bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 33
Jeremiah 33
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 34 →
1
Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya omulundi ogwokubiri, bwe yali ng'akyasibiddwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti,
2
“Bw'ati bw'ayogera Mukama eyatonda ensi, Mukama eyagibumba, n'aginyweza, Mukama lye linnya lye nti;
3
Mpita, nange nnaakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebikisiddwa by'otomanyi.”
4
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, nti, ennyumba ez'omu kibuga kino, n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda, ziryabizibwa ne zifuuka olw'okuzingizibwa n'okulumbibwa.
5
Abakaludaaya bajja okulwana era n'okubajjuza emirambo gy'abantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, kubanga ekibuga kino nkikwese amaaso gange, olw'obubi bwabwe bwonna bwe bakoze.
6
Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira obungi bwenkulakulana ne mirembe.
7
Era ndizzaawo emikisa gya Yuda ne n'emikisa gya Isiraeri, era ndibazimba nga bwe baali olubereberye.
8
Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona era bwe bansobya.
9
N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo, n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'okukulakulana kwe ndibawa.
10
“ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, mu kifo kino kye mwogerako nti, ‘Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo,’ mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise, nga temuli muntu, newakubadde azibeeramu, newakubadde ensolo, muliddamu okuwulirwa,
11
eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti, Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera; n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndizzawo emikisa mu nsi eno, nga bwe byali olubereberye,” bw'ayogera Mukama w'eggye.
12
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu wadde ensolo, era mu bibuga byakyo byonna, muliddamu okubaamu amalundiro, n'olusiisira abasumba mwe bagalamiza ebisibo byabwe.
13
Mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensenyi, ne mu bibuga eby'obukiikaddyo, mu nsi eya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda, ebisibo biriddamu okuyita wansi w'omukono gw'oyo abibala,” bw'ayogera Mukama.
14
“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndituukiriza ekisuubizo ekyo ekirungi kye nnayogera ku nnyumba ya Isiraeri ne ku nnyumba ya Yuda.
15
Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo ndimereza Dawudi Ettabi ery'obutuukirivu; era oyo alikola eby'obwenkanya n'eby'obutuukirivu.
16
Mu nnaku ezo Yuda alirokoka, ne Yerusaalemi kirituula mirembe. Era lino lye linnya lye kirituumibwa, nti, ‘Mukama bwe butuukirivu bwaffe.’”
17
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku nnamulondo ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna;
18
so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka emirembe gyonna.”
19
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti,
20
“Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana, n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo;
21
era bwetyo ne ndagaano yange n'omuddu wange Dawudi eyinza okumenyebwa, aleme okuba n'omwana okufugira ku nnamulondo ye, n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange.”
22
Ng'emmunyeenye ez'oku ggulu bwe zitayinzika kubalibwa, era ng'omusenyu ogw'ennyanja bwe gutayinza kupimika, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza.
23
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti,
24
“Weetegereza abantu bano bye boogedde nti, Enda zombi Mukama ze yalonda azisudde? Bwe batyo bwe banyooma abantu bange, nga tebekyababala nga eggwanga mu maaso gaabwe.
25
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Bwemba nga sanyweza ndagaano yange ey'emisana n'ekiro, oba nga ssa ssaawo biragiro by'eggulu n'ensi;
26
kale olwo nange ndisuula ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, ne sironda omu ku be zzadde lye okufuganga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. Ddala ndizaawo emikisa gyabwe, era ndibasaasira.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52