bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 3
Jeremiah 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 4 →
1
“Singa omusajja agoba mukazi we, omukazi naye n'amuvaako n'aba ow'omusajja omulala, omusajja oyo alimuddira nate? Ensi eyo eba teyonoonese nnyo? Naye ggwe weefuula omwenzi eri baganzi bo abangi; era naye kati onoonzirira nate?” Bwayogera Mukama
2
Yimusa amaaso go eri ensozi enjereere olabe; waliwo ekifo we batasulirangako naawe? Ku mabbali g'ekkubo, waatuulanga ng'olindirira baganzi bo, ng'Omuwalabu bw'ateega abantu mu ddungu; era wayonoona ensi n'obwenzi bwo n'obubi bwo.
3
Empandaggirize kyezivudde ziziyizibwa, so tewabaddeewo ttoggo; era naye n'oba n'ekyenyi eky'omwenzi, wagaana okukwatibwa ensonyi.
4
“Obadde tewakankoowoola nti, ‘Kitange, ggwe oli mukwano gwange owo mu buto bwange?
5
Onooguguba n'obusungu bwo emirembe gyonna?’ Oliremera mu bwo okutuusa enkomerero? Laba, wayogera n'okola ebigambo ebibi, n'okwata ekkubo lyo ggwe.”
6
Mukama n'aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti, “Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky'akoze? Alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi.
7
Ne ndowooza nti bw'alimala okukola ebyo byonna, ‘Alinzirira;’ naye n'atadda; ne mwannyina ow'enkwe Yuda n'akiraba.
8
Yuda yalaba nga olw'obwenzi bwa Isiraeri eyaseeseetuka, nnamugoba ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba, era naye mwannyina Yuda ow'enkwe n'atatya; naye era n'agenda ne yeefuula omwenzi.
9
Awo olwatuuka kubanga mwangu okwenda, yayonoona ensi, n'ayenda ku mayinja ne ku bikonge.
10
Era naye ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo, mwannyina ow'enkwe Yuda tanziridde n'omutima gwe gwonna, naye n'asigala ng'akuusakuusa,” bw'ayogera Mukama.
11
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Isiraeri eyaseeseetuka yeeraze okuba omutuukirivu okukira Yuda ow'enkwe.”
12
Genda olangire ebigambo bino ng'otunuulira obukiikakkono, oyogere nti, “Komawo, ggwe Isiraeri eyaseeseetuka,” bw'ayogera Mukama. “Siibatunuulire n'obusungu, kubanga nnina okusaasira,” bw'ayogera Mukama, “siriguguba na busungu emirembe gyonna.
13
Kyokka kkiriza obutali butuukirivu bwo, nga wasobya Mukama Katonda wo, n'osaasaanyiza okwagala kwo eri abagenyi, wansi wa buli muti omubisi, so temwagondera ddoboozi lyange,” bw'ayogera Mukama.
14
“Mukomewo, mmwe abaana abadda emabega,” bw'ayogera Mukama, “kubanga nze bbammwe, era ndibatwala nga nzigya omu mu kibuga n'ababiri mu kika, ne mbaleeta e Sayuuni;
15
era ndibawa abasumba ng'omutima gwange bwe guli abalibaliisa n'okumanya n'okutegeera.”
16
Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti, “Essanduuko ey'endagaano ya Mukama,” so teriyingira mu mwoyo gwabwe; nga tebakyagijjukira wadde okugyetaaga; era nate tewaliba ndala erikolebwa.
17
Mu biro ebyo baliyita Yerusaalemi entebe ya Mukama; n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa eyo, eri erinnya lya Mukama e Yerusaalemi, so tebalitambula nate ng'obukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi bwe buli.
18
Mu biro ebyo ennyumba ya Yuda eritambulira wamu n'ennyumba ya Isiraeri, era baliviira wamu mu nsi ey'obukiikakkono ne bayingira mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba obusika.
19
“Nnalowooza engeri gy'enkuteeka mu batabani bange, ne nkuwa ensi ey'essanyu, obusika obulungi mu mawanga gonna. Era nnalowooza nti mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera.
20
Mazima omukazi nga bw'ava ku bba ng'asala olukwe, bwe mutyo nammwe bwe munsalidde enkwe, mmwe ennyumba ya Isiraeri.”
21
Eddoboozi liwuliddwa ku nsozi enjereere, okukaaba n'okwegayirira kw'abaana ba Isiraeri; kubanga banyodde ekkubo lyabwe, beerabidde Mukama Katonda waabwe.
22
“Mukomewo, mmwe abaana abaseeseetuse, nange n'awonya okuseeseetuka kwammwe.” “Laba, tuzze gy'oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe
23
Mazima okubeerwa okusuubirwa okuva ku nsozi kwa bwereere, n'oluyoogaano oluli ku nsozi teruliimu; mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isiraeri.
24
Naye okuviira ddala edda mu buto bwaffe, ekikwasa ensonyi kye kimazeewo emirimu gya bajjajjaffe, embuzi zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
25
Tugalamire nga ensonyi zitukutte, okuswala kwaffe kutubikkeko; kubanga twonoonye Mukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe ne leero, so tetugonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52