bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 13
2 Chronicles 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yerobowaamu owa Isiraeri, Abiya n'atandika okufuga Yuda.
2
N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Mikaaya, muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabaawo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.
3
Abiya n'agenda mu lutalo ng'alina eggye ery'abasajja abazira, emitwalo ana (400,000), ate ye Yerobowaamu najja n'abasajja ab'amaanyi, emitwalo kinaana (800,000) okumulwanyisa.
4
Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'agamba nti, “Gwe Yerobowaamu, nammwe aba Isiraeri mwenna mumpulirize.
5
Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi n'ab'ezzadde lye obwakabaka bwa Isiraeri emirembe gyonna olw'endagaano eterikyuka?
6
Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n'asituka n'ajeemera mukama we.
7
Awo abasajja abataliimu nsa, ne beegatta ku Yerobowaamu ne beewaggula ku Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu, eyali ng'akyali muto nga tannafuna bumanyirivu bwa kubaziyiza.
8
Kaakano mulowooza okulwanyisa obwakabaka bwa Mukama, bwe yawa ab'ezzadde lya Dawudi, kubanga muli kibiina kinene, era era abalina n'ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe.
9
Mwagoba bakabona ba Mukama, ab'olulyo lw'Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'ab'amawanga amalala bwe bakola. Buli ajja ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, muyinza okumufuula kabona w'ebyo ebitali katonda.
10
Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, ba lulyo lw'Alooni era bayambibwako Abaleevi.
11
Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu; ne bateeka n'emigaati egy'okulaga ku mmeeza ennongoofu, ne bakoleeza n'ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu, okwakanga buli kawungeezi. Ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira, naye mmwe mwamuvaako.
12
Laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be balina amakkondeere ge banafuuwa okulangirira olutalo okulwana nammwe. Kale mmwe abaana ba Isiraeri, temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”
13
Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abamu ku balwanyibe, okuteega eggye lya Yuda nga baliva emabega, ate nga abalala balirumba okuva mu maaso.
14
Awo Yuda bwe yaakebuka, ne balaba nga olutalo lubafulumye mu maaso n'emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakkondeere.
15
Awo abasajja ba Yuda ne baleekaana nnyo: bwe beeyongera okuleekaana ennyo, Katonda n'awangula Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
16
Abaana ba Isiraeri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Katonda n'abawaayo mu mukono gwabwe.
17
Abiya n'eggye lye n'ebatta bangi nnyo ku ba Isiraeri, abattibwa bali emitwalo ataano (500,000).
18
Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mulundi ogwo. Abaana ba Yuda basobola okuwangula, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
19
Abiya n'awondera Yerobowaamu, n'amuwambako ebibuga bye: Beseri, Yesana, Efulooni n'ebyalo ebyali bibiriraanye.
20
Yerobowaamu teyaddayo kuba wa maanyi mu mirembe gya Abiya: Mukama n'amulwaza n'afa.
21
Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana (14) n'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu babiri (22) n'ab'obuwala kkumi na mukaaga (16).
22
Ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'empisa ze ne bye yayogera byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Iddo.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36