bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 20
2 Chronicles 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
1
Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n'Abamoni nga bali wamu n'abamu ku Bamewuni, ne balumba Yekosafaati okulwana naye.
2
Abasajja abamu ne bagenda ne bagamba Yekosafaati nti, “ Eggye ddene eriva emitala w'ennyanja e Busuuli likulumbye, era lituuse e Kazazomutamali, ye Enedi.”
3
Yekosafaati n'atya, n'amalira okwebuuza ku Mukama, n'alangirira okusiiba mu Yuda yonna.
4
Yuda yenna ne bakungaana okusaba Mukama abayambe. baaviira ddala mu bibuga byonna ebya Yuda okwegayirira Mukama.
5
Awo Yekosafaati n'ayimirira mu maaso g'ekkungaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya,
6
n'agamba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow'omu ggulu? Si ggwe afuga obwakabaka bwonna mu nsi? Olina obuyinza n'amaanyi, tewali ayinza okukuziyiza.
7
Ayi Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna?
8
Ne babeera omwo, era bakuzimbidde Yeekaalu okukusinzizangamu, nga bagamba nti,
9
‘Obubi bwe bunaatutuukangako, n'olutalo oba musango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola.’
10
Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okulumba bwe bali baava mu nsi y'e Misiri, naye ne baabeebalama ne batabazikiriza.
11
Laba, kye batusasula, kwe kujja okutugoba mu nsi gye watuwa okuba obutaka bwaffe.
12
Ayi Katonda waffe, obaziyize, kubanga ffe tetulina maanyi n'akatono okulwanyisa eggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kye tunaakola, wabula tutunuulidde ggwe.”
13
Abasajja bonna aba Yuda, wamu n'abakazi, n'abaana baabwe, omuli n'abawere, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.
14
Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya, muzzukulu wa Yeyeeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow'ekika ky'Asafu eyali wakati mu kibiina.
15
N'ayogera nti, “Muwulire, mmwe aba Yuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abagamba Mukama nti, ‘Temutya mmwe so temukeŋŋentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda.’ ”
16
“Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, nammwe munabasanga ekiwonvu we kikoma era eddungu ly'e Yerweri we litandikira.
17
Tekijja kubeetaagisa kulwana lutalo luno: muyimirire buyimirizi mu bifo byammwe, mulyoke mulabe obuwanguzi Mukama bw'anaabawa mmwe, Yuda ne Yerusaalemi. Temutya era temuterebuka. Enkya mu balumbe, kubanga Mukama ali nammwe.”
18
Awo Yekosafaati n'avuunama ddala ku ttaka, ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, ne bamusinza.
19
Abaleevi ab'omu lulyo lwa Kokasi n'ab'omu lulyo lwa Kola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri n'eddoboozi ery'omwanguka.
20
Enkeera mu makya ne basituka ne bagenda mu ddungu ery'e Tekowa. Awo bwe baali nga batandika okutambula, Yekosafaati n'ayimirira n'abagamba nti, “Mumpulire, mmwe aba Yuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi; mukkirize Mukama Katonda wammwe, bwe mutyo bwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, bwe mutyo bwe munaalaba omukisa.”
21
Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obukulu bwe, nga bambadde ebyambalo ebitukuvu. Bakulemberemu eggye nga bayimba nti, “Mwebaze Mukama; kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
22
Awo bwe baatandika okuyimba n'okutendereza, Mukama n'ataayiza abasajja ba Amoni n'aba Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bagugumulwa.
23
Abasajja ba Amoni n'aba Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, ne babazikiririza ddala. Bwe baamala okubasaanyawo ate ne bakyukiragana ne batingana.
24
Awo abasajja ba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw'omu ddungu, ne batunuulira eggye lya balabe, ne balaba nga bonna mirambo egigaŋŋalamye, nga tewali awonyeewo.
25
Awo Yekosafaati n'abantu be bwe bajja okubaggyako omunyago, ne basanga wo ebintu bingi n'engoye nnyingi, n'eby'obugagga bingi, ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga babisomba.
26
Awo ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka, ne batendereza Mukama: ekiwonvu ekyo kye kyava kituumibwa erinnya Beraka, ne leero.
27
Awo Yekosafaati n'akulemberamu aba Yuda n'abe Yerusaalemi, ne baddayo okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama yali awangudde abalabe baabwe.
28
Bwe batuuka e Yerusaalemi, ne bagenda mu nnyumba ya Mukama nga balina entongooli n'ennanga n'amakondeere.
29
Entiisa ya Katonda n'ejja ku bwakabaka bwonna obw'ensi bwe baawulira nga Mukama yalwana n'abalabe ba Isiraeri.
30
Awo obwakabaka bwa Yekosafaati ne butereera: kubanga Katonda we yamuwa emirembe ku enjuyi zonna.
31
Yekosafaati yafuuka kabaka wa Yuda nga wa myaka asatu mu etaano (35), n'afugira emyaka abiri mu etaano (25) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siruki.
32
N'atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi.
33
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo, era n'abantu baali tebewereddeyo ddala mu mitima gyabwe okusinzanga Katonda wa bajjajjaabwe.
34
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya Yeeku, mutabani wa Kanani, n'ebiyingizibwa ne mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri.
35
Oluvannyuma Yekosafaati yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri eyakola ebibi ebingi.
36
Yeegatta naye okukola ebyombo eby'okugenda e Talusiisi, ne babikolera e Ezyonigeba.
37
Awo Eryeza, mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa, n'alabula Yekosafaati ng'agamba nti, “Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama ajja kuzikiriza by'okoze.” Ebyombo ne bimenyekera mu nnyanja ne bitayinza kugenda e Talusiisi.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36