bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 1
Jeremiah 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 2 →
1
Ebigambo bya Yeremiya mutabani wa Kirukiya omu ku bakabona abaali mu kibuga Anasosi mu nsi ya Benyamini,
2
eyajjirwa ekigambo kya Mukama mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ogw'okufuga kwe.
3
Era kyajja ne mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, n'okutuusa ku nkomerero y'omwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, n'okutuusiza ddala ab'e Yerusaalemi lwe baatwalibwa nga basibe mu mwezi ogw'okutaano.
4
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kigamba nti,
5
“Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nnakutukuza; era nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga.”
6
Awo nze ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! Laba, siyinza kwogera, kubanga ndi mwana muto.”
7
Naye Mukama n'aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana muto;’ kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy'onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky'onooyogeranga.
8
Tobatyanga, kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw'ayogera Mukama.”
9
Awo Mukama n'agolola omukono gwe n'akwata ku kamwa kange; Mukama n'aŋŋamba nti, “Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko.
10
Laba, leero nkutaddewo okuba omukulu w'amawanga era ow'amatwale ga bakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza n'okusuula; okuzimba n'okusimba.”
11
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti, “Ndaba omuggo ogw'omulozi.”
12
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza.”
13
Awo Mukama naayogera nange omulundi ogwokubiri n'aŋŋamba nti, “Olaba ki?” Ne nziramu nti, “Ndaba entamu eyeesera; ng'etunudde e bukiikakkono.”
14
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Okusinziira obukiikakkono obubi bulifubutuka, okutuuka ku bantu bonna abali mu nsi.
15
Kubanga, laba, ndiyita ebika byonna eby'amatwale ga bakabaka ab'omu bukiikakkono, bw'ayogera Mukama; era balijja ne basimba buli muntu entebe ye awayingirirwa mu miryango gya Yerusaalemi n'okwolekera bbugwe waayo yenna enjuyi zonna n'okwolekera ebibuga byonna ebya Yuda.
16
Era ndyatula emisango gyange gyebali, olw'obubi bwabwe bwonna; kubanga bandese ne booteza obubaane eri bakatonda abalala, ne basinza ebyo bye baakola n'engalo zaabwe bo.
17
Kale nno weesibe ekimyu oyimuke obagambe byonna bye nkulagira; tokeŋŋentererwanga gyebali, nange nneme okukukeŋŋenterererwa mu maaso gaabwe.
18
Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu bonna ab'omu nsi.
19
Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula, kubanga nze ndi wamu naawe, okukuwonya,” bw'ayogera Mukama.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52