bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 16
2 Chronicles 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
1
Awo mu mwaka ogwa asatu mu mukaaga (36) ogw'obufuzi bwa Asa, Baasa, kabaka wa Isiraeri, n'alumba Yuda. N'azimba ekigo ekigumu ku Laama okuziyiza omuntu yenna okuva mu Yuda, wadde okugendayo, okusobola okutuuka eri Asa kabaka wa Yuda.
2
Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu muggwanika ly'omu nnyumba ya Mukama, ne mu lubiri lwe, n'abiweereza Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, n'obubaka buno nti,
3
“Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng'eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweereza ffeeza ne zaabu, omenyewo endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.”
4
Benikadadi n'akkiriziganya ne kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri: ne bawamba Iyoni, Ddaani, Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'amawanika ebya Nafutaali.
5
Baasa bwe yawulira ebiguddewo, n'alekerawo okuzimba Laama, n'ayimiriza okukomya omulimu.
6
Awo kabaka Asa n'atwala abasajja ba Yuda, ne baggyawo amayinja n'emiti, Baasa bye yali azimbisa, n'abikozesa okuzimba Geba ne Mizupa.
7
Mu kiseera ekyo, Kanani nnabbi, n'agenda eri Asa kabaka wa Yuda, n'amugamba nti, “Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli, n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya Isiraeri kye livudde likusumattuka.
8
Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi n'abeebagala embalaasi bangi? Naye kubanga weesiga Mukama, yabakuwa n'obawangula.
9
Kubanga amaaso ga Mukama galaba okubuna ensi yonna, okweraga nga bw'ali ow'amaanyi okukuuma abo abamwesigira ddala. Kino ky'okoze kya busiru, olw'ekyo, okuva leero ojja kubanga n'entalo.”
10
Awo Asa n'asunguwalira nnyo nnabbi, kyeyava amukwata n'amuteeka mu kkomera. Mu biseera ebyo, Asa n'ayisa bubi nnyo abantu abamu.
11
Ebikolwa bya Asa okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
12
Mu mwaka ogw'asatu mu mwenda ogw'obufuzi bwe, Asa n'alwala ebigere, n'aba bubi nnyo. Naye newakubadde yalumizibwa nnyo, teyasaba Mukama kumuwonya, wabula yakozesa basawo.
13
Awo mu mwaka ogw'ana mu gumu (41), Asa naafa.
14
Ne bamuziika mu ntaana gye yali yeesimira mu lwazi, mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyaliko eby'akaloosa eby'enjawulo n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa. Ne bakuma ekyoto kinene okumukungubagira.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36