bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 18
2 Chronicles 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 19 →
1
Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga w'akitiibwa kingi nnyo nnyini, n'ateekateeka mutabani we awase muwala wa Akabu.
2
Bwe waayitawo emyaka, n'agenda e Samaliya okulaba ku Akabu. Akabu n'amuteekerateekera ekijjulo eky'amaanyi, n'amuttira endiga n'ente nnyingi nnyo, ye n'abantu be yagenda nabo, era n'amusendasenda balumbe Lamosugireyaadi.
3
Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi? ” Yekosafaati n'addamu nti, “Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo. Tujja ku kwegatako mu lutalo.”
4
Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
5
Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi, abasajja bina (400), n'ababuuza nti, “Tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? ” Ne baddamu nti, “Genda okirumbe. Katonda ajja kukikuwa okiwangule.”
6
Naye Yekosafaati n'abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama mulala, tumwebuuzeeko?”
7
Kabaka wa Isiraeri n'addamu Yekosafaati nti, “Waliwo omusajja omulala omu ayinza okutubuuliza Mukama: oyo ye Mikaaya, mutabani wa Imula, naye n'amukyawa; kubanga tandagulangako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n'agamba nti, “Kabaka, toyogera bw'otyo.”
8
Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omukungu we, n'amugamba nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula, mubwangu.”
9
Kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka, ne batuula buli muntu ku ntebe ye, mu gguliro, ku mulyango gwa wankaaki ogwa Samaliya. Bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe.
10
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana eyali yeeweesereza amayembe ag'ekyuma. n'agamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama, nti Olitomera Abasuuli na gano, okutuusa lwe balimalibwawo.”
11
Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga bagamba nti, “Genda olumbe Yambuka Lamosugireyaadi okiwangule, kubanga Mukama ajja kukuwa obuwanguzi.”
12
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti, “Laba, ebigambo bya bannabbi abalala bonna bye babulidde kabaka ebirungi, nkwegayiridde, ekigambo kyo kibe ng'ebigambo byabwe, oyogere ebirungi.”
13
Naye Mikaaya n'addamu nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaŋŋamba, ekyo kye nnaayogera.”
14
Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n'amubuuza nti, “Mikaaya, tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” Mikaaya n'addamu nti, “Mugende mukirumbe, mujja kuwangula, Mukama ajja kubawa obuwanguzi.”
15
Awo kabaka n'amugamba nti, “Naakulayiza emirundi emeka obutanimba, wabula okumbuulira amazima mu linnya lya Mukama?”
16
Awo Mikaaya n'addamu nti, “Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'agamba nti, ‘ Abo tebalina mukama waabwe: buli muntu addeyo mu nnyumba ye mirembe.’ ”
17
Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti taalagule birungi ku nze wabula ebibi?”
18
Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti, “Kale muwulire ekigambo kya Mukama, ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye, n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
19
Mukama n'abuuza nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri alumbe Lamosugireyaadi attibwe?’ Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri.
20
Awo ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama, ne gugamba nti, ‘Nze naamusendasenda.’ Mukama n'agubuuza nti, ‘Otya?’
21
Ne guddamu nti, ‘Nja kugenda mbeera omwoyo ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna.’ Mukama n'agamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.’
22
Kale nno, laba, Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano, era ggwe akwogeddeko bubi bwereere.”
23
Awo Zeddekiya, mutabani wa Kenaana, n'asembera n'amukuba Mikaaya ku tama, n'amugamba nti, “Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe?”
24
Mikaaya n'amuddamu nti, “Ddala, ekyo olikiraba ku lunaku lw'oliyingira okwekweka mu kisenge eky'omunda.”
25
Awo kabaka wa Isiraeri n'alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mu muzzeeyo ewa Amoni omukulu w'ekibuga ne wa Yowaasi mutabani wa kabaka.
26
Mubagambe nti, ‘kabaka alagidde nti, Olusajja luno muluteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n'amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ”
27
Awo Mikaaya n'agamba nti, “Bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti, “Muwulire, mmwe abantu mwenna, kye njogedde.”
28
Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne balumba Lamosugireyaadi.
29
Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nnefudde, naye ggwe yambala ebyambalo byo.”
30
Kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge nti, “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.”
31
Awo olwatuuka abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne bagamba nti, “Oyo ye kabaka wa Isiraeri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n'alaajana nnyo, Mukama n'amuyamba, Katonda n'abamuggyako.
32
Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, kale ne balekerawo okumuwondera.
33
Naye omusajja omu n'amala ganaanuula omutego ggwe, n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti, “Kyusa eggaali, onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa nnyo.”
34
Awo olutalo ne lunyinyittira nnyo ku lunaku olwo, kabaka wa Isiraeri ne yeewaliriza okusigala mu ggaali lye ng'atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng'egwa n'afa.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36