles 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 22 →
1
Awo Yekosafaati naafa, n'aziikibwa awali bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi. Yekolaamu, mutabani we n'amusikira okuba kabaka.
2
Yekolaamu yalina baganda be: Azaliya, Yekyeri, Zekkaliya, Azaliya, Mikayiri ne Sefatiya, abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri.
3
Kitaabwe n'abawa ebintu bingi: ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala eby'omuwendo omungi, wamu n'ebibuga ebiriko ebigo ebigumu mu Yuda, naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye.
4
Awo Yekolaamu bwe yamala okutuuzibwa ku ntebe ey'Obwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza, n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala, n'abamu ab'oku bakungu ba Isiraeri.
5
Yekolaamu yafuuka kabaka nga wa myaka asatu mu ebiri (32), n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
6
N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, nga ab'ennyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yawasa muwala wa Akabu, n'akola ebibi n'anyiiza Mukama.
7
Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yakola ne Dawudi, era nga yamusuubiza nti ab'omu zzadde lye banaafuganga emirembe gyonna.
8
Ku mirembe gya Yekolaamu, Edomu n'ajeema naava mu bufuzi bwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka.
9
Awo Yekolaamu n'abaduumizi be ne basala ensalo, ne bagenda n'amagaali ge gonna okulumba Edomu. Abaedomu ne bamuzingiza, naye ekiro ne basobola okuwaguza ne bagenda.
10
Bwe batyo Abaedomu ne bajeemera Yuda ne leero. Era mu biseera ebyo, Libuna n'ajeemera Yekolaamu, kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe.
11
Era n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'aleetera abantu b'omu Yerusaalemi, n'emu Yuda okusobya Mukama.
12
Awo Yekolaamu n'afuna ebbaluwa eyava ewa Eriya nnabbi, ng'egamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera, Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo, nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo, ne mu ga Asa jjajjaawo, bassekabaka ba Yuda,
13
naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oleteera abantu b'omu Yuda n'emu Yerusaalemi, okuva ku Mukama ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola, okwo n'ossaako okutta baganda bo, ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi:
14
kale nno, Mukama ajja kulwaza abantu bo, abaana bo ne bakazi bo kawumpuli mungi, azikirize n'ebintu byo byonna.
15
Naawe wennyini olirwala endwadde enzibu, erikuluma buli lunaku. Ebyenda byo birirwala, okutuusa lwe bikuvaamu, endwadde erikulumira ddala.”
16
Awo Mukama n'ateeka mu Bafirisuuti n'Abawalabu abaali baliraanye Abaesiyopya, omwoyo ogw'okulwanyisa Yekolaamu,
17
ne balumba Yuda, ne bakiwangula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya kabaka. Ne banyaga batabani be, ne bakazi be bonna okuggyako Yekoyakaazi, mutabani we asingayo obuto.
18
Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna, Mukama n'alwaza Yekolaamu endwadde y'ebyenda.
19
Awo olwatuuka, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bimuvaamu, olw'endwadde ye, n'afiira mu bulumi bungi nnyo. Abantu be ne batamukumira kyoto kumukungubagira nga bwe kyakolebwanga ku bajjajjaabe.
20
Yali wa myaka asatu mu ebiri (32) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. Bwe yafa tewali yamusaalirwa, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36