bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 3
2 Chronicles 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 4 →
1
Awo Sulemaani n'atandika okuzimba ennyumba ya Mukama e Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe. Dawudi yali akiteeseteese olw'ennyumba ya Mukama. Ekifo ekyo kyali gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
2
Sulemaani yatandika okuzimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw'okufuga kwe.
3
Ennyumba ya Mukama Sulemaani gye yapima yali ya mikono nkaaga (60) obuwanvu ne mikono abiri (20) obugazi.
4
Ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, ekipimo kyakyo kyali kya bugazi bwa mikono abiri (20) ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali, n'obugulumivu bwakyo emikono kikumi mu abiri (120). Ekisenge kyakyo munda y'akibikkako zaabu omulongoose.
5
Ekisenge ekinene y'akibikkako embaawo ez'emiberosi, ze yabikkako zaabu omulongoose, n'akolako ebifaananyi eby'enkindu n'emikuufu.
6
Nayooyoota ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi ne zaabu yaggyibwa e Paluvayimu.
7
Ebisenge by'ennyumba, emirabba gyayo, n'emiryango n'abibikkako zaabu. Ku bisenge n'akolako bakerubi.
8
N'azimba ekifo eky'omunda Ekitukuvu Ennyo, ng'obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bw'ennyumba: emikono abiri (20). N'akibikkako zaabu omulongoose aweza talanta lukaaga (600).
9
Obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu ataano (50). Ekisenge ekya waggulu nakyo n'akibikkako zaabu.
10
Mu kifo Ekitukuvu Ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'ekyuma ne bababikkako zaabu.
11
Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi obuwanvu bwabyo bwali emikono abiri (20), ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro kye eky'okubiri nakyo bwe kityo nga kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
12
Ekiwawaatiro kya kerubi omulala nakyo kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka nakyo ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro kye ekirala nakyo nga kiweza emikono etaano, era nga nakyo kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
13
Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi nga byanjuluziddwa byali biweza emikono abiri (20). Baali bayimiridde ku bigere byabwe, nga batunuulidde wakati mu ennyumba.
14
N'akola eggigi mu lugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olutwakaavu ne mu bafuta ennungi, n'alikolerako bakerubi.
15
Mu maaso g'ennyumba n'assaawo empagi bbiri, obugulumivu bwazo, emikono asatu mu etaano (35), era nga buli emu eriko omutwe gwa buwanvu bwa mikono etaano.
16
Ku ntiko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi by'emikuufu ne by'amakomamawanga ag'ekikomo kikumi (100) n'agateeka ku mikuufu.
17
N'asimba empagi ezo mu maaso ga Yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'ey'oku mukono gwa kkono n'agituuma Bowaazi.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36