bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Chronicles 17
2 Chronicles 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 18 →
1
Yekosafaati n'asikira Asa kitaawe, n'afuuka kabaka, era ne yeenyweza okulwana ne Isiraeri.
2
N'ateeka amaggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe bya Yuda, n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda, ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yawamba.
3
Mukama n'abeera wamu ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu mpisa ennungi eza kitaawe ezasooka, n'atagenda eri Babaali;
4
naye n'agendanga eri Katonda wa kitaawe, n'atambulira mu mateeka ge, n'atakola ng'ebikolwa bya Isiraeri bwe byali.
5
Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo.
6
Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama: n'aggyawo ebifo ebigulumivu nebifaananyi bya Asera mu Yuda.
7
Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'atuma abakungu be; Benikayiri, Obadiya, Zekkaliya, Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda.
8
Awamu nabo n'atuma n'Abaleevi: Semaaya, Nesaniya, Zebadiya, Asakeri, Semiramoosi, Yekonasaani, Adoniya, Tobbiya ne Tobadoniya. Awamu n'Abaleevi abo n'atuma ne bakabona Erisaama ne Yekolaamu.
9
Ne bayigiriza mu Yuda nga bakozesa ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu.
10
Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, ne batalwanyisa Yekosafaati.
11
Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ng'omusolo. Abawalabu ne bamuleetera embuzi kasanvu mu lusanvu (7,700), n'endiga ennume kasanvu mu lusanvu (7,700).
12
Yekosafaati ne yeeyongera okuba n'amaanyi, n'azimba mu Yuda ebigo n'ebibuga eby'amawanika.
13
Yalina ebintu bingi mu bibuga bya Yuda. Yalina abasserikale abasajja ab'amaanyi era abazira mu Yerusaalemi.
14
Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali: okuva mu kika kya Yuda, Aduna ye yali akulira abaduumizi ab'ebinja eby'olukumi, abasajja ab'amaanyi emitwalo asatu (300,000).
15
N'eyamuddirira yali Yekokanani omuduumizi w'abasirikale emitwalo abiri mu munaana (280,000).
16
Ow'okusatu yali Amasiya, mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe okuweereza Mukama, yali aduumira abasserikale, abasajja ab'amaanyi era abazira, emitwalo abiri (200,000).
17
Okuva mu kika kya Benyamini; Eriyada omusajja ow'amaanyi era yali aduumira abasserikale emitwalo abiri (200,000), abalina obusaale n'engabo.
18
Eyali amuddirira yali Yekozabadi, nga aduumira abasserikale, abeeteeseteese okulwana, emitwalo kumi na munaana (180,000).
19
Abo be baaweerezanga kabaka, nga tobaliddeeko abo be yateeka mu bibuga ebyaliko ebigo ebigumu okubuna Yuda yonna.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36