bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 22
Jeremiah 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 23 →
1
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Serengeta eri ennyumba ya kabaka wa Yuda, era omugambe ebigambo bino,
2
‘Wulira ekigambo kya Mukama, ayi kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n'abaddu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino.’
3
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Musalenga emisango mu bwenkanya, muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi; so temulyazaamaanyanga, temugiriranga kyejo mugenyi newakubadde atalina kitaawe newakubadde nnamwandu, so temuyiwanga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino.
4
Kubanga bwe muligondera ddala ekigambo ekyo, muliyingirira mu miryango egy'ennyumba eno, bassekabaka balituula ku nnamulondo ya Dawudi, nga batambulira mu magaali era nga beebagala embalaasi, ye n'abaddu be n'abantu be.
5
Naye bwe mutalikkiriza kuwulira bigambo bino, nneerayirira nzekka, bw'ayogera Mukama, ng'ennyumba eno erifuuka matongo.”
6
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku by'ennyumba ya kabaka wa Yuda nti, “Ggwe olinga Gireyaadi gyendi, nga entikko ya Lebanooni, era naye sirirema kukufuula ddungu n'ekibuga omutali bantu.
7
Era ndikutegekera abazikiriza, buli muntu ng'alina eby'okulwanyisa bye; era balitema emivule gyo egisinga obulungi, ne bagisuula mu muliro.”
8
“ Kale amawanga mangi galiyita awali ekibuga kino, era buli muntu alibuuza munne nti, Lwaki Mukama akoze bwati ekibuga kino ekikulu?”
9
Awo ne baddamu nti, “Kubanga baaleka endagaano ya Mukama Katonda waabwe, ne basinza bakatonda abalala ne babaweereza.”
10
Temukaabira maziga oyo eyafa, so temumukungubagira; naye mumukaabire nnyo nnyini amaziga oyo agenda; kubanga takyadda nate so taliraba nsi y'ewaabwe.
11
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ku bya Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya kitaawe okufuga era eyagenda okuva mu kifo kino nti, “Takyadda nate wano;
12
naye mu kifo gye baamutwala nga musibe, eyo gy'alifiira, so taliddayo kulaba nsi eno nate.”
13
“Zimusanze oyo azimba ennyumba ye olw'obutali butuukirivu, n'ebisenge bye olw'okulyazaamaanya; ng'akozesa munne obwereere, so tamuwa mpeera ye;
14
ayogera nti, ‘Neezimbira ennyumba engazi n'ebisenge ebinene, ne ngiteekako amadirisa, ne ngitindiza embaawo ez'emivule, era n'esiigibwako langi.’
15
Olowooza nti oli kabaka kubanga ovuganya mu mivule egisinga egyabalala? Kitaawo teyalyanga n'anywanga, n'akolanga eby'obwenkanya n'eby'obutuukirivu? Kale yakolanga ebyo n'aba bulungi.
16
Yasalanga omusango gw'omwavu n'eyeetaaga; kale n'aba bulungi. Okwo si kwe kwali okummanya? Bw'ayogera Mukama.
17
Naye olina amaaso n'omutima nga bituukiriza kwegomba kwo kwokka, okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, n'okujooga, n'obukambwe.”
18
Mukama kyava ayogera ku bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira nga boogera nti, Woowe, muganda wange! Oba nti Woowe, mwannyinaze! tebalimukungubagira nga boogera nti, Woowe, mukama wange! oba nti, Woowe, kabaka waffe!
19
Aliziikibwa ng'endogoyi bw'eziikibwa, ewalulwa n'esuulibwa ebweru w'emiryango gya Yerusaalemi.”
20
“Linnya ku Lebanooni okaabe, era oyimuse eddoboozi lyo mu Basani; okaabe ng'oyima ku Abalimu; kubanga baganzi bo bonna bazikiridde.
21
N'ayogera naawe bwe wali ng'okyalaba omukisa; naye n'oyogera nti Siiwulire. Kubanga eyo ye yabanga empisa yo okuva mu buto bwo, obutagonderanga ddoboozi lyange.
22
Embuyaga ze ziririisa abasumba bo bonna, ne baganzi bo balitwalibwa okusibibwa; kale tolirema kukwatibwa nsonyi n'oswala olw'obubi bwo bwonna.
23
Ayi ggwe abeera ku Lebanooni, akola ekisu kyo ku mivule, ng'oliba wa kusaasirwa nnyo, obulumi bwe bulikukwata, obubalagaze ng'obw'omukazi alumwa okuzaala!
24
“Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, newakubadde ggwe Koniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wali empeta ey'akabonero ku mukono gwange ogwa ddyo, naye ndikwegyako;
25
ne nkugabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwo, ne mu mukono gw'abo b'otya, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, ne mu mukono gw'Abakaludaaya.
26
Era ndikugobera, ggwe ne nnyoko akuzaala, mu nsi endala gye mutaazaalirwa; era mulifiira eyo.
27
Emmeeme yammwe ery'e gomba okudda mu nsi eno, naye temulidda.”
28
Omusajja ono Koniya luggyo olwatifu era olunyoomebwa, ekibya ekitalina akifaako? Lwaki ye n'ezzadde lye, bagoberwa era ne basuulibwa mu nsi gye batamanyi?
29
Ayi ensi, ensi, ensi! wulira ekigambo kya Mukama.
30
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Muwandiike omusajja ono nga atalina baana, era omusajja ataliraba mukisa mu biro bye; kubanga tewaliba muntu wa ku zzadde lye aliraba omukisa, era alituula ku nnamulondo ya Dawudi, oba alyeyongera nate okufuga mu Yuda.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52