bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 42
Jeremiah 42
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 43 →
1
Awo abaami bonna ab'ebitongole ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya n'abantu bonna abato n'abakulu ne basembera,
2
ne bagamba Yeremiya nnabbi nti, “Tukwegayiridde, okusaba kwaffe kukkirizibwe gyoli, otusabire eri Mukama Katonda wo, ng'osabira ffe ffenna abasigaddewo; kubanga tusigaddewo batono fekka abaabanga abangi ng'amaaso go bwe gatulaba;
3
Mukama Katonda wo atulage ekkubo eritugwanira okutambuliramu, era n'ekigambo ekitugwanira okukola.”
4
Awo Yeremiya nnabbi n'abaddamu nti, “Mbawulidde; laba, nja kusaba Mukama Katonda wammwe nga bwe mugambye; kale olulituuka kyonna Mukama ky'alibaddamu ndikibabuulira; siribakisa kigambo kyonna.”
5
Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abe omujulizi ow'amazima era omwesigwa gyetuli, bwe tutalikola ng'ekigambo kyonna Mukama, Katonda wo ky'alikutuma gyetuli.
6
Oba nga kirungi oba nga kibi, tuligondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe gye tukutuma; tulyoke tubenga bulungi bwe tunagonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
7
Awo olwatuuka ennaku kkumi (10) bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya.
8
Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,
9
n'abagamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri gye mwantuma okwanjula okusaba kwammwe nti,
10
Bwe mulikkiriza okubeera mu nsi eno, kale ndibazimba, so siribaabya, era ndibasimba, so siribasimbula, kubanga nejjusizza obubi bwe nnabakola.
11
Temutya kabaka w'e Babbulooni, oyo gwe mweralikirira; temumutya, bw'ayogera Mukama, kubanga nze ndi wamu nammwe okubalokola n'okubawonya mu mukono gwe.
12
Ndibawa mmwe okusaasirwa, alyoke abakwatirwe ekisa, era abaleke musigale mu nsi yammwe.
13
Naye bwe munaagamba nti, ‘Tetujja kusigala mu nsi eno;’ ne mutagondera ddoboozi lya Mukama, Katonda wammwe;
14
nga mwogera nti, ‘Nedda; naye tuligenda mu nsi y'e Misiri gye tutalirabira ntalo, era gye tutaliwulirira ddoboozi lya kkondeere, wadde okulumwa enjala; eyo gye tulituula;’
15
kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafisseewo ku Yuda,” bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, bwe muba nga mumaliridde ddala okuyingira mu Misiri, era ne mugenda okubeera omwo;
16
kale olulituuka ekitala kye mutya kiribakwatira eyo mu nsi y'e Misiri, n'enjala gye mutidde eribacoccera eyo mu Misiri; era eyo gye mulifiira.
17
Abasajja bonna abamaliridde okugenda e Misiri okubeera eyo; balifa n'ekitala, n'enjala, ne kawumpuli; so tewaliba ku bo abalifikkawo wadde abaliwona bwe ndibaleetako.
18
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, nga obusungu bwange n'ekiruyi kyange bwe byafukibwa ku abo abaali mu Yerusaalemi, ekiruyi kyange bwe kirifukibwa ku mmwe bwe kityo, bwe muliyingira mu Misiri; muliba ekikyayibwa, ekitiisa, ekikolimo n'ekyewuunyo, so temuliraba nate kifo kino.
19
Mukama ayogedde ku mmwe, ayi ekitundu ekifisseewo ku Yuda, nti, ‘Temugenda mu Misiri,’ mutegeerere ddala nga leero nze mbalabudde.
20
Kubanga mukoze eby'obukuusa era mutunze obulamu bwammwe, kubanga mwantuma eri Mukama Katonda wammwe nga mwogera nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe; era nga byonna bwe biriba Mukama, Katonda waffe by'alyogera, naffe tulibikola;’
21
era leero mbibabuulidde; naye temugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe mu byonna by'antumye gye muli.
22
Kale nno mutegeerere ddala nga mulifa n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, mukifo gye mwagala okugenda okubeera.”
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 43 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52