bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jeremiah 52
Jeremiah 52
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 51
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
1
Zeddekiya yalina emyaka abiri mu gumu (21) bwe yatandika okufuga obwakabaka bwa Yuda; n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
2
Zeddekiya nnakola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yali akoze.
3
Mazima olw'obusungu bwa Mukama, ebigambo n'ebituukirira ku Yerusaalemi ne Yuda, bw'atyo n'abagoba mu maaso ge, era ne Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babbulooni.
4
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda ogw'okufuga kwe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okutabaala Yerusaalemi n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna.
5
Awo ekibuga n'ekizingizibwa okutuuka ku mwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa kabaka Zeddekiya.
6
Mu mwezi ogwokuna ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi, enjala n'eba nnyingi mu kibuga, ne watabaawo mmere, eri abantu ab'omu nsi.
7
Awo ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga, abasajja bonna abalwanyi ne badduka ne bafuluma mu kibuga ekiro mu kkubo ery'omulyango wakati w'ebisenge ebibiri, ogwaliraana olusuku lwa kabaka; bo Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Abalwanyi ba kabaka Zeddekiya ne badduka nga bayita mu kkubo erya Alaba.
8
Naye eggye ery'Abakaludaaya ne liwondera Kabaka, Zeddekiya ne limuyisiriza mu nsenyi ez'e Yeriko; eggye lye lyonna ne lisaasaana okumuvaako.
9
Awo ne bawamba kabaka, ne bamutwala eri kabaka w'e Babbulooni e Libula mu kitundu ky'e Kamasi; n'amusalira omusango.
10
Awo kabaka w'e Babbulooni, n'atta batabani ba Zeddekiya, nga Zeddekiya yennyini alaba, era n'attira awo e Libula abakungu bonna aba Yuda.
11
Kabaka w'e Babbulooni, n'atungulamu Zeddekiya amaaso; n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babbulooni, n'amuteeka mu kkomera okutuusiza ddala ku lunaku lwe yafiirako.
12
Awo mu mwezi ogwokutaano, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda nga Nebukadduneeza ye kabaka w'e Babbulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, eyaweerezanga kabaka w'e Babbulooni, n'ayingira mu Yerusaalemi;
13
n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemi, buli nnyumba yonna ennene yagyokya omuliro.
14
N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali awamu n'omukulu w'abambowa ne bamenya ebisenge byonna, okwetooloola Yerusaalemi enjuyi zonna.
15
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, n'atwala e Babbulooni nga basibe abamu ku bantu abasinga obwavu, n'abo abaali basenguse ne baasenga kabaka w'e Babbulooni, n'ekitundu ekyali kisigaddewo eky'abakozi b'emirimu egy'emikono.
16
Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, n'aleka abamu ku abo abasinga obwavu mu nsi okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga.
17
N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe, n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama, Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala ebikomo byonna e Babbulooni.
18
Era ne batwala n'entamu n'ebitiiyo ebiyoola evvu, n'ebijiiko, n'ebibya omwanyookerezebwanga obubaane, n'ebintu byonna eby'ebikomo, ebyakozesebwanga okuweerezanga, mu nnyumba ya Mukama nabyo ne babitwala.
19
Ne batwala ne bikompe n'emmumbiro n'ebibya n'entamu n'ebikondo n'ebijiiko n'obubya; ebyali ebya zaabu, mu zaabu, n'ebyo ebyali ebya ffeeza, mu ffeeza, bwatyo omukulu w'abambowa bwe yabitwala.
20
Empagi zombi, ennyanja emu, n'ente ennume ez'ebikomo ekkumi n'ebbiri (12) ezaali wansi w'ennyanja, era n'ebikondo, ebyo kabaka Sulemani bye yali akoze olw'ennyumba ya Mukama, obuzito bw'ekikomo obw'ebintu bino byonna bwali tebupimika.
21
Zo empagi, obuwanvu bw'empagi emu bwali emikono kkumi na munaana (18); n'okugyetooloola emikono kkumi n'ebiri (12); n'obugazi bwayo bwali engalo nnya, nga zirimu omutuli.
22
Ku mpagi kwaliko omutwe ogw'ekikomo; n'omutwe ogumu obuwanvu bwagwo emikono etaano, omutwe nga guliko ebitimba n'amakomamawanga enjuyi zonna, byonna bya bikomo, n'empagi eyokubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n'amakomamawanga.
23
Era mu mbiriizi za buli mpagi, kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga (96); amakomamawanga gonna gaali kikumi (100) agatimbye buli mpagi okugyetoolooza.
24
Awo omukulu w'abambowa n'atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu;
25
era n'aggya mu kibuga omukungu eyali aduumira abasajja abalwanyi; n'abasajja musanvu ku abo abaawanga kabaka amagezi, abaali bakyali mu kibuga; n'omuwandiisi ow'omukulu w'eggye, eyawandiikanga abantu mu ggye; n'abasajja nkaaga (60) ab'oku bantu ab'omu nsi abaasangibwa wakati mu kibuga.
26
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwala bonna eri kabaka w'e Babbulooni e Libula.
27
Kabaka w'e Babbulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu kitundu kye Kamasi. Awo Yuda, n'atwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.
28
Guno gwe muwendo gw'abantu Nebukadduneeza be yatwala mu busibe, mu mwaka gwe ogw'omusanvu nga ye kabaka, yatwala Abayudaaya enkumi ssatu mu abiri mu basatu (3,023).
29
Mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'ekkumi n'omunaana, nga ye kabaka, n'atwala abantu lunaana mu asatu mu babiri (832) nga basibe okubaggya e Yerusaalemi;
30
mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'abiri mu esatu (23), Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala ku Bayudaaya, abantu lusanvu mu ana mu bataano (745), nga basibe; abantu bonna abatwalibwa baali enkumi nnya mu lukaaga (4,600).
31
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu mu omusanvu (37) ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini, kabaka wa Yuda, mu mwezi ogwe kkumi n'ebiri (12) ku lunaku olw'abiri mu etaano (25); Evirumerodaaki kabaka w'e Babbulooni, mu mwaka ogwo gwe yafuukiramu kabaka, nnaakwatirwa Yekoyakini kabaka wa Yuda ekisa, n'amuggya mu kkomera.
32
Evirumerodaaki n'alaga Yekoyakini ekisa, era n'amuwa ekifo eky'ekitiibwa okusinga ekya bakabaka abalala abaali awamu naye nga basibe mu Babbulooni.
33
Bw'atyo Yekoyakini n'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera, n'aliiranga emmere bulijjo ku lujjuliro lwa kabaka ennaku zonna ez'obulamu bwe.
34
Era ku by'okumulabiriranga kabaka w'e Babbulooni n'awa kabaka Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku kw'ebyo bye yeetaaga, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu, okutuusa ku lunaku lwe yafiirako.
← Chapter 51
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52