bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 49
Jeremiah 49
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 50 →
1
Ebikwata ku baana ba Amoni, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Isiraeri talina baana ba bulenzi? Talina musika? Kale Malukamu kiki ekimwefuza Gaadi, ne batuula mu bibuga byayo?
2
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiwuliza eŋŋoma z'olutalo nga bazirayiza mu Labba, ekibuga eky'abaana ba Amoni; era kirifuuka kifunvu ekyalekebwawo, n'ebyalo byakyo biryokebwa omuliro: kale Isiraeri alifuga abo abaamufuganga.
3
Kuba ebiwoobe ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kinyagiddwa; mukaabe, mmwe abawala ba Labba, mwesibe ebibukutu, mukungubage, mudduke nga mubuna emiwabo mu bisaakaate; kubanga Malukamu aligenda mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be.
4
Lwaki mwenyumiriza olw'ebiwonvu byo ebikulukuta, ggwe omuwala atali mwesigwa eyeesiganga eby'obugagga bwe ng'ayogera nti, ‘Ani anaatulumba?’
5
Laba, ndikuleetako entiisa, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye, okuva eri abo bonna abakwetoolodde; era muligobebwamu buli muntu aliviiramu ddala, so tewaliba akuŋŋaanya abo abadduka.
6
Naye oluvannyuma ndizzaawo emikisa gy'abaana ba Amoni, bw'ayogera Mukama.”
7
Ebikwata ku Edomu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Amagezi tegakyali mu Temani? Abakalabakalaba tebakyamanyi kuteesa? Amagezi gaabwe gagenze?
8
Mudduke, mukyuke okudda emabega, mutuule mu buziba, mmwe abatuula mu Dedani! Kubanga ndimuleetako obuyinike bwa Esawu, ekiseera kyendimubonererezaamu.
9
Singa abanozi b'ezabbibu bazze gy'oli tebandinoze ne balekako ezimu? Singa ababbi bazze ekiro, tebandinyaze ebyo bye baagala?
10
Naye nze nnyambudde Esawu ne muleka bwereere, mbikkudde ebifo bye bye yeekwekamu, era takyayinza kwekweka. Abaana be baazikiriziddwa, bwe batyo ne baganda be ne baliraanwa be, era naye takyaliwo.
11
Leka abaana bo abatalina bakitaabwe, nze nja kubakuuma nga balamu; ne bannamwandu bo banneesige nze.”
12
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Oba nga abo abaali batagwanidde kunywa ku kikompe kya kubonerezebwa baakinywako, ggwe oligenda nga tobonerezeddwa? Toligenda nga tobonerezeddwa, ekikompe olikinywerako ddala.
13
Kubanga nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, nti ekibuga Bozula kirifuuka ekyennyamiza, n'ekivume n'amatongo n'ekikolimo; n'ebibuga byayo byonna binaabanga matongo ga lubeerera.”
14
Mpulidde ebigambo ebivudde eri Mukama, era n'omubaka atumiddwa mu mawanga, ng'ayogera nti, “Mwekuŋŋaanye mukitabaale, musituke mulwane!”
15
Kubanga, laba, nkufudde mutono mu mawanga, era anyoomebwa mu bantu.
16
Entiisa gyoyolesa ekulimbye, era n'amalala ag'omu mutima gwo, ggwe atuula mu njatika ez'omu lwazi, eyeekwata entikko y'olusozi. Naye ne bw'onoozimba ekisu kyo awagulumivu, okwenkana n'empungu, era ndikukkakkanya nga nkuwanulayo, bw'ayogera Mukama.
17
Kale Edomu alifuuka kyewuunyo, buli anaayitangawo aneewuunyanga era anaasoozanga olw'ebibonoobono byayo byonna.
18
Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebiriraanyeewo bwe byazikirizibwa, bw'ayogera Mukama, bw'etyo neyo tewali muntu alibeera eyo wadde omuntu alituula omwo.
19
Laba ng'empologoma eva mu bibira bya Yoludaani, okulumba amalundiro g'endiga ag'amaanyi, bw'entyo mangu ago ndimuddusa okumuvaako; era ndironda gwe ndyagala mubo okubafuga. Kubanga ani afaanana nga nze? Ani ayinza okumpozesa? Omusumba aluwa ayinza okuyimirira mu maaso gange?
20
Kale muwulire okuteesa, Mukama kw'ateesezza eri Edomu; n'ebyo by'amaliridde okukola ku abo abatuula mu Temani, mazima n'abaana abato ab'omu kisibo balikululibwa, mazima ekisibo kiryewuunya olw'ebyo ebikituuseeko.
21
Olw'eddoboozi ery'okuggwa kwabwe ensi erikankana, eddoboozi ly'okukaaba kwabwe, liwulirwa ku Nnyanja Emmyufu.
22
Laba, omu alirinnya n'abuuka ng'empungu n'ayanjuluza ebiwaawaatiro bye okulwanyisa Bozula, era omutima gw'abalwanyi ba Edomu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala.
23
Ebikwata ku Ddamasiko. Kamasi ne Alupadi basobeddwa, kubanga bawulidde ebigambo ebibi; basaanuuka olw'okutya, batabuse ng'ennyanja eteyinza kuteeka.
24
Ddamasiko ayongobedde, akyuka okudduka, n'okukankana kumukutte, obubalagaze n'obuyinike bimunywezezza ng'omukazi alumwa okuzaala.
25
Engeri ekibuga ekimanyifu gy'ekirekeddwawo, ekibuga ekyalinga ekyessanyu!
26
Abalenzi baakyo kyebaliva bagwira mu nguudo zaakyo, era abalwanyi be bonna balizikirizibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye.
27
Era ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Ddamasiko, era gulyokya ebifo eby'amaanyi ebya Benukadaadi.
28
Ebikwata ku Kedali n'eby'obwakabaka bwa Kazoli, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bwe yakuba. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti: “Musituke mulumbe Kedali! Muzikirize abantu ab'ebuvanjuba!
29
Eweema zaabwe n'ebisibo byabwe biritwalibwa, entiimbe zaabwe n'ebintu byabwe byonna, eŋŋamira zaabwe tezikyabagasa, era abantu balibakabirira nti, ‘Entiisa ebali ku njuyi zonna.’
30
Mudduke, mutambuliretambulire wala, mwekweke wansi, mmwe ababeera mu Kazoli! bw'ayogera Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni abateeserezza ebigambo, era abasalidde amagezi.
31
Musituke mujje tulumbe eggwanga eriri mu ddembe, eribeera nga likuumibwa; bw'ayogera Mukama, eritalina nzigi, wadde ebisiba, abatuula bokka.
32
N'eŋŋamira zaabwe ziriba munyago, n'amagana gaabwe ag'ente ga kwegabanya. Ndisaasaanyiza eri buli mpewo abo abamwa ensonda z'enviiri zaabwe, era ndibaleetako obuyinike okuva ku njuyi zonna, bw'ayogera Mukama.
33
Era Kazoli kinaabanga kifo kya bibe, era matongo ag'olubeerera; tewaabenga muntu alibeera eyo, so tewaabenga mwana wa alituula omwo.”
34
Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi nga kikwata ku Eramu, Zeddekiya kabaka wa Yuda, bwe yali nga kyajje afuuke kabaka, nga kyogera nti,
35
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, ensibuko y'amaanyi gaabwe.
36
Era ndireeta ku Eramu empeewo ennya okuva mu bitundu ebina eby'eggulu; era ndibasaasaanyiza eri empeewo ezo zonna, era abo abagobebwa mu Eramu tewaliba ggwanga gye batalituuka.
37
Era nditiisa Eramu mu maaso g'abalabe baabwe, ne mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe; era ndibaleetako obubi, obusungu bwange obungi, bw'ayogera Mukama; era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndibamalirawo ddala;
38
era nditeeka nnamulondo yange mu Eramu, era ndizikiriza kabaka waabwe, n'abakungu baabwe,” bw'ayogera Mukama.
39
“Naye mu nnaku ez'oluvannyuma, ndizzawo emikisa gya Eramu, bw'ayogera Mukama.”
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 50 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52