bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 33
2 Chronicles 33
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 34 →
1
Manase yali wa myaka kkumi n'ebiri (12) bwe yatandikira okufuga, n'afugira emyaka ataano mu etaano (55) mu Yerusaalemi.
2
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
3
Kubanga yazimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yamenyaamenya; n'asimbira Baali ebyoto n'akola ebifaananyi bya Asera, n'asinza byonna ebyakira mu ggulu n'aliweerezanga.
4
N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.”
5
Era n'azimbira ebyakira mu byonna ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama.
6
Era n'awaayo abaana be ng'ekiweebwayo, ne bookebwa mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n'alaguza ebire n'akola eby'obulogo n'eby'obuganga, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo. N'akola ebibi bingi n'asunguwaza nnyo Mukama.
7
N'addira ekifaananyi ekyole kye yakola n'akiteeka mu nnyumba ya Katonda, Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu nnyumba eno, ne mu Yerusaalemi ekibuga kye nneerobozezza mu bika byonna ebya Isiraeri, mmwe nnaateekanga erinnya lyange emirembe gyonna.
8
Sijjululenga nate kigere kya Isiraeri okuva mu nsi gye nnawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola byonna bye mbalagidde, nga bakwata amateeka gonna, n'ebiragiro n'obulombolombo bye nnabawa nga mbiyisa mu Musa.”
9
Manase n'awabya Yuda n'abali mu Yerusaalemi ne bakola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
10
Mukama n'ayogera ne Manase n'abantu be, naye ne batassaayo mwoyo.
11
Mukama kyeyava aleka abaduumizi b'eggye lya kabaka w'e Bwasuli, ne batwalira Manase mu njegere, ne bamusiba n'amasamba, ne bamutwala e Babbulooni.
12
Awo bwe yalaba ennaku, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe.
13
N'amusaba, Mukama n'awulira okwegayirira kwe, n'amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n'amanya Mukama nga ye Katonda.
14
Awo oluvannyuma lw'ebyo n'azimba bbugwe ow'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku ludda lwa Gikoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw'Ebyennyanja, n'okutuuka mu kitundu ky'ekibuga ekiyitibwa Oferi, n'akigulumiza waggulu ddala, n'ateeka abaduumizi b'amagye mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko ebigo.
15
N'aggyawo bakatonda ab'amawanga n'ekifaananyi ekyole kye yali atadde mu nnyumba ya Mukama, n'ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi olw'ennyumba ya Mukama ne mu Yerusaalemi, byonna n'abisuula ebweru w'ekibuga.
16
N'azimba obuggya ekyoto kya Mukama n'aweerayo okwo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe n'ez'okwebaza, n'alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isiraeri.
17
Naye abantu bo ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, newakubadde nga baaziwangayo eri Mukama Katonda waabwe yekka.
18
Ebikolwa ebirala byonna ebya Manase n'okusaba kwe yasaba Katonda we, n'ebigambo by'abalabi abaayogeranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri, byawandiikibwa mu kitabo kye bikolwa bya bassekabaka ba Isiraeri.
19
Okusaba kwe n'okuddamu kwa Katonda, ebibi bye byonna, n'okusobya kwe n'ebifo ebigulumivu bye yazimba, n'ebifaananyi bya Asera byeyakola, nga tannaba kwetoowaza, byonna byawandiikibwa mu byafaayo bya Kozayi.
20
Manase naafa, ne bamuziika mu lubiri lwe, Amoni, mutabani we n'amusikira.
21
Amoni yali wa myaka abiri mu ebiri (22) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi.
22
N'akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bye yakola. Amoni n'awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi ebyole byonna, Manase kitaawe bye yakola, n'abisinzanga.
23
Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, n'ateetoowaliza Mukama, wabula ne yeeyongera bweyongezi okusobya.
24
Abaddu be ne bamukolera olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe.
25
Naye abantu ab'omu nsi ne batta bonna abeekobaana okutta kabaka Amoni, ne bafuula Yosiya, mutabani we, kabaka mu kifo kye.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36