bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 10
2 Chronicles 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 11 →
1
Awo Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka.
2
Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyali adduse Sulemaani n'agenda e Misiri bwe yakiwulira n'ava mu Misiri n'akomawo.
3
Awo ne bamutumira, Yerobowaamu ne Isiraeri yenna ne bagenda eri Lekobowaamu ne bamugamba nti,
4
“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe bwonowewula ku buzito obwo, n'otukendereza ku kikoligo ekyo kye yatuteekako, naffe tunaakuweerezanga.”
5
Lekobowaamu n'abaddamu nti, “Mumpeeyo ennaku ssatu ndowooze ku nsonga eyo, mulyoke mukomewo gye ndi nate.” Abantu ne bagenda.
6
Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaawanga Sulemaani kitaawe amagezi ng'akyali mulamu, n'ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okubaddamu abantu bano?”
7
Ne bamuddamu nti, “ Bw'onoobera ow'ekisa eri abantu bano, n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, nabo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.”
8
Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'agenda ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye, era abaali bamuweereza.
9
N'ababuuza nti, “Mumpa magezi ki mmwe okuddamu abantu abaŋŋambye nti, ‘Wewula ku ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
10
Awo abavubuka abakula naye, ne bamugamba nti, “Gamba abantu abo abakugambye nti,‘Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe tukikenderezeko,’ nti, ‘Nnasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
11
Kale nno oba kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze nnaakyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko, naye nze nnaabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.’ ”
12
Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bakomawo eri Lekobowaamu ku lunaku olwokusatu, nga kabaka bwe yali abalagidde okudda gy'ali ku lunaku olwokusatu.
13
Awo kabaka Lekobowaamu n'abaddamu n'ebboggo, n'aleka amagezi abakadde ge baamuwa,
14
n'agoberera amagezi abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti, “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nnaakyongerangako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko, naye nze nnaabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.”
15
Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu: kubanga ekyo Katonda kye yayagala, alyoke atuukirize ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ng'ayita mu Akiya Omusiiro.
16
Awo Abaisiraeri bonna bwe baalaba nga kabaka tabawuliririza, ne bagamba nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? Era mutabani wa Yese agenda kutuwa ki? Kale mmwe Abaisiraeri, buli muntu addeyo ewaabwe. Mwe ennyumba ya Dawudi mwerabirire.” Awo Abaisiraeri bonna ne baddayo ewaabwe.
17
Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
18
Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze eri Abaisiraeri, abaana ba Isiraeri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya eggaali lye, n'addukira e Yerusaalemi.
19
Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36