bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 12
2 Chronicles 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 13 →
1
Awo Lekobowaamu bwe yamala okunywezebwa ku bwakabaka, n'aba n'amaanyi, ye wamu n'Abaisiraeri bonna ne bava ku mateeka ga Mukama.
2
Awo mu mwaka ogw'okutaano ogw'obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w'e Misiri n'alumba Yerusaalemi, kubanga baali bavudde ku Mukama.
3
Yajja n'amagaali lukumi mu bibiri (1,200), n'abasajja abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga (60,000), n'abasserikale abalala bangi nnyo abaava mu Misiri: Mwalimu n'ab'Abalubimu, Abasukkiyimu n'Abaesiyopya.
4
N'awamba ebibuga ebiriko ebigo ebigumu ebya Yuda, n'atuuka e Yerusaalemi.
5
Awo Semaaya nnabbi n'agenda eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olw'okutya Sisaki, n'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbawaayo eri Sisaki.”
6
Awo kabaka n'abakulu ba Isiraeri ne beetoowaza, ne bagamba nti, “ Mukama mutuukirivu.”
7
Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, n'agamba Semaaya nti, “Nga bwe beetoowazizza; sijja kubazikiriza, naye n'abalokola, n'obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki.
8
Naye era baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati w'okumpereza, n'okuwereza bakabaka b'amawanga amalala.”
9
Awo Sisaki, kabaka w'e Misiri, n'alumba Yerusaalemi, n'anyaga eby'obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka, byonna n'abitwalira ddala byonna. N'atwaliramu n'engabo zonna eza zaabu, Sulemaani ze yali akoze.
10
Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu kifo kya ziri, n'azikwasa abakuliranga abakuumi b'emiryango gy'ennyumba ya kabaka.
11
Awo kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abakuuma bajjanga ne bazikwata, n'oluvannyuma ne bazizzayo mu kisenge ky'abakuumi.
12
Awo Lekobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n'akyusa ekiruyi kye n'atamuzikiriza, ne mbeera mu Yuda n'eba nungi.
13
Kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi, n'afuga, yali awezeza emyaka ana mu gumu (41) we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu (17) mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye. Nnyina yali Naama Omwamoni.
14
N'akola ebyali ebibi, kubanga teyamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe.
15
Ebikolwa bya Lekobowaamu, bye yakola okuva lwe yatandika okufuga, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi. Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu olutata.
16
Lekobowaamu naafa, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36