bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 4
Jeremiah 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 5 →
1
“Bw'onokkiriza okukomawo, ggwe Isiraeri, bw'ayogera Mukama, eri nze gy'olidda. Bw'onoggyawo emizizo gyo mu maaso gange, kale tolijjulukuka;
2
awo olirayiranga nti, Mukama nga bw'ali omulamu mu mazima ne mu musango ne mu butuukirivu; n'amawanga ganeesabiranga omukisa mu ye, era mu ye mwe baneenyumiririzanga.”
3
Kubanga bw'atyo Mukama bw'agamba abasajja ba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, so temusiganga mu maggwa
4
Mwekomole eri Mukama, muggyeewo ebikuta eby'emitima gyammwe, era mwetukuze eri Mukama, mmwe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi; ekiruyi kyange kireme okufuluma ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.”
5
Mulangirire mu Yuda, mulaalike mu Yerusaalemi; mwogere nti, “Mufuuwe ekkondeere mu nsi; mwogerere waggulu mwogere nti, ‘Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera!’
6
Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni, mudduke muwone, temulwawo, kubanga ndireeta obubi obuliva obukiikakkono n'okuzikiriza okunene.”
7
Empologoma erinnye okuva mu kisaka kyayo, era omuzikiriza w'amawanga; akutte ekkubo, avudde mu kifo kye; okuzisa ensi yo, ebibuga byo abizise obutabaamu abibeeramu.
8
Olw'ekyo mwambale ebibukutu, mukungubage muwowoggane, kubanga ekiruyi kya Mukama tekikyuse okutuvaako.
9
“Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama, omutima gwa kabaka gulizikirira, n'omutima gw'abakulu; ne bakabona balisamaalirira ne bannabbi balyewuunya.
10
Awo ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! mazima olimbye nnyo eggwanga lino ne Yerusaalemi ng'oyogera nti, ‘Muliba n'emirembe;’ naye ekitala kituutuuka ku mmeeme.”
11
Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino ne Yerusaalemi nti, “Embuyaga ez'olubugumu eziva ku ntikko ze nsozi enjereere mu ddungu ezoolekera omuwala w'abantu bange, si za kuwujja so si za kulongoosa;
12
embuyaga nnyingi, eziva ku ezo zirijja ku lwange. Kaakano nze kennyini nnaangirira emisango ku bo.”
13
Laba, ajja ng'ebire, n'amagaali ge galiba ng'empewo ez'akazimu; embalaasi ze za mbiro okukira empungu. Zitusanze! Kubanga tuzikiridde.
14
Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu obubi, olyoke olokoke. Ebirowoozo byo ebibi birituusa wa okubeera mu nda yo?
15
Kubanga eddoboozi lirangirira nga lisinzira e Daani, era liraarika obubi nga lisinzira ku nsozi za Efulayimu.
16
Mulabule amawanga nti, ajja; mulaalike Yerusaalemi nti, “Ababazingiza bava mu nsi ey'ewala, bawowoganira ebibuga bya Yuda n'eddoboozi lyabwe.
17
Bakyetoolodde enjuyi zonna ng'abakuuma ennimiro; kubanga kyanjeemera,” bw'ayogera Mukama.
18
Ekkubo lyo n'ebikolwa byo bye bikuleetedde ebyo; buno bwe bubi bwo; kubanga bwa bubalagaze, kubanga butuuka ne ku mutima gwo.
19
“Obulumi bwange, Obulumi bwange!” Omutima gwange gunnuma munda mwennyini; omutima gwange gweraliikiridde munda yange; siyinza kusirika; kubanga owulidde ayi emmeeme, eddoboozi ly'ekkondeere, ery'olutalo nga liraya.
20
Okuzikirizibwa okuddirirwa okuzikirizibwa kulangirirwa; kubanga ensi yonna eyonooneddwa, amangu ddala eweema zange zonooneddwa, n'entimbe zange mu kaseera bu seera.
21
Ndituusa wa okulaba ebendera y'olutalo, n'okuwulira eddoboozi ly'ekkondeere?
22
Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi; biwowongole by'abaana, so tebalina kutegeera, ba magezi mu kukola obubi, naye mu kukola obulungi tebalina kumanya.
23
Nnalaba ensi, laba nga njereere, era nga yeetabuddetabudde; n'eggulu nga tekuli kitangaala.
24
Nnalaba ensozi, era, laba, nga zikankana, obusozi bwonna ne buyuuguuma eruuyi n'eruuyi.
25
N'atunula, era, laba, nga tewali muntu, n'ennyonyi zonna ez'omu bbanga nga zidduse.
26
N'atunula, era, laba, ennimiro engimu nga zifuuse nkoola, n'ebibuga byamu byonna nga biri mu matongo olw'okujja kwa Mukama ne mu maaso g'ekiruyi kye.
27
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Ensi yonna eriba nsiko; naye sirigisaanyizaawo ddala.”
28
Ensi kyeriva ewuubaala, n'eggulu eriri waggulu liriddugala, kubanga nze nkyogedde, nkimaliridde, so sigenda kukyejjusa, so siridda mabega okukireka.
29
Ekibuga kyonna kidduka olw'okuyoogaana kw'abo abeebagadde embalaasi n'ab'emitego; bayingira mu bisaka, ne balinnya ku mayinja; buli kibuga kirekeddwa, so tewali muntu atuula omwo.
30
Naawe ggwe eyalekebwawo otegeeza ki bw'oyambala olugoye olutwakaavu, ne weeyonja n'ebintu ebya zaabu, n'okanula amaaso ng'osiigako langi? Omala biseera nga weeyonja; baganzi bo bakunyooma; banoonya obulamu bwo.
31
Kubanga mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze obuli ng'obwoyo azaala omwana we omubereberye, eddoboozi ly'omuwala wa Sayuuni asika omukka, ayanjala engalo ze ng'ayogera nti, “Zinsanze kaakano! kubanga emmeeme yange ezirika mu maaso g'abassi.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52