bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 26
2 Chronicles 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
1
Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga (16) ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.
2
Uzziya n'addaabiriza Erosi, n'akiddiza Yuda, nga Amaziya kabaka amaze okufa.
3
Uzziya yali wa myaka kkumi na mukaaga (16) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka ataano mu ebiri (52) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi.
4
N'akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bye yakola.
5
Ne yeewaayo okunoonya Katonda, mu nnaku za Zekkaliya eyamuyigiriza okusaamu Katonda ekitiibwa. Era ebbanga lyonna lye yamala ng'anoonya Mukama, Katonda n'amuwa omukisa.
6
Awo n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe w'ekibuga Gaasi, n'owa Yabune n'owa Asudodi. N'azimba ebibuga mu kitundu ky'e Asudodi ne mu nsi y'Abafirisuuti.
7
Katonda n'amuyamba okuwangula Abafirisuuti n'Abawalabu abaabeeranga e Gulubaali n'Abamewunimu.
8
Abamoni ne bawanga Uzziya omusolo, erinnya lye ne lyatiikirira n'okutuusa ku nsalo ne Misiri, kubanga yali wa amaanyi mangi nnyo nnyini.
9
Era Uzziya n'azimba eminaala mu Yerusaalemi ku mulyango ogw'omu Nsonda ne ku mulyango ogw'omu Kiwonvu, ne ku bbugwe w'awetera, n'abinyweza.
10
N'azimba eminaala emirala mu ddungu n'asima ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi mu biwonvu ne mu lusenyi. Era yalina abalimi n'abasalira emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu, kubanga yayagala nnyo okulima.
11
Era Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abeetegese okulwana, nga bali mu bibinja, ababalibwa ne bawandiikibwa Yeyeeri omuwandiisi, ne Maaseya omukungu, nga balabirirwa Kananiya, omu ku baduumizi ba kabaka.
12
Omuwendo gwonna ogw'abakulu be ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi era abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600).
13
Bano be bakuliranga eggye ly'abasirikale emitwalo asatu mu kasanvu mu bitaano (307,500), abaasobolanga okulwana n'amaanyi, okuyambanga kabaka okulwanyisa abalabe.
14
Uzziya n'ategekera eggye lyonna engabo, n'amafumu, n'enkuffiira n'ebizibawo eby'ebyuma, n'emitego gy'obusaale, n'amayinja ag'envuumulo.
15
Abasajja be ab'amagezi ne bayiiya ebyuma ebyateekebwa ku minaala ku nsonda za bbugwe okulasa obusaale n'okukasuka amayinja amanene. Ettutumu lye ne lituuka wala, n'aba wa maanyi, olw'obuyambi obungi ennyo bwe yafuna.
16
Kabaka Uzziya bwe yafuna amaanyi, n'afuna muli amalala, n'akola ebikyamu n'anyiiza Mukama Katonda we, kubanga yayingira mu Yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'oterezebwako obubaane.
17
Azaliya kabona ng'ali wamu ne bakabona kinaana (80), abasajja abazira, n'ayingira ng'amuvaako emabega.
18
Ne baziyiza kabaka Uzziya, ne bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, wabula gwa bakabona ab'olulyo lwa Alooni, abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Vva mu kifo ekitukuvu, kubanga oyonoonye, era Mukama Katonda tajja kukuwa kitiibwa.”
19
Awo Uzziya n'asunguwala nnyo, era yali ayimiridde awo ku kyoto kyo obubaane, ng'akutte ekyoterezo kyakwo, awo bwe yasunguwalira bakabona, ebigenge ne bimukwata mu kyenyi nga bakabona balaba.
20
Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, ne balaba nga akwatiddwa ebigenge mu kyenyi, ne banguwa okumufulumya ebweru, era naye yennyini n'ayanguwa okufuluma kubanga Mukama yali amubonerezza.
21
Kabaka Uzziya n'aba omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka, era nga takkirizibwa kuyingira mu nnyumba ya Mukama. Yosamu, mutabani we, n'abanga yakulira ennyumba ya kabaka, ng'ayafuga abantu ab'omu nsi.
22
Ebikolwa ebirala byonna ebya Uzziya, bye yakola okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa nnabbi Isaaya, mutabani wa Amozi.
23
Awo Uzziya naafa, n'aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu lusuku lwa bakabaka, sso si mu masiro ga bassekabaka, kubanga baagamba nti Mugenge. Yosamu mutabani we n'amufuga mu kifo kye.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36