bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 36
2 Chronicles 36
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
1
Awo abantu ab'omu Yuda ne baddira Yekoyakaazi, mutabani wa Yosiya ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe mu Yerusaalemi.
2
Yekoyakaazi yali wa myaka abiri mu esatu (23) we yatandikira okufuga, n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi.
3
Kabaka w'e Misiri n'amugoba ku ntebe e Yerusaalemi, n'aweesa ensi omusolo gwa talanta kikumi (100) eza ffeeza ne talanta emu eya zaabu.
4
Neeko, Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi, okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'akyusa erinnya lye n'amutuuma Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi e Misiri.
5
Yekoyakimu yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi.
6
Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'amulumba, n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babbulooni.
7
Era Nebukadduneeza n'atwala ku bintu eby'omu nnyumba ya Mukama e Babbulooni, n'abiteeka mu lubiri lw'e Babbulooni.
8
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye yakola n'ebyo bye yasobya, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n'amusikira.
9
Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yatandikira okufuga, n'afugira emyezi esatu ne ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
10
Awo mu kiseera ky'omwaka ebimera mwe bitojjerera, kabaka Nebukadduneeza n'amutumya n'abamuleeta e Babbulooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu nnyumba ya Mukama, n'ateekawo Zeddekiya muganda wa Yekoyakini okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
11
Zeddekiya yali wa myaka abiri mu gumu (21) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi.
12
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi, n'ateetoowaliza Yeremiya nnabbi, eyamubuuliranga ebyavaanga ewa Mukama.
13
Era n'ajeemera kabaka Nebukadduneeza eyali amulayizza Katonda nti anaamuwuliranga, naye n'aguguba n'akakanyaza omutima gwe, n'atakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri.
14
Era nate bakabona bonna abakulu, n'abantu ne basobya nnyo, ne bagobereranga emizizo gyonna egy'ab'amawanga, ne boonoona ennyumba ya Mukama gye yatukuza mu Yerusaalemi.
15
Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'abatumiranga ababaka be, awatali kwosa, kubanga yasaasira abantu be n'ekifo mw'abeera:
16
naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa Mukama lwe yasunguwalira ennyo abantu be, nga takyayinza kubasonyiwa.
17
Kyeyava aleeta kabaka w'Abakaludaaya okubalwanyisa, n'attira abalenzi baabwe n'ekitala mu nnyumba ya Mukama, ne batasaasira mulenzi newakubadde omuwala, omukadde newakubadde akootakoota. Katonda bonna yabawaayo mu mukono gwe.
18
N'ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Katonda, ebinene ne bitono, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga bya kabaka, n'eby'abakungu be, byonna n'abireeta e Babbulooni.
19
Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.
20
N'abo abaawona okuttibwa n'abatwala e Babbulooni ne baba baddu be, ne baba batabani be, okutuusa ku bufuzi bw'obwakabaka bw'Abaperusi.
21
Ekyo kyabaawo okutuukiriza ekigambo kya Mukama kye yayogera nga ayita mu Yeremiya nti, “Ensi eribeera matongo okumala emyaka nsanvu (70), okusasula Ssabbiiti ezitaakuumibwa.”
22
Awo mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza Kuulo kabaka w'e Buperusi, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa nti:
23
“Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Kale buli ali mu mmwe ku bantu be, ayambukeyo, Mukama Katonda we abeere wamu naye.”
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36