bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 15
Jeremiah 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 16 →
1
Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Newakubadde nga Musa ne Samwiri bandiyimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano. Bagobe bave mu maaso gange, era obaleke bagende!
2
Awo olulituuka bwe balikubuuza nti, ‘Tunagenda wa?’ Kale n'obagamba nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.’”
3
“Era ndibalondera engeri nnya ez'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama, ekitala okutta, embwa okutaagula, ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza.
4
Era ndibafuula entiisa eri obwakabaka bwonna obw'ensi, olw'ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.”
5
“Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyuka n'abuuza ebifa gy'oli?
6
Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze emabega, kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okukusaasira.
7
Mbaweye n'ekiwewa eky'ekyuma mu miryango egy'ensi; mbafudde abakungubaga, nzikirizza abantu bange; Tebakomawo okuva mu makubo gaabwe.
8
Nfudde bannamwandu baabwe okuba abangi okusinga omusenyu ogw'ennyanja ndeese ku bannyina ba bavubuka abato omuzikiriza mu ttuntu, mbatuusizako obubalagaze n'ebitiisa okubagwira amangu.
9
Eyazaala abaana omusanvu ayongobera era azirise; obulamu bumuggwaamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde; n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.”
10
Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna! Siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira.
11
Kale kituukirire ayi Mukama, bwemba nga sakwegayirira olw'obulungi bwabwe, era bwemba ssaasabira mulabe wange mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu.
12
Omuntu ayinza okumenya ekyuma, naddala ekyuma ekiva e bukiikakkono, oba ekikomo?
13
“Ebintu n'obugagga eby'abantu bange ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, bye bakoze mu ggwanga lyonna.
14
Ndibaleeta okuweereza abalabe bammwe mu nsi gy'otomanyi, kubanga olw'obusungu bwange omuliro gukumiddwa, era gujja kwaka emirembe gyonna.”
15
“Ayi Mukama, ggwe omanyi; nzijukira onkyalire, ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya; olw'obugumiikiriza bwo tonzigirawo ddala, manya nga nvumiddwa nnyo okunnanga ggwe.
16
Ebigambo byo nnabizuula, ne mbirya, era ebigambo byo byali bya ssanyu gye ndi, n'omutima gwange ne gujjula okusanyuka; kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ayi Mukama Katonda ow'eggye.
17
Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so ssaasanyuka, n'atuula nzeka kubanga omukono gwali ku nze, kubanga onzijuzizza obusungu.
18
Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, kiganira ki okuwonyezebwa? Oliba gye ndi ng'akagga akalimba ng'amazzi agaggwaawo?”
19
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, “Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange. Balidda gy'oli naye ggwe toddanga gyebali.
20
Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula, kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama.
21
Era ndikuwonya mu mukono gw'ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw'ab'entiisa.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52