bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 32
2 Chronicles 32
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
1
Oluvannyuma lw'ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n'obwesigwa bwe byagwa, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'alumba Yuda, n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'alowooza mu mutima gwe okubyetwalira.
2
Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng'amaliridde okulwanyisa Yerusaalemi,
3
n'ateesa n'abakungu be n'abasajja be ab'amaanyi okuziba ensulo z'amazzi ezaali ebweru w'ekibuga, ne bamuwagira.
4
Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba ensulo ez'amazzi n'akagga akayita mu kitundu ekyo, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b'e Bwasuli basanga amazzi amangi nga bazze?”
5
N'aguma omwoyo n'azimba ekisenge kyonna ekyali kimenyese n'akisitula okwenkana n'eminaala. N'azimba n'ekisenge ekirala ebweru waakyo. N'anyweza mu Kibuga kya Dawudi ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda ekiyitibwa Mirro. N'akola eby'okulwanyisa n'engabo bingi nnyo ddala.
6
N'ateekewo abaduumizi b'amagye okulabiriranga abantu, era n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu kifo ekigazi ku wankaaki w'ekibuga, n'ayogera nabo ebigambo eby'okubagumya, nga agamba nti,
7
“Mube n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w'e Bwasuli, newakubadde olw'egye lyonna eriri naye, kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye:
8
Ye ali wamu n'eggye ery'abantu, naye tuli wamu ne Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.
9
Oluvannyuma lw'ebyo, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli yali ng'azingizizza Lakisi n'amagye ge gonna, n'atuma abaddu be eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'eri abantu ba Yuda bonna abaali e Yerusaalemi, ng'agamba nti,
10
“Bw'atyo bw'ayogera Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli nti Mwesiga ki n'okulinda ne mulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemi?
11
Keezeekiya tababuuzaabuza okubawaayo muffe enjala n'ennyonta, ng'agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe ajja kubawonya mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?’
12
Keezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'alagira Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto ekimu kyokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane?
13
Temumanyi nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag'omu nsi endala? Bakatonda b'amawanga ag'omu nsi ezo baasobola okuwonya ensi zaabwe mu mukono gwange?
14
Katonda ki ku bakatonda bonna ab'amawanga gali bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange, Katonda wammwe asobole okubawonya mu mukono gwange?
15
Kale nno Keezeekiya aleme okubalimba newakubadde okubabuzabuza bw'atyo, so temumukkiriza: kubanga tewali katonda ow'eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange. Kale olwo Katonda wammwe anaabawonya atya okubaggya mu mukono gwange?”
16
Abakungu be ne beeyongera okuvuma Mukama Katonda, n'omuddu we Keezeekiya.
17
Era n'awandiika ebbaluwa okuvvoola Mukama Katonda wa Isiraeri, n'okumwogerako obubi nti, “Nga bakatonda b'amawanga ag'omu nsi endala bwe bataawonya bantu baabwe mu mukono gwange, bw'atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw'atajja kuwonya bantu be mu mukono gwange.”
18
Ababaka ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya eri abantu ab'e Yerusaalemi abaali ku bbugwe, okubatiisa, n'okubakanga, bo balyoke bawambe ekibuga.
19
Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe boogera ku bakatonda ab'amawanga ag'omu nsi, abakolebwa n'emikono gy'abantu.
20
Awo Keezeekiya kabaka ne nnabbi Isaaya, mutabani wa Amozi ne basaba Katonda, ne bamwegayirira ku nsonga eyo.
21
Mukama n'atuma malayika n'asaanyaawo abasajja bonna ab'amaanyi abazira n'abaduumizi b'eggye mu lusiisira lwa kabaka w'e Bwasuli. Sennakeribu n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Awo bwe yatuuka mu ssabo lya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutemula n'ekitala.
22
Bw'atyo Mukama bwe yawonya Keezeekiya n'abo abaali mu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, ne mu mukono gw'abalala bonna n'abaluŋŋamya enjuyi zonna.
23
Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, Keezeekiya kabaka wa Yuda, ne bamuwa ebintu eby'omuwendo omungi. N'okuva ku lunaku olwo n'aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.
24
Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. N'asaba Mukama amuwonye, Mukama n'amuddamu n'akabonero nti ajja kuwona.
25
Naye Keezeekiya n'ateebaza olw'ekisa ekya mukolerwa, olwa malala agaali mu ye. obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubukira ku ye, ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.
26
Oluvannyuma Keezeekiya n'abantu b'omu Yerusaalemi ne beetoowaza olw'amalala ag'omutima gwe, obusungu bwa Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.
27
Keezeekiya yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini, ne yeezimbira amawanika ag'okuterekamu ffeeza ne zaabu, amayinja ag'omuwendo omungi, n'eby'akaloosa, n'engabo, n'ag'ebintu byonna ebirungi.
28
N'azimba n'amaterekero g'eŋŋaano, n'omwenge, n'amafuta. N'azimba n'ennyumba ez'ebisolo ebirundibwa ebya buli ngeri, n'ebisibo by'endiga.
29
Era ne yeezimbira ebibuga, n'afuna endiga, embuzi n'ente, bingi nnyo, kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo ddala.
30
Era Keezeekiya oyo ye yaziba omukutu gw'amazzi ogw'engulu ogw'Oluzzi lwa Gikoni, n'agatemera ogwo ogw'okugaserengesa ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga kya Dawudi. Keezeekiya yalina omukisa mu mirimu gye gyonna.
31
Naye mu bigambo by'ababaka abaatumibwa abakulu b'e Babbulooni okumubuuza ku ky'amagero ekyakolebwa mu nsi, Katonda n'amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
32
Ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya, n'ebirungi bye yakola, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi, ne mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
33
Keezeekiya naafa, ne bamuziika mu kitundu ekya waggulu mu masiro ga bazzukulu ba Dawudi. Yuda yenna n'ab'omu Yerusaalemi ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Manase mutabani we n'amusikira.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36